Ezekiel 23 (BOLCB)

1 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu, 3 abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja. 4 Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi. 5 “Okola n’akola obwamalaaya ng’akyali wange, n’akabawala ku baganzi be Abasuuli, 6 abaserikale abaayambalanga kaniki, n’abaamasaza, n’abaduumizi b’eggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi. 7 Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze ab’e Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye. 8 Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri. 9 “Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo. 10 Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n’ekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n’ekibonerezo. 11 “Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe n’okusinga muganda we. 12 Yakabawala n’Abasuuli, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye n’abaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi n’abeebagalanga embalaasi n’abaalabikanga obulungi abeegombebwanga. 13 Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu. 14 “Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; n’alaba ebifaananyi eby’abasajja ebyasiigibwa ku bisenge, n’ebifaananyi eby’Abakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu, 15 nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye n’ebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ng’abakungu ba Babulooni abavuga amagaali ab’omu nsi ey’Abakaludaaya. 16 Awo olwatuuka, n’abeegomba, n’abatumira ababaka mu Bukaludaaya. 17 Era Abababulooni ne bajja gy’ali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako n’abaviira, nga yeetamiddwa. 18 Bwe yagenda mu maaso n’obwamalaaya bwe mu lwatu, n’ayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we. 19 Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ez’omu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, 20 gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ez’ekisajja nga zifaanana ez’endogoyi, n’amaanyi agabavaamu ng’ag’embalaasi. 21 Bw’otyo n’oyaayaanira okwegomba okw’omu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri ey’obukaba, ne bakwatirira n’amabeere go amato. 22 “Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna: 23 Abababulooni, n’Abakaludaaya bonna, n’abasajja ab’e Pekodi ne Sara ne Kowa, n’Abaasuli bonna wamu nabo, n’abavubuka abalabika obulungi, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye bonna, n’abakungu abavuga amagaali n’abaserikale ab’oku ntikko bonna, nga beebagadde embalaasi bonna. 24 Balikulumba nga balina amagaali, n’ebiwalulibwa n’ekibiina eky’abantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene n’entono nga bambadde n’enkuufiira ez’ebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ng’amateeka gaabwe bwe gali. 25 Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe n’amatu gammwe, n’abalisigalawo balifa n’ekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, n’abaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro. 26 Balibambulamu engoye zammwe, ne batwala n’eby’omu bulago. 27 Era ndikomya obukaba n’obwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri. 28 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa n’eri abo be weetamwa. 29 Balikukwata n’obukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, n’ensonyi z’obwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo n’obugwagwa bwo 30 bwe bukuleetedde ebyo, kubanga weegomba amawanga ne weeyonoona ne bakatonda baabwe. 31 Kubanga wagoberera ekkubo lya muganda wo, kyendiva nkuwa ekikompe kye mu mukono gwo. 32 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“Olinywa ekikompe kya muganda wo,ekikompe ekigazi era ekinene;kirikuleetera okusekererwa n’okuduulirwakubanga kirimu ebintu bingi. 33 Olijjuzibwa okutamiira n’ennaku,ekikompe eky’obuyinike era eky’okunakuwala,ekyo kye kikompe kya muganda wo Samaliya. 34 Olikinywa n’okikaliza;olikyasaayasa,ne weeyuzaayuza amabeere.Nze MUKAMA Katonda, nkyogedde. 35 “MUKAMA Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olw’okwegomba kwammwe.” 36 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olw’ebikolwa byabwe eby’ekivve, 37 kubanga bakoze eby’obwenzi, n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka n’abaana baabwe ng’emmere y’abakatonda baabwe, abaana be banzalira. 38 Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange. 39 Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange. 40 “Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi. 41 Watuula ku kitanda ekinene eky’ekitiibwa, n’oyalirira n’emmeeza mu maaso go ng’etegekeddwako obubaane bwange n’amafuta gange. 42 “Oluyoogaano olw’ekibinja ky’abantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n’abasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu eby’ebikomo ku mikono gy’omukazi ne muganda we, ne babatikkira n’engule ennungi ku mitwe gyabwe. 43 Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye olw’obwenzi nti, ‘Bamukozeseze ddala nga malaaya kubanga ekyo kyali.’ 44 Ne beebaka naye. Ng’abasajja bwe beebaka ne malaaya, bwe batyo beebaka n’abakazi abo abagwenyufu, Okola ne Okoliba. 45 Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. 46 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage. 47 Ekibiina ekyo kiribakuba amayinja ne babatemaatema n’ebitala; balitta batabani baabwe ne bawala baabwe ne bookya n’ennyumba zaabwe.’  48 “Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bakitwale ng’ekyokulabula, baleme okukola ebyo bye mwakola. 49 Mulisasulibwa olw’obukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olw’ebibi byammwe eby’okusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze MUKAMA Katonda.”

