Exodus 39 (BOLCB)

1 Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 2 Awo ne bakola ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 3 Ne baweesa zaabu ey’oluwewere, ne bagisala obulere ne babukozesa awamu n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi omulange, nga bikoleddwa mu majjolobera agakoleddwa n’obukugu. 4 Ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne bagikolera eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, n’egattibwa bulungi. 5 Ne bakola omusipi gwayo n’amagezi mangi ng’agaakola ekkanzu ey’obwakabona, n’ebyakozesebwa nga bye bimu. Ewuzi nga za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 6 Ne baddira amayinja ga onuku ne bagakwasiza mu mapeesa aga zaabu, ng’amayinja gawandiikiddwako, ng’empeta bw’ewandiikwako, amannya g’abaana ba Isirayiri. 7 Ne bagakwasiza ku byokubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, okubeeranga amayinja g’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri; nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 8 Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange. 9 Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati. 10 Ne batungirako ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka bassaamu amayinja: sadiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 11 ne mu lunyiriri olwokubiri bassaamu amayinja: nnawandagala, ne safiro ne alimaasi; 12 ne mu lunyiriri olwokusatu bassaamu amayinja: jasinta, ne ageti, ne amesusito; 13 ne mu lunyiriri olwokuna bassaamu amayinja: berulo, ne onuku, ne yasipero; ne gategekebwa mu fuleemu eya zaabu. 14 Waaliwo amayinja ag’omuwendo kkumi n’abiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya g’abaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ng’obubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri. 15 Ku kyomukifuba baakolerako enjegere ennange ng’emiguwa, nga za zaabu omuka; 16 ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu n’empeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 17 Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 18 Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ez’enjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso g’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 19 Era baakola empeta bbiri eza zaabu ne bazitunga ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba ku luuyi olw’omunda olwali luliraanye ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 20 Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi eby’eby’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi lw’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 21 Baasiba empeta ez’oku kyomukifuba wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi n’akaguwa aka bbululu, ne bakagatta n’omusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eya efodi. Byakolebwa nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 22 Baakola ekyambalo eky’omunda mu kkanzu ey’obwakabona eya efodi, nga kiruke era nga kya bbululu kyonna. 23 Ne bassa ekituli wakati mu kyambalo omw’okuyisa omutwe. Ku kituli ekyo ne beetooloozaako omuge omuyonde ng’omuleera kireme okuyulika. 24 Okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo wansi ne batungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange obulungi. 25 Era ne bakola n’obude obwa zaabu omuka, ne bagenda nga babutobeka mu majjolobera; 26 baatunga amajjolobera ne baddirizaako akade, ate ne batunga amajjolobera ne baddirizaako akade, okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo eky’okuweererezangamu; nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 27 Era ne bakolera Alooni n’abaana be amakooti agaalukibwa mu wuzi eza linena omulebevu omulungi. 28 Ne bakola n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu omulungi, era n’enkuufiira ne bazikola mu linena omulebevu omulungi; ne bakola n’empale mu linena omulebevu omulungi omulange, 29 n’omusipi mu linena omulebevu omulungi omulange ow’ewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ng’omudalizo n’amagezi mangi; nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 30 Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti:Mutukuvu wa MUKAMA. 31 Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 32 Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya MUKAMA, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 33 Awo Weema ya MUKAMA ne bagireetera Musa; Eweema yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu; 34 ekibikkako eky’amaliba g’endiga amakunye amannyike mu langi emyufu, n’amaliba g’embuzi amakunye, n’eggigi ery’okutimba; 35 essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira; 36 emmeeza ne byonna ebigibeerako, n’emigaati egy’Okulaga; 37 ekikondo ky’ettaala ekya zaabu omuka, n’ettaala zaako n’ebigenderako ebikozesebwa, n’amafuta gaazo; 38 ekyoto ekya zaabu, amafuta ag’okwawula n’obubaane obw’akawoowo, n’olutimbe olw’omulyango oguyingira mu Weema; 39 ekyoto eky’ekikomo n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako;ebbensani ne ky’etuulamu; 40 entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya,emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo;ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya MUKAMA, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu; 41 ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza. 42 Nga MUKAMA bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola. 43 Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga MUKAMA bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.

