Ezekiel 46 (BOLCB)

1 “ ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. 2 Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. 3 Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga MUKAMA ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. 4 Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri MUKAMA ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo; 5 n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 6 Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo; 7 era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 8 Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga. 9 “ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga MUKAMA ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko. 10 Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga. 11 Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 12 “ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri MUKAMA, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa. 13 “ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri MUKAMA buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya. 14 Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri MUKAMA ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo. 15 Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo. 16 “ ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano. 17 Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka. 18 Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ” 19 Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba. 20 N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.” 21 N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala. 22 Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu. 23 Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna. 24 N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”

In Other Versions

Ezekiel 46 in the ANGEFD

Ezekiel 46 in the ANTPNG2D

Ezekiel 46 in the AS21

Ezekiel 46 in the BAGH

Ezekiel 46 in the BBPNG

Ezekiel 46 in the BBT1E

Ezekiel 46 in the BDS

Ezekiel 46 in the BEV

Ezekiel 46 in the BHAD

Ezekiel 46 in the BIB

Ezekiel 46 in the BLPT

Ezekiel 46 in the BNT

Ezekiel 46 in the BNTABOOT

Ezekiel 46 in the BNTLV

Ezekiel 46 in the BOATCB

Ezekiel 46 in the BOATCB2

Ezekiel 46 in the BOBCV

Ezekiel 46 in the BOCNT

Ezekiel 46 in the BOECS

Ezekiel 46 in the BOGWICC

Ezekiel 46 in the BOHCB

Ezekiel 46 in the BOHCV

Ezekiel 46 in the BOHLNT

Ezekiel 46 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 46 in the BOICB

Ezekiel 46 in the BOILNTAP

Ezekiel 46 in the BOITCV

Ezekiel 46 in the BOKCV

Ezekiel 46 in the BOKCV2

Ezekiel 46 in the BOKHWOG

Ezekiel 46 in the BOKSSV

Ezekiel 46 in the BOLCB2

Ezekiel 46 in the BOMCV

Ezekiel 46 in the BONAV

Ezekiel 46 in the BONCB

Ezekiel 46 in the BONLT

Ezekiel 46 in the BONUT2

Ezekiel 46 in the BOPLNT

Ezekiel 46 in the BOSCB

Ezekiel 46 in the BOSNC

Ezekiel 46 in the BOTLNT

Ezekiel 46 in the BOVCB

Ezekiel 46 in the BOYCB

Ezekiel 46 in the BPBB

Ezekiel 46 in the BPH

Ezekiel 46 in the BSB

Ezekiel 46 in the CCB

Ezekiel 46 in the CUV

Ezekiel 46 in the CUVS

Ezekiel 46 in the DBT

Ezekiel 46 in the DGDNT

Ezekiel 46 in the DHNT

Ezekiel 46 in the DNT

Ezekiel 46 in the ELBE

Ezekiel 46 in the EMTV

Ezekiel 46 in the ESV

Ezekiel 46 in the FBV

Ezekiel 46 in the FEB

Ezekiel 46 in the GGMNT

Ezekiel 46 in the GNT

Ezekiel 46 in the HARY

Ezekiel 46 in the HNT

Ezekiel 46 in the IRVA

Ezekiel 46 in the IRVB

Ezekiel 46 in the IRVG

Ezekiel 46 in the IRVH

Ezekiel 46 in the IRVK

Ezekiel 46 in the IRVM

Ezekiel 46 in the IRVM2

Ezekiel 46 in the IRVO

Ezekiel 46 in the IRVP

Ezekiel 46 in the IRVT

Ezekiel 46 in the IRVT2

Ezekiel 46 in the IRVU

Ezekiel 46 in the ISVN

Ezekiel 46 in the JSNT

Ezekiel 46 in the KAPI

Ezekiel 46 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 46 in the KBV

Ezekiel 46 in the KJV

Ezekiel 46 in the KNFD

Ezekiel 46 in the LBA

Ezekiel 46 in the LBLA

Ezekiel 46 in the LNT

Ezekiel 46 in the LSV

Ezekiel 46 in the MAAL

Ezekiel 46 in the MBV

Ezekiel 46 in the MBV2

Ezekiel 46 in the MHNT

Ezekiel 46 in the MKNFD

Ezekiel 46 in the MNG

Ezekiel 46 in the MNT

Ezekiel 46 in the MNT2

Ezekiel 46 in the MRS1T

Ezekiel 46 in the NAA

Ezekiel 46 in the NASB

Ezekiel 46 in the NBLA

Ezekiel 46 in the NBS

Ezekiel 46 in the NBVTP

Ezekiel 46 in the NET2

Ezekiel 46 in the NIV11

Ezekiel 46 in the NNT

Ezekiel 46 in the NNT2

Ezekiel 46 in the NNT3

Ezekiel 46 in the PDDPT

Ezekiel 46 in the PFNT

Ezekiel 46 in the RMNT

Ezekiel 46 in the SBIAS

Ezekiel 46 in the SBIBS

Ezekiel 46 in the SBIBS2

Ezekiel 46 in the SBICS

Ezekiel 46 in the SBIDS

Ezekiel 46 in the SBIGS

Ezekiel 46 in the SBIHS

Ezekiel 46 in the SBIIS

Ezekiel 46 in the SBIIS2

Ezekiel 46 in the SBIIS3

Ezekiel 46 in the SBIKS

Ezekiel 46 in the SBIKS2

Ezekiel 46 in the SBIMS

Ezekiel 46 in the SBIOS

Ezekiel 46 in the SBIPS

Ezekiel 46 in the SBISS

Ezekiel 46 in the SBITS

Ezekiel 46 in the SBITS2

Ezekiel 46 in the SBITS3

Ezekiel 46 in the SBITS4

Ezekiel 46 in the SBIUS

Ezekiel 46 in the SBIVS

Ezekiel 46 in the SBT

Ezekiel 46 in the SBT1E

Ezekiel 46 in the SCHL

Ezekiel 46 in the SNT

Ezekiel 46 in the SUSU

Ezekiel 46 in the SUSU2

Ezekiel 46 in the SYNO

Ezekiel 46 in the TBIAOTANT

Ezekiel 46 in the TBT1E

Ezekiel 46 in the TBT1E2

Ezekiel 46 in the TFTIP

Ezekiel 46 in the TFTU

Ezekiel 46 in the TGNTATF3T

Ezekiel 46 in the THAI

Ezekiel 46 in the TNFD

Ezekiel 46 in the TNT

Ezekiel 46 in the TNTIK

Ezekiel 46 in the TNTIL

Ezekiel 46 in the TNTIN

Ezekiel 46 in the TNTIP

Ezekiel 46 in the TNTIZ

Ezekiel 46 in the TOMA

Ezekiel 46 in the TTENT

Ezekiel 46 in the UBG

Ezekiel 46 in the UGV

Ezekiel 46 in the UGV2

Ezekiel 46 in the UGV3

Ezekiel 46 in the VBL

Ezekiel 46 in the VDCC

Ezekiel 46 in the YALU

Ezekiel 46 in the YAPE

Ezekiel 46 in the YBVTP

Ezekiel 46 in the ZBP