Ezra 4 (BOLCB)

1 Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng’abaana ba Isirayiri abaali mu buwaŋŋanguse batandise okuddaabiriza yeekaalu ya MUKAMA, Katonda wa Isirayiri, 2 ne bagenda eri Zerubbaberi n’abakulu b’ebika ne boogera nti, “Mutukkirize tubayambeko okuzimba, kubanga tuli nga mmwe, era tusinza Katonda wammwe, era okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w’e Bwasuli, eyatuleeta wano tuwaayo ssaddaaka eri Katonda wammwe.” 3 Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira MUKAMA Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira.” 4 Awo abantu be baalimu ne bamalirira okulemesa abantu ba Yuda, ne babatiisatiisa okuzimba. 5 Ne bagulirira abantu okubawakanya n’okulemesa enteekateeka yaabwe, ebbanga lyonna Kuulo kabaka w’e Buperusi lye yafuga, okutuusa Daliyo kabaka w’e Buperusi lwe yalya obwakabaka. 6 Awo ku mirembe gya Akaswero nga ky’ajje alye obwakabaka, abalabe baabwe ne baawandiika ebintu eby’obulimba ne baloopa abantu ba Yuda ne Yerusaalemi. 7 Awo mu biro bya Alutagizerugizi, Bisulamu ne Misuledasi ne Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa mu nnukuta ez’Aramayika ne mu lulimi Olwaramayika. 8 Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa ekwata ku Yerusaalemi. 9 Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi awamu ne bannaabwe abalala, abalamuzi n’abakungu, n’Abaperusi, n’Abalukevi, n’Abababulooni, n’Abasusanuki, n’Abaweramu, 10 n’amawanga amalala, omukungu Osunappali be yakomyawo, n’abateeka mu bibuga bya Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w’omugga Fulaati ne bawandiika nti: 11 Ebbaluwa gye baawandiikira kabaka yali egamba nti,Eri kabaka Alutagizerugizi,Okuva eri abaddu bo abasajja ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati. 12 Kabaka asaanye ategeere nti Abayudaaya abaava gy’oli ne bajja gye tuli bagenze e Yerusaalemi okuddaabiriza ekibuga ekyo ekijeemu eky’abantu abakozi b’ebibi. Batandise okuddaabiriza emisingi n’okuzaawo bbugwe. 13 Ne nsonga endala, kabaka asaanye akimanye ng’ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, tebalisasula misolo nate, newaakubadde okuwa empooza, era ekiriva mu ekyo bwe bwakabaka okufiirwa. 14 Kale nno, olw’okuba nga tulina obuvunaanyizibwa eri obwakabaka, ate nga tetwandiyagadde kulaba nga kabaka aswazibwa, kyetuvudde tuweereza obubaka buno eri kabaka, 15 banoonye mu bitabo eby’okujjukiza ebya bajjajjaabo. Mu bitabo ebyo ojja kuzuula ng’ekibuga ekyo kibuga kijeemu, ekyalumya emitwe gya bakabaka n’abaamasaza, era nga kifo ekimanyiddwa ng’ekijeemu okuva mu biro eby’edda. Era kyekyava kizikirizibwa. 16 Tukakasa kabaka nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa ne bbugwe waakyo n’azzibwawo, tolibaako ne ky’osigaza emitala w’omugga Fulaati. 17 Awo kabaka n’abaddamu bw’ati nti:Eri Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaabeeranga mu Samaliya, ne mu bifo ebirala ebiri mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati,Mbalamusizza. 18 Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera. 19 Nalagira, okunoonyereza ne kukolebwa, era ne kizuulibwa ng’ekibuga ekyo, okuva edda kijeemera bakabaka, era ng’obujeemu n’ekyejo byakolebwanga omwo. 20 Yerusaalemi kyalina bakabaka ab’amaanyi abaafuganga essaza lyonna eriri emitala w’omugga Fulaati, era baaweebwanga emisolo, n’empooza okuva mu kitundu ekyo. 21 Kaakano muweereze ekiragiro eri abasajja abo bakomye omulimu ogw’okuddaabiriza ekibuga ekyo okutuusa ate bwe ndibalagira. 22 Musseeyo nnyo omwoyo okulaba nga temutenguwa mu nsonga eyo. Lwaki tukkiriza ensonga eyo okugenda mu maaso, okuleeta okufiirwa eri obwakabaka? 23 Amangwago ebbaluwa eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne bayanguwa okugenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi, ne babalekesaayo n’amaanyi okugenda mu maaso. 24 Awo omulimu ku nnyumba ya Katonda mu Yerusaalemi ne guyimirira okutuusa omwaka ogwokubiri ogw’omulembe gwa Daliyo kabaka w’e Buperusi.

