Exodus 29 (BOLCB)

1 “Bino by’onookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, n’endiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo. 2 Era onookola mu buwunga bw’eŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole n’amafuta ag’omuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, n’obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 3 Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu n’ente n’endiga ebbiri. 4 Leeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, obanaaze n’amazzi. 5 Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; 6 omusibe n’ekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala eky’oku mutwe. 7 Ddira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. 8 Leeta batabani be obambaze amakooti, 9 obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be. 10 “Onooleeta ente eyo ento mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe, 11 n’olyoka ogittira awo awali MUKAMA ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Onoddira omusaayi ogw’ente eyo omutonotono, n’ogusiiga n’olugalo lwo ku mayembe ag’oku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi w’ekyoto. 13 Onoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto. 14 Naye ennyama y’ente eyo n’eddiba lyayo, n’obusa bwayo, byokere ebweru w’olusiisira. Ekyo ky’ekiweebwayo olw’ekibi. 15 “Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gw’endiga emu; 16 otte endiga eyo, n’oddira omusaayi gwayo n’ogumansa buli wantu ku kyoto. 17 Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe, 18 endiga yonna ogyokere ku kyoto. Ekyo ky’ekiweebwayo eri MUKAMA ekyokye, eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweebwayo ku muliro eri MUKAMA. 19 “Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo; 20 onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola. 21 Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe. 22 “Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona. 23 Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali MUKAMA oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere; 24 ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali MUKAMA ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25 Onoobibaggyako, n’obyokera ku kyoto ng’obyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa MUKAMA; kye kiweebwayo eri MUKAMA ekyokye mu muliro. 26 Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri MUKAMA ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 27 Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be. 28 Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri MUKAMA. 29 “Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga. 30 Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu. 31 “Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu; 32 Alooni ne batabani be balye ku nnyama y’endiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 33 Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34 Era singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu. 35 “Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bw’onookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu; 36 era buli lunaku ojja kuwaayo seddume y’ente emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, olw’okusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze. 37 Ojja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu. 38 “Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 39 Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40 Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41 Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri MUKAMA. 42 “Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri MUKAMA obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe. 43 Era awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange. 44 “Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona. 45 Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe. 46 Awo banaamanya nga nze MUKAMA Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze MUKAMA Katonda waabwe.”