In Other Versions

Ezekiel 23 in the ANGEFD

Ezekiel 23 in the ANTPNG2D

Ezekiel 23 in the AS21

Ezekiel 23 in the BAGH

Ezekiel 23 in the BBPNG

Ezekiel 23 in the BBT1E

Ezekiel 23 in the BDS

Ezekiel 23 in the BEV

Ezekiel 23 in the BHAD

Ezekiel 23 in the BIB

Ezekiel 23 in the BLPT

Ezekiel 23 in the BNT

Ezekiel 23 in the BNTABOOT

Ezekiel 23 in the BNTLV

Ezekiel 23 in the BOATCB

Ezekiel 23 in the BOATCB2

Ezekiel 23 in the BOBCV

Ezekiel 23 in the BOCNT

Ezekiel 23 in the BOECS

Ezekiel 23 in the BOGWICC

Ezekiel 23 in the BOHCB

Ezekiel 23 in the BOHCV

Ezekiel 23 in the BOHLNT

Ezekiel 23 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 23 in the BOICB

Ezekiel 23 in the BOILNTAP

Ezekiel 23 in the BOITCV

Ezekiel 23 in the BOKCV

Ezekiel 23 in the BOKCV2

Ezekiel 23 in the BOKHWOG

Ezekiel 23 in the BOKSSV

Ezekiel 23 in the BOLCB2

Ezekiel 23 in the BOMCV

Ezekiel 23 in the BONAV

Ezekiel 23 in the BONCB

Ezekiel 23 in the BONLT

Ezekiel 23 in the BONUT2

Ezekiel 23 in the BOPLNT

Ezekiel 23 in the BOSCB

Ezekiel 23 in the BOSNC

Ezekiel 23 in the BOTLNT

Ezekiel 23 in the BOVCB

Ezekiel 23 in the BOYCB

Ezekiel 23 in the BPBB

Ezekiel 23 in the BPH

Ezekiel 23 in the BSB

Ezekiel 23 in the CCB

Ezekiel 23 in the CUV

Ezekiel 23 in the CUVS

Ezekiel 23 in the DBT

Ezekiel 23 in the DGDNT

Ezekiel 23 in the DHNT

Ezekiel 23 in the DNT

Ezekiel 23 in the ELBE

Ezekiel 23 in the EMTV

Ezekiel 23 in the ESV

Ezekiel 23 in the FBV

Ezekiel 23 in the FEB

Ezekiel 23 in the GGMNT

Ezekiel 23 in the GNT

Ezekiel 23 in the HARY

Ezekiel 23 in the HNT

Ezekiel 23 in the IRVA

Ezekiel 23 in the IRVB

Ezekiel 23 in the IRVG

Ezekiel 23 in the IRVH

Ezekiel 23 in the IRVK

Ezekiel 23 in the IRVM

Ezekiel 23 in the IRVM2

Ezekiel 23 in the IRVO

Ezekiel 23 in the IRVP

Ezekiel 23 in the IRVT

Ezekiel 23 in the IRVT2

Ezekiel 23 in the IRVU

Ezekiel 23 in the ISVN

Ezekiel 23 in the JSNT

Ezekiel 23 in the KAPI

Ezekiel 23 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 23 in the KBV

Ezekiel 23 in the KJV

Ezekiel 23 in the KNFD

Ezekiel 23 in the LBA

Ezekiel 23 in the LBLA

Ezekiel 23 in the LNT

Ezekiel 23 in the LSV

Ezekiel 23 in the MAAL

Ezekiel 23 in the MBV

Ezekiel 23 in the MBV2

Ezekiel 23 in the MHNT

Ezekiel 23 in the MKNFD

Ezekiel 23 in the MNG

Ezekiel 23 in the MNT

Ezekiel 23 in the MNT2

Ezekiel 23 in the MRS1T

Ezekiel 23 in the NAA

Ezekiel 23 in the NASB

Ezekiel 23 in the NBLA

Ezekiel 23 in the NBS

Ezekiel 23 in the NBVTP

Ezekiel 23 in the NET2

Ezekiel 23 in the NIV11

Ezekiel 23 in the NNT

Ezekiel 23 in the NNT2

Ezekiel 23 in the NNT3

Ezekiel 23 in the PDDPT

Ezekiel 23 in the PFNT

Ezekiel 23 in the RMNT

Ezekiel 23 in the SBIAS

Ezekiel 23 in the SBIBS

Ezekiel 23 in the SBIBS2

Ezekiel 23 in the SBICS

Ezekiel 23 in the SBIDS

Ezekiel 23 in the SBIGS

Ezekiel 23 in the SBIHS

Ezekiel 23 in the SBIIS

Ezekiel 23 in the SBIIS2

Ezekiel 23 in the SBIIS3

Ezekiel 23 in the SBIKS

Ezekiel 23 in the SBIKS2

Ezekiel 23 in the SBIMS

Ezekiel 23 in the SBIOS

Ezekiel 23 in the SBIPS

Ezekiel 23 in the SBISS

Ezekiel 23 in the SBITS

Ezekiel 23 in the SBITS2

Ezekiel 23 in the SBITS3

Ezekiel 23 in the SBITS4

Ezekiel 23 in the SBIUS

Ezekiel 23 in the SBIVS

Ezekiel 23 in the SBT

Ezekiel 23 in the SBT1E

Ezekiel 23 in the SCHL

Ezekiel 23 in the SNT

Ezekiel 23 in the SUSU

Ezekiel 23 in the SUSU2

Ezekiel 23 in the SYNO

Ezekiel 23 in the TBIAOTANT

Ezekiel 23 in the TBT1E

Ezekiel 23 in the TBT1E2

Ezekiel 23 in the TFTIP

Ezekiel 23 in the TFTU

Ezekiel 23 in the TGNTATF3T

Ezekiel 23 in the THAI

Ezekiel 23 in the TNFD

Ezekiel 23 in the TNT

Ezekiel 23 in the TNTIK

Ezekiel 23 in the TNTIL

Ezekiel 23 in the TNTIN

Ezekiel 23 in the TNTIP

Ezekiel 23 in the TNTIZ

Ezekiel 23 in the TOMA

Ezekiel 23 in the TTENT

Ezekiel 23 in the UBG

Ezekiel 23 in the UGV

Ezekiel 23 in the UGV2

Ezekiel 23 in the UGV3

Ezekiel 23 in the VBL

Ezekiel 23 in the VDCC

Ezekiel 23 in the YALU

Ezekiel 23 in the YAPE

Ezekiel 23 in the YBVTP

Ezekiel 23 in the ZBP