Ezekiel 18 (BOLCB)

1 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 “Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,“ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa,n’amannyo g’abaana ganyenyeera’? 3 “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera MUKAMA Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. 4 Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange. 5 “Emmeeme eyonoona ye erifa,omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu; 6 nga talya mu masabo agali ku nsozinewaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala; 7 omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,naye asasula ebbanja lye lyonna,atanyaga muntu yenna,naye emmere ye agigabira abayala,n’ayambaza n’abali obwereere; 8 atawola lwa magobanewaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.Yeewala okukola ekibi,era asala emisango egy’ensonga. 9 Agoberera ebiragiro byange,n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,oyo ye muntu omutuukirivuera aliba mulamu,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 10 “Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:“N’alya mu masabo agali ku nsozi,n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we, 12 n’anyigiriza omwavu n’omunaku,n’okubba n’abba,n’atasasula kye yeeyama,n’asinza bakatonda abalala,n’akola eby’ekivve, 13 n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. 14 “Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo; 15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozinewaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we, 16 atanyigiriza muntu yennanewaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,atabba, naye agabira emmere abayalan’abali obwereeren’abambaza. 17 Yeekuuma obutakola kibi,n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne. 19 “Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 20 Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye. 21 “Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 22 Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 23 Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera MUKAMA. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu? 24 “Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa. 25 “Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? 26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. 27 Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. 28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya? 30 “Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera MUKAMA. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. 31 Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? 32 Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera MUKAMA Katonda. Mwenenye mube balamu.”