In Other Versions

Exodus 29 in the ANGEFD

Exodus 29 in the ANTPNG2D

Exodus 29 in the AS21

Exodus 29 in the BAGH

Exodus 29 in the BBPNG

Exodus 29 in the BBT1E

Exodus 29 in the BDS

Exodus 29 in the BEV

Exodus 29 in the BHAD

Exodus 29 in the BIB

Exodus 29 in the BLPT

Exodus 29 in the BNT

Exodus 29 in the BNTABOOT

Exodus 29 in the BNTLV

Exodus 29 in the BOATCB

Exodus 29 in the BOATCB2

Exodus 29 in the BOBCV

Exodus 29 in the BOCNT

Exodus 29 in the BOECS

Exodus 29 in the BOGWICC

Exodus 29 in the BOHCB

Exodus 29 in the BOHCV

Exodus 29 in the BOHLNT

Exodus 29 in the BOHNTLTAL

Exodus 29 in the BOICB

Exodus 29 in the BOILNTAP

Exodus 29 in the BOITCV

Exodus 29 in the BOKCV

Exodus 29 in the BOKCV2

Exodus 29 in the BOKHWOG

Exodus 29 in the BOKSSV

Exodus 29 in the BOLCB2

Exodus 29 in the BOMCV

Exodus 29 in the BONAV

Exodus 29 in the BONCB

Exodus 29 in the BONLT

Exodus 29 in the BONUT2

Exodus 29 in the BOPLNT

Exodus 29 in the BOSCB

Exodus 29 in the BOSNC

Exodus 29 in the BOTLNT

Exodus 29 in the BOVCB

Exodus 29 in the BOYCB

Exodus 29 in the BPBB

Exodus 29 in the BPH

Exodus 29 in the BSB

Exodus 29 in the CCB

Exodus 29 in the CUV

Exodus 29 in the CUVS

Exodus 29 in the DBT

Exodus 29 in the DGDNT

Exodus 29 in the DHNT

Exodus 29 in the DNT

Exodus 29 in the ELBE

Exodus 29 in the EMTV

Exodus 29 in the ESV

Exodus 29 in the FBV

Exodus 29 in the FEB

Exodus 29 in the GGMNT

Exodus 29 in the GNT

Exodus 29 in the HARY

Exodus 29 in the HNT

Exodus 29 in the IRVA

Exodus 29 in the IRVB

Exodus 29 in the IRVG

Exodus 29 in the IRVH

Exodus 29 in the IRVK

Exodus 29 in the IRVM

Exodus 29 in the IRVM2

Exodus 29 in the IRVO

Exodus 29 in the IRVP

Exodus 29 in the IRVT

Exodus 29 in the IRVT2

Exodus 29 in the IRVU

Exodus 29 in the ISVN

Exodus 29 in the JSNT

Exodus 29 in the KAPI

Exodus 29 in the KBT1ETNIK

Exodus 29 in the KBV

Exodus 29 in the KJV

Exodus 29 in the KNFD

Exodus 29 in the LBA

Exodus 29 in the LBLA

Exodus 29 in the LNT

Exodus 29 in the LSV

Exodus 29 in the MAAL

Exodus 29 in the MBV

Exodus 29 in the MBV2

Exodus 29 in the MHNT

Exodus 29 in the MKNFD

Exodus 29 in the MNG

Exodus 29 in the MNT

Exodus 29 in the MNT2

Exodus 29 in the MRS1T

Exodus 29 in the NAA

Exodus 29 in the NASB

Exodus 29 in the NBLA

Exodus 29 in the NBS

Exodus 29 in the NBVTP

Exodus 29 in the NET2

Exodus 29 in the NIV11

Exodus 29 in the NNT

Exodus 29 in the NNT2

Exodus 29 in the NNT3

Exodus 29 in the PDDPT

Exodus 29 in the PFNT

Exodus 29 in the RMNT

Exodus 29 in the SBIAS

Exodus 29 in the SBIBS

Exodus 29 in the SBIBS2

Exodus 29 in the SBICS

Exodus 29 in the SBIDS

Exodus 29 in the SBIGS

Exodus 29 in the SBIHS

Exodus 29 in the SBIIS

Exodus 29 in the SBIIS2

Exodus 29 in the SBIIS3

Exodus 29 in the SBIKS

Exodus 29 in the SBIKS2

Exodus 29 in the SBIMS

Exodus 29 in the SBIOS

Exodus 29 in the SBIPS

Exodus 29 in the SBISS

Exodus 29 in the SBITS

Exodus 29 in the SBITS2

Exodus 29 in the SBITS3

Exodus 29 in the SBITS4

Exodus 29 in the SBIUS

Exodus 29 in the SBIVS

Exodus 29 in the SBT

Exodus 29 in the SBT1E

Exodus 29 in the SCHL

Exodus 29 in the SNT

Exodus 29 in the SUSU

Exodus 29 in the SUSU2

Exodus 29 in the SYNO

Exodus 29 in the TBIAOTANT

Exodus 29 in the TBT1E

Exodus 29 in the TBT1E2

Exodus 29 in the TFTIP

Exodus 29 in the TFTU

Exodus 29 in the TGNTATF3T

Exodus 29 in the THAI

Exodus 29 in the TNFD

Exodus 29 in the TNT

Exodus 29 in the TNTIK

Exodus 29 in the TNTIL

Exodus 29 in the TNTIN

Exodus 29 in the TNTIP

Exodus 29 in the TNTIZ

Exodus 29 in the TOMA

Exodus 29 in the TTENT

Exodus 29 in the UBG

Exodus 29 in the UGV

Exodus 29 in the UGV2

Exodus 29 in the UGV3

Exodus 29 in the VBL

Exodus 29 in the VDCC

Exodus 29 in the YALU

Exodus 29 in the YAPE

Exodus 29 in the YBVTP

Exodus 29 in the ZBP