Genesis 19 (BOLCB)

1 Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama, 2 n’agamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba y’omuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde n’okusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.”Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.” 3 Naye n’abawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gy’ali ne bayingira mu nnyumba ye, n’abategekera ekijjulo n’emigaati egitali mizimbulukuse ne balya. 4 Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja ab’omu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu n’abato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba; 5 ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.” 6 Lutti n’afuluma gye bali, n’aggalawo oluggi, 7 n’abagamba nti, “Baganda bange mbasaba temukola kibi kifaanana bwe kityo. 8 Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.” 9 Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi. 10 Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi. 11 Ne baziba amaaso g’abasajja abaali ebweru ku luggi lw’ennyumba, abato n’abakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi. 12 Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; 13 kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olw’abantu baamu eri MUKAMA kuyitiridde, era atutumye okukizikiriza.” 14 Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga MUKAMA ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka. 15 Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ng’ekibuga kibonerezebwa.” 16 Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, n’emikono gya mukazi we, n’emikono gy’abawala be bombi, MUKAMA ng’abakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru w’ekibuga. 17 Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.” 18 Awo Lutti n’abagamba nti, “Nedda bakama bange; 19 Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa. 20 Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era n’obulamu bwange bujja kuwona!” 21 N’amuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga ky’oyogeddeko. 22 Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya ly’ekibuga kyeryava liba Zowaali. 23 Lutti we yatuukira mu Zowaali enjuba yali evuddeyo, Sodomu ne Ggomola ne bizikirizibwa. 24 Awo MUKAMA n’atonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro n’obuganga okuva mu ggulu; 25 n’azikiriza ebibuga ebyo, n’ekiwonvu kyonna n’abantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu. 26 Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, n’afuuka empagi ey’omunnyo. 27 Awo ku makya ennyo Ibulayimu n’agenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga MUKAMA; 28 n’atunula wansi okwolekera Sodomu ne Ggomola n’okwolekera ekitundu kyonna eky’olusenyi, n’alaba, era laba, ekitundu kyonna nga kijjudde omukka. 29 Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu kiwonvu. Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’afulumya Lutti ebweru n’amuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga. 30 Awo Lutti n’ava mu Zowaali, n’abeera mu nsozi wamu ne bawala be, kubanga yatya okubeera mu Zowaali. Ye ne bawala be ne babeera mu mpuku. 31 Olunaku lumu omuwala omukulu n’agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ng’empisa y’ensi bw’eri. 32 Jjangu tunywese kitaffe omwenge, tulyoke twebake naye, tusobole okufuna ezzadde nga liva mu kitaffe.” 33 Ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omukulu n’agenda ne yeebaka ne kitaawe, Lutti n’atamanya bwe yeebaka yadde bwe yagolokoka. 34 Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu n’agamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gy’ali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.” 35 Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto n’asituka ne yeebaka naye, Lutti n’atamanya bwe yeebase ne bw’agolokose. 36 Bwe batyo bawala ba Lutti bombi buli omu n’aba olubuto nga lwa kitaabwe. 37 Omuwala omukulu n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Mowaabu, ye jjajja w’Abamowaabu abaliwo kaakano. 38 Omuto naye n’azaala omwana mulenzi n’amutuuma Benami, ye yavaamu Abamoni abaliwo ne kaakano.

