Ezekiel 4 (BOLCB)

1 “Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, 2 okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna. 3 “Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri. 4 “N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. 5 Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri. 6 “Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. 7 Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, 8 Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako. 9 “Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. 10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. 12 Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” 13 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.” 14 Ne njogera nti, “Nedda Ayi MUKAMA Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.” 15 N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.” 16 N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, 17 kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”

In Other Versions

Ezekiel 4 in the ANGEFD

Ezekiel 4 in the ANTPNG2D

Ezekiel 4 in the AS21

Ezekiel 4 in the BAGH

Ezekiel 4 in the BBPNG

Ezekiel 4 in the BBT1E

Ezekiel 4 in the BDS

Ezekiel 4 in the BEV

Ezekiel 4 in the BHAD

Ezekiel 4 in the BIB

Ezekiel 4 in the BLPT

Ezekiel 4 in the BNT

Ezekiel 4 in the BNTABOOT

Ezekiel 4 in the BNTLV

Ezekiel 4 in the BOATCB

Ezekiel 4 in the BOATCB2

Ezekiel 4 in the BOBCV

Ezekiel 4 in the BOCNT

Ezekiel 4 in the BOECS

Ezekiel 4 in the BOGWICC

Ezekiel 4 in the BOHCB

Ezekiel 4 in the BOHCV

Ezekiel 4 in the BOHLNT

Ezekiel 4 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 4 in the BOICB

Ezekiel 4 in the BOILNTAP

Ezekiel 4 in the BOITCV

Ezekiel 4 in the BOKCV

Ezekiel 4 in the BOKCV2

Ezekiel 4 in the BOKHWOG

Ezekiel 4 in the BOKSSV

Ezekiel 4 in the BOLCB2

Ezekiel 4 in the BOMCV

Ezekiel 4 in the BONAV

Ezekiel 4 in the BONCB

Ezekiel 4 in the BONLT

Ezekiel 4 in the BONUT2

Ezekiel 4 in the BOPLNT

Ezekiel 4 in the BOSCB

Ezekiel 4 in the BOSNC

Ezekiel 4 in the BOTLNT

Ezekiel 4 in the BOVCB

Ezekiel 4 in the BOYCB

Ezekiel 4 in the BPBB

Ezekiel 4 in the BPH

Ezekiel 4 in the BSB

Ezekiel 4 in the CCB

Ezekiel 4 in the CUV

Ezekiel 4 in the CUVS

Ezekiel 4 in the DBT

Ezekiel 4 in the DGDNT

Ezekiel 4 in the DHNT

Ezekiel 4 in the DNT

Ezekiel 4 in the ELBE

Ezekiel 4 in the EMTV

Ezekiel 4 in the ESV

Ezekiel 4 in the FBV

Ezekiel 4 in the FEB

Ezekiel 4 in the GGMNT

Ezekiel 4 in the GNT

Ezekiel 4 in the HARY

Ezekiel 4 in the HNT

Ezekiel 4 in the IRVA

Ezekiel 4 in the IRVB

Ezekiel 4 in the IRVG

Ezekiel 4 in the IRVH

Ezekiel 4 in the IRVK

Ezekiel 4 in the IRVM

Ezekiel 4 in the IRVM2

Ezekiel 4 in the IRVO

Ezekiel 4 in the IRVP

Ezekiel 4 in the IRVT

Ezekiel 4 in the IRVT2

Ezekiel 4 in the IRVU

Ezekiel 4 in the ISVN

Ezekiel 4 in the JSNT

Ezekiel 4 in the KAPI

Ezekiel 4 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 4 in the KBV

Ezekiel 4 in the KJV

Ezekiel 4 in the KNFD

Ezekiel 4 in the LBA

Ezekiel 4 in the LBLA

Ezekiel 4 in the LNT

Ezekiel 4 in the LSV

Ezekiel 4 in the MAAL

Ezekiel 4 in the MBV

Ezekiel 4 in the MBV2

Ezekiel 4 in the MHNT

Ezekiel 4 in the MKNFD

Ezekiel 4 in the MNG

Ezekiel 4 in the MNT

Ezekiel 4 in the MNT2

Ezekiel 4 in the MRS1T

Ezekiel 4 in the NAA

Ezekiel 4 in the NASB

Ezekiel 4 in the NBLA

Ezekiel 4 in the NBS

Ezekiel 4 in the NBVTP

Ezekiel 4 in the NET2

Ezekiel 4 in the NIV11

Ezekiel 4 in the NNT

Ezekiel 4 in the NNT2

Ezekiel 4 in the NNT3

Ezekiel 4 in the PDDPT

Ezekiel 4 in the PFNT

Ezekiel 4 in the RMNT

Ezekiel 4 in the SBIAS

Ezekiel 4 in the SBIBS

Ezekiel 4 in the SBIBS2

Ezekiel 4 in the SBICS

Ezekiel 4 in the SBIDS

Ezekiel 4 in the SBIGS

Ezekiel 4 in the SBIHS

Ezekiel 4 in the SBIIS

Ezekiel 4 in the SBIIS2

Ezekiel 4 in the SBIIS3

Ezekiel 4 in the SBIKS

Ezekiel 4 in the SBIKS2

Ezekiel 4 in the SBIMS

Ezekiel 4 in the SBIOS

Ezekiel 4 in the SBIPS

Ezekiel 4 in the SBISS

Ezekiel 4 in the SBITS

Ezekiel 4 in the SBITS2

Ezekiel 4 in the SBITS3

Ezekiel 4 in the SBITS4

Ezekiel 4 in the SBIUS

Ezekiel 4 in the SBIVS

Ezekiel 4 in the SBT

Ezekiel 4 in the SBT1E

Ezekiel 4 in the SCHL

Ezekiel 4 in the SNT

Ezekiel 4 in the SUSU

Ezekiel 4 in the SUSU2

Ezekiel 4 in the SYNO

Ezekiel 4 in the TBIAOTANT

Ezekiel 4 in the TBT1E

Ezekiel 4 in the TBT1E2

Ezekiel 4 in the TFTIP

Ezekiel 4 in the TFTU

Ezekiel 4 in the TGNTATF3T

Ezekiel 4 in the THAI

Ezekiel 4 in the TNFD

Ezekiel 4 in the TNT

Ezekiel 4 in the TNTIK

Ezekiel 4 in the TNTIL

Ezekiel 4 in the TNTIN

Ezekiel 4 in the TNTIP

Ezekiel 4 in the TNTIZ

Ezekiel 4 in the TOMA

Ezekiel 4 in the TTENT

Ezekiel 4 in the UBG

Ezekiel 4 in the UGV

Ezekiel 4 in the UGV2

Ezekiel 4 in the UGV3

Ezekiel 4 in the VBL

Ezekiel 4 in the VDCC

Ezekiel 4 in the YALU

Ezekiel 4 in the YAPE

Ezekiel 4 in the YBVTP

Ezekiel 4 in the ZBP