In Other Versions

Ezekiel 18 in the ANGEFD

Ezekiel 18 in the ANTPNG2D

Ezekiel 18 in the AS21

Ezekiel 18 in the BAGH

Ezekiel 18 in the BBPNG

Ezekiel 18 in the BBT1E

Ezekiel 18 in the BDS

Ezekiel 18 in the BEV

Ezekiel 18 in the BHAD

Ezekiel 18 in the BIB

Ezekiel 18 in the BLPT

Ezekiel 18 in the BNT

Ezekiel 18 in the BNTABOOT

Ezekiel 18 in the BNTLV

Ezekiel 18 in the BOATCB

Ezekiel 18 in the BOATCB2

Ezekiel 18 in the BOBCV

Ezekiel 18 in the BOCNT

Ezekiel 18 in the BOECS

Ezekiel 18 in the BOGWICC

Ezekiel 18 in the BOHCB

Ezekiel 18 in the BOHCV

Ezekiel 18 in the BOHLNT

Ezekiel 18 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 18 in the BOICB

Ezekiel 18 in the BOILNTAP

Ezekiel 18 in the BOITCV

Ezekiel 18 in the BOKCV

Ezekiel 18 in the BOKCV2

Ezekiel 18 in the BOKHWOG

Ezekiel 18 in the BOKSSV

Ezekiel 18 in the BOLCB2

Ezekiel 18 in the BOMCV

Ezekiel 18 in the BONAV

Ezekiel 18 in the BONCB

Ezekiel 18 in the BONLT

Ezekiel 18 in the BONUT2

Ezekiel 18 in the BOPLNT

Ezekiel 18 in the BOSCB

Ezekiel 18 in the BOSNC

Ezekiel 18 in the BOTLNT

Ezekiel 18 in the BOVCB

Ezekiel 18 in the BOYCB

Ezekiel 18 in the BPBB

Ezekiel 18 in the BPH

Ezekiel 18 in the BSB

Ezekiel 18 in the CCB

Ezekiel 18 in the CUV

Ezekiel 18 in the CUVS

Ezekiel 18 in the DBT

Ezekiel 18 in the DGDNT

Ezekiel 18 in the DHNT

Ezekiel 18 in the DNT

Ezekiel 18 in the ELBE

Ezekiel 18 in the EMTV

Ezekiel 18 in the ESV

Ezekiel 18 in the FBV

Ezekiel 18 in the FEB

Ezekiel 18 in the GGMNT

Ezekiel 18 in the GNT

Ezekiel 18 in the HARY

Ezekiel 18 in the HNT

Ezekiel 18 in the IRVA

Ezekiel 18 in the IRVB

Ezekiel 18 in the IRVG

Ezekiel 18 in the IRVH

Ezekiel 18 in the IRVK

Ezekiel 18 in the IRVM

Ezekiel 18 in the IRVM2

Ezekiel 18 in the IRVO

Ezekiel 18 in the IRVP

Ezekiel 18 in the IRVT

Ezekiel 18 in the IRVT2

Ezekiel 18 in the IRVU

Ezekiel 18 in the ISVN

Ezekiel 18 in the JSNT

Ezekiel 18 in the KAPI

Ezekiel 18 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 18 in the KBV

Ezekiel 18 in the KJV

Ezekiel 18 in the KNFD

Ezekiel 18 in the LBA

Ezekiel 18 in the LBLA

Ezekiel 18 in the LNT

Ezekiel 18 in the LSV

Ezekiel 18 in the MAAL

Ezekiel 18 in the MBV

Ezekiel 18 in the MBV2

Ezekiel 18 in the MHNT

Ezekiel 18 in the MKNFD

Ezekiel 18 in the MNG

Ezekiel 18 in the MNT

Ezekiel 18 in the MNT2

Ezekiel 18 in the MRS1T

Ezekiel 18 in the NAA

Ezekiel 18 in the NASB

Ezekiel 18 in the NBLA

Ezekiel 18 in the NBS

Ezekiel 18 in the NBVTP

Ezekiel 18 in the NET2

Ezekiel 18 in the NIV11

Ezekiel 18 in the NNT

Ezekiel 18 in the NNT2

Ezekiel 18 in the NNT3

Ezekiel 18 in the PDDPT

Ezekiel 18 in the PFNT

Ezekiel 18 in the RMNT

Ezekiel 18 in the SBIAS

Ezekiel 18 in the SBIBS

Ezekiel 18 in the SBIBS2

Ezekiel 18 in the SBICS

Ezekiel 18 in the SBIDS

Ezekiel 18 in the SBIGS

Ezekiel 18 in the SBIHS

Ezekiel 18 in the SBIIS

Ezekiel 18 in the SBIIS2

Ezekiel 18 in the SBIIS3

Ezekiel 18 in the SBIKS

Ezekiel 18 in the SBIKS2

Ezekiel 18 in the SBIMS

Ezekiel 18 in the SBIOS

Ezekiel 18 in the SBIPS

Ezekiel 18 in the SBISS

Ezekiel 18 in the SBITS

Ezekiel 18 in the SBITS2

Ezekiel 18 in the SBITS3

Ezekiel 18 in the SBITS4

Ezekiel 18 in the SBIUS

Ezekiel 18 in the SBIVS

Ezekiel 18 in the SBT

Ezekiel 18 in the SBT1E

Ezekiel 18 in the SCHL

Ezekiel 18 in the SNT

Ezekiel 18 in the SUSU

Ezekiel 18 in the SUSU2

Ezekiel 18 in the SYNO

Ezekiel 18 in the TBIAOTANT

Ezekiel 18 in the TBT1E

Ezekiel 18 in the TBT1E2

Ezekiel 18 in the TFTIP

Ezekiel 18 in the TFTU

Ezekiel 18 in the TGNTATF3T

Ezekiel 18 in the THAI

Ezekiel 18 in the TNFD

Ezekiel 18 in the TNT

Ezekiel 18 in the TNTIK

Ezekiel 18 in the TNTIL

Ezekiel 18 in the TNTIN

Ezekiel 18 in the TNTIP

Ezekiel 18 in the TNTIZ

Ezekiel 18 in the TOMA

Ezekiel 18 in the TTENT

Ezekiel 18 in the UBG

Ezekiel 18 in the UGV

Ezekiel 18 in the UGV2

Ezekiel 18 in the UGV3

Ezekiel 18 in the VBL

Ezekiel 18 in the VDCC

Ezekiel 18 in the YALU

Ezekiel 18 in the YAPE

Ezekiel 18 in the YBVTP

Ezekiel 18 in the ZBP