In Other Versions

Genesis 19 in the ANGEFD

Genesis 19 in the ANTPNG2D

Genesis 19 in the AS21

Genesis 19 in the BAGH

Genesis 19 in the BBPNG

Genesis 19 in the BBT1E

Genesis 19 in the BDS

Genesis 19 in the BEV

Genesis 19 in the BHAD

Genesis 19 in the BIB

Genesis 19 in the BLPT

Genesis 19 in the BNT

Genesis 19 in the BNTABOOT

Genesis 19 in the BNTLV

Genesis 19 in the BOATCB

Genesis 19 in the BOATCB2

Genesis 19 in the BOBCV

Genesis 19 in the BOCNT

Genesis 19 in the BOECS

Genesis 19 in the BOGWICC

Genesis 19 in the BOHCB

Genesis 19 in the BOHCV

Genesis 19 in the BOHLNT

Genesis 19 in the BOHNTLTAL

Genesis 19 in the BOICB

Genesis 19 in the BOILNTAP

Genesis 19 in the BOITCV

Genesis 19 in the BOKCV

Genesis 19 in the BOKCV2

Genesis 19 in the BOKHWOG

Genesis 19 in the BOKSSV

Genesis 19 in the BOLCB2

Genesis 19 in the BOMCV

Genesis 19 in the BONAV

Genesis 19 in the BONCB

Genesis 19 in the BONLT

Genesis 19 in the BONUT2

Genesis 19 in the BOPLNT

Genesis 19 in the BOSCB

Genesis 19 in the BOSNC

Genesis 19 in the BOTLNT

Genesis 19 in the BOVCB

Genesis 19 in the BOYCB

Genesis 19 in the BPBB

Genesis 19 in the BPH

Genesis 19 in the BSB

Genesis 19 in the CCB

Genesis 19 in the CUV

Genesis 19 in the CUVS

Genesis 19 in the DBT

Genesis 19 in the DGDNT

Genesis 19 in the DHNT

Genesis 19 in the DNT

Genesis 19 in the ELBE

Genesis 19 in the EMTV

Genesis 19 in the ESV

Genesis 19 in the FBV

Genesis 19 in the FEB

Genesis 19 in the GGMNT

Genesis 19 in the GNT

Genesis 19 in the HARY

Genesis 19 in the HNT

Genesis 19 in the IRVA

Genesis 19 in the IRVB

Genesis 19 in the IRVG

Genesis 19 in the IRVH

Genesis 19 in the IRVK

Genesis 19 in the IRVM

Genesis 19 in the IRVM2

Genesis 19 in the IRVO

Genesis 19 in the IRVP

Genesis 19 in the IRVT

Genesis 19 in the IRVT2

Genesis 19 in the IRVU

Genesis 19 in the ISVN

Genesis 19 in the JSNT

Genesis 19 in the KAPI

Genesis 19 in the KBT1ETNIK

Genesis 19 in the KBV

Genesis 19 in the KJV

Genesis 19 in the KNFD

Genesis 19 in the LBA

Genesis 19 in the LBLA

Genesis 19 in the LNT

Genesis 19 in the LSV

Genesis 19 in the MAAL

Genesis 19 in the MBV

Genesis 19 in the MBV2

Genesis 19 in the MHNT

Genesis 19 in the MKNFD

Genesis 19 in the MNG

Genesis 19 in the MNT

Genesis 19 in the MNT2

Genesis 19 in the MRS1T

Genesis 19 in the NAA

Genesis 19 in the NASB

Genesis 19 in the NBLA

Genesis 19 in the NBS

Genesis 19 in the NBVTP

Genesis 19 in the NET2

Genesis 19 in the NIV11

Genesis 19 in the NNT

Genesis 19 in the NNT2

Genesis 19 in the NNT3

Genesis 19 in the PDDPT

Genesis 19 in the PFNT

Genesis 19 in the RMNT

Genesis 19 in the SBIAS

Genesis 19 in the SBIBS

Genesis 19 in the SBIBS2

Genesis 19 in the SBICS

Genesis 19 in the SBIDS

Genesis 19 in the SBIGS

Genesis 19 in the SBIHS

Genesis 19 in the SBIIS

Genesis 19 in the SBIIS2

Genesis 19 in the SBIIS3

Genesis 19 in the SBIKS

Genesis 19 in the SBIKS2

Genesis 19 in the SBIMS

Genesis 19 in the SBIOS

Genesis 19 in the SBIPS

Genesis 19 in the SBISS

Genesis 19 in the SBITS

Genesis 19 in the SBITS2

Genesis 19 in the SBITS3

Genesis 19 in the SBITS4

Genesis 19 in the SBIUS

Genesis 19 in the SBIVS

Genesis 19 in the SBT

Genesis 19 in the SBT1E

Genesis 19 in the SCHL

Genesis 19 in the SNT

Genesis 19 in the SUSU

Genesis 19 in the SUSU2

Genesis 19 in the SYNO

Genesis 19 in the TBIAOTANT

Genesis 19 in the TBT1E

Genesis 19 in the TBT1E2

Genesis 19 in the TFTIP

Genesis 19 in the TFTU

Genesis 19 in the TGNTATF3T

Genesis 19 in the THAI

Genesis 19 in the TNFD

Genesis 19 in the TNT

Genesis 19 in the TNTIK

Genesis 19 in the TNTIL

Genesis 19 in the TNTIN

Genesis 19 in the TNTIP

Genesis 19 in the TNTIZ

Genesis 19 in the TOMA

Genesis 19 in the TTENT

Genesis 19 in the UBG

Genesis 19 in the UGV

Genesis 19 in the UGV2

Genesis 19 in the UGV3

Genesis 19 in the VBL

Genesis 19 in the VDCC

Genesis 19 in the YALU

Genesis 19 in the YAPE

Genesis 19 in the YBVTP

Genesis 19 in the ZBP