In Other Versions

Exodus 39 in the ANGEFD

Exodus 39 in the ANTPNG2D

Exodus 39 in the AS21

Exodus 39 in the BAGH

Exodus 39 in the BBPNG

Exodus 39 in the BBT1E

Exodus 39 in the BDS

Exodus 39 in the BEV

Exodus 39 in the BHAD

Exodus 39 in the BIB

Exodus 39 in the BLPT

Exodus 39 in the BNT

Exodus 39 in the BNTABOOT

Exodus 39 in the BNTLV

Exodus 39 in the BOATCB

Exodus 39 in the BOATCB2

Exodus 39 in the BOBCV

Exodus 39 in the BOCNT

Exodus 39 in the BOECS

Exodus 39 in the BOGWICC

Exodus 39 in the BOHCB

Exodus 39 in the BOHCV

Exodus 39 in the BOHLNT

Exodus 39 in the BOHNTLTAL

Exodus 39 in the BOICB

Exodus 39 in the BOILNTAP

Exodus 39 in the BOITCV

Exodus 39 in the BOKCV

Exodus 39 in the BOKCV2

Exodus 39 in the BOKHWOG

Exodus 39 in the BOKSSV

Exodus 39 in the BOLCB2

Exodus 39 in the BOMCV

Exodus 39 in the BONAV

Exodus 39 in the BONCB

Exodus 39 in the BONLT

Exodus 39 in the BONUT2

Exodus 39 in the BOPLNT

Exodus 39 in the BOSCB

Exodus 39 in the BOSNC

Exodus 39 in the BOTLNT

Exodus 39 in the BOVCB

Exodus 39 in the BOYCB

Exodus 39 in the BPBB

Exodus 39 in the BPH

Exodus 39 in the BSB

Exodus 39 in the CCB

Exodus 39 in the CUV

Exodus 39 in the CUVS

Exodus 39 in the DBT

Exodus 39 in the DGDNT

Exodus 39 in the DHNT

Exodus 39 in the DNT

Exodus 39 in the ELBE

Exodus 39 in the EMTV

Exodus 39 in the ESV

Exodus 39 in the FBV

Exodus 39 in the FEB

Exodus 39 in the GGMNT

Exodus 39 in the GNT

Exodus 39 in the HARY

Exodus 39 in the HNT

Exodus 39 in the IRVA

Exodus 39 in the IRVB

Exodus 39 in the IRVG

Exodus 39 in the IRVH

Exodus 39 in the IRVK

Exodus 39 in the IRVM

Exodus 39 in the IRVM2

Exodus 39 in the IRVO

Exodus 39 in the IRVP

Exodus 39 in the IRVT

Exodus 39 in the IRVT2

Exodus 39 in the IRVU

Exodus 39 in the ISVN

Exodus 39 in the JSNT

Exodus 39 in the KAPI

Exodus 39 in the KBT1ETNIK

Exodus 39 in the KBV

Exodus 39 in the KJV

Exodus 39 in the KNFD

Exodus 39 in the LBA

Exodus 39 in the LBLA

Exodus 39 in the LNT

Exodus 39 in the LSV

Exodus 39 in the MAAL

Exodus 39 in the MBV

Exodus 39 in the MBV2

Exodus 39 in the MHNT

Exodus 39 in the MKNFD

Exodus 39 in the MNG

Exodus 39 in the MNT

Exodus 39 in the MNT2

Exodus 39 in the MRS1T

Exodus 39 in the NAA

Exodus 39 in the NASB

Exodus 39 in the NBLA

Exodus 39 in the NBS

Exodus 39 in the NBVTP

Exodus 39 in the NET2

Exodus 39 in the NIV11

Exodus 39 in the NNT

Exodus 39 in the NNT2

Exodus 39 in the NNT3

Exodus 39 in the PDDPT

Exodus 39 in the PFNT

Exodus 39 in the RMNT

Exodus 39 in the SBIAS

Exodus 39 in the SBIBS

Exodus 39 in the SBIBS2

Exodus 39 in the SBICS

Exodus 39 in the SBIDS

Exodus 39 in the SBIGS

Exodus 39 in the SBIHS

Exodus 39 in the SBIIS

Exodus 39 in the SBIIS2

Exodus 39 in the SBIIS3

Exodus 39 in the SBIKS

Exodus 39 in the SBIKS2

Exodus 39 in the SBIMS

Exodus 39 in the SBIOS

Exodus 39 in the SBIPS

Exodus 39 in the SBISS

Exodus 39 in the SBITS

Exodus 39 in the SBITS2

Exodus 39 in the SBITS3

Exodus 39 in the SBITS4

Exodus 39 in the SBIUS

Exodus 39 in the SBIVS

Exodus 39 in the SBT

Exodus 39 in the SBT1E

Exodus 39 in the SCHL

Exodus 39 in the SNT

Exodus 39 in the SUSU

Exodus 39 in the SUSU2

Exodus 39 in the SYNO

Exodus 39 in the TBIAOTANT

Exodus 39 in the TBT1E

Exodus 39 in the TBT1E2

Exodus 39 in the TFTIP

Exodus 39 in the TFTU

Exodus 39 in the TGNTATF3T

Exodus 39 in the THAI

Exodus 39 in the TNFD

Exodus 39 in the TNT

Exodus 39 in the TNTIK

Exodus 39 in the TNTIL

Exodus 39 in the TNTIN

Exodus 39 in the TNTIP

Exodus 39 in the TNTIZ

Exodus 39 in the TOMA

Exodus 39 in the TTENT

Exodus 39 in the UBG

Exodus 39 in the UGV

Exodus 39 in the UGV2

Exodus 39 in the UGV3

Exodus 39 in the VBL

Exodus 39 in the VDCC

Exodus 39 in the YALU

Exodus 39 in the YAPE

Exodus 39 in the YBVTP

Exodus 39 in the ZBP