In Other Versions

Ezra 4 in the ANGEFD

Ezra 4 in the ANTPNG2D

Ezra 4 in the AS21

Ezra 4 in the BAGH

Ezra 4 in the BBPNG

Ezra 4 in the BBT1E

Ezra 4 in the BDS

Ezra 4 in the BEV

Ezra 4 in the BHAD

Ezra 4 in the BIB

Ezra 4 in the BLPT

Ezra 4 in the BNT

Ezra 4 in the BNTABOOT

Ezra 4 in the BNTLV

Ezra 4 in the BOATCB

Ezra 4 in the BOATCB2

Ezra 4 in the BOBCV

Ezra 4 in the BOCNT

Ezra 4 in the BOECS

Ezra 4 in the BOGWICC

Ezra 4 in the BOHCB

Ezra 4 in the BOHCV

Ezra 4 in the BOHLNT

Ezra 4 in the BOHNTLTAL

Ezra 4 in the BOICB

Ezra 4 in the BOILNTAP

Ezra 4 in the BOITCV

Ezra 4 in the BOKCV

Ezra 4 in the BOKCV2

Ezra 4 in the BOKHWOG

Ezra 4 in the BOKSSV

Ezra 4 in the BOLCB2

Ezra 4 in the BOMCV

Ezra 4 in the BONAV

Ezra 4 in the BONCB

Ezra 4 in the BONLT

Ezra 4 in the BONUT2

Ezra 4 in the BOPLNT

Ezra 4 in the BOSCB

Ezra 4 in the BOSNC

Ezra 4 in the BOTLNT

Ezra 4 in the BOVCB

Ezra 4 in the BOYCB

Ezra 4 in the BPBB

Ezra 4 in the BPH

Ezra 4 in the BSB

Ezra 4 in the CCB

Ezra 4 in the CUV

Ezra 4 in the CUVS

Ezra 4 in the DBT

Ezra 4 in the DGDNT

Ezra 4 in the DHNT

Ezra 4 in the DNT

Ezra 4 in the ELBE

Ezra 4 in the EMTV

Ezra 4 in the ESV

Ezra 4 in the FBV

Ezra 4 in the FEB

Ezra 4 in the GGMNT

Ezra 4 in the GNT

Ezra 4 in the HARY

Ezra 4 in the HNT

Ezra 4 in the IRVA

Ezra 4 in the IRVB

Ezra 4 in the IRVG

Ezra 4 in the IRVH

Ezra 4 in the IRVK

Ezra 4 in the IRVM

Ezra 4 in the IRVM2

Ezra 4 in the IRVO

Ezra 4 in the IRVP

Ezra 4 in the IRVT

Ezra 4 in the IRVT2

Ezra 4 in the IRVU

Ezra 4 in the ISVN

Ezra 4 in the JSNT

Ezra 4 in the KAPI

Ezra 4 in the KBT1ETNIK

Ezra 4 in the KBV

Ezra 4 in the KJV

Ezra 4 in the KNFD

Ezra 4 in the LBA

Ezra 4 in the LBLA

Ezra 4 in the LNT

Ezra 4 in the LSV

Ezra 4 in the MAAL

Ezra 4 in the MBV

Ezra 4 in the MBV2

Ezra 4 in the MHNT

Ezra 4 in the MKNFD

Ezra 4 in the MNG

Ezra 4 in the MNT

Ezra 4 in the MNT2

Ezra 4 in the MRS1T

Ezra 4 in the NAA

Ezra 4 in the NASB

Ezra 4 in the NBLA

Ezra 4 in the NBS

Ezra 4 in the NBVTP

Ezra 4 in the NET2

Ezra 4 in the NIV11

Ezra 4 in the NNT

Ezra 4 in the NNT2

Ezra 4 in the NNT3

Ezra 4 in the PDDPT

Ezra 4 in the PFNT

Ezra 4 in the RMNT

Ezra 4 in the SBIAS

Ezra 4 in the SBIBS

Ezra 4 in the SBIBS2

Ezra 4 in the SBICS

Ezra 4 in the SBIDS

Ezra 4 in the SBIGS

Ezra 4 in the SBIHS

Ezra 4 in the SBIIS

Ezra 4 in the SBIIS2

Ezra 4 in the SBIIS3

Ezra 4 in the SBIKS

Ezra 4 in the SBIKS2

Ezra 4 in the SBIMS

Ezra 4 in the SBIOS

Ezra 4 in the SBIPS

Ezra 4 in the SBISS

Ezra 4 in the SBITS

Ezra 4 in the SBITS2

Ezra 4 in the SBITS3

Ezra 4 in the SBITS4

Ezra 4 in the SBIUS

Ezra 4 in the SBIVS

Ezra 4 in the SBT

Ezra 4 in the SBT1E

Ezra 4 in the SCHL

Ezra 4 in the SNT

Ezra 4 in the SUSU

Ezra 4 in the SUSU2

Ezra 4 in the SYNO

Ezra 4 in the TBIAOTANT

Ezra 4 in the TBT1E

Ezra 4 in the TBT1E2

Ezra 4 in the TFTIP

Ezra 4 in the TFTU

Ezra 4 in the TGNTATF3T

Ezra 4 in the THAI

Ezra 4 in the TNFD

Ezra 4 in the TNT

Ezra 4 in the TNTIK

Ezra 4 in the TNTIL

Ezra 4 in the TNTIN

Ezra 4 in the TNTIP

Ezra 4 in the TNTIZ

Ezra 4 in the TOMA

Ezra 4 in the TTENT

Ezra 4 in the UBG

Ezra 4 in the UGV

Ezra 4 in the UGV2

Ezra 4 in the UGV3

Ezra 4 in the VBL

Ezra 4 in the VDCC

Ezra 4 in the YALU

Ezra 4 in the YAPE

Ezra 4 in the YBVTP

Ezra 4 in the ZBP