Genesis 32 (BOLCB)

1 Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 2 Yakobo bwe yabalaba n’agamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo n’alyoka akituuma Makanayimu. 3 Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri mu nsi ya Edomu. 4 N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, 5 alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ” 6 Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” 7 Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, 8 ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.” 9 Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi MUKAMA eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ 10 sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. 11 Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. 12 Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ” 13 N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: 14 embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, 15 eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. 16 N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.” 17 N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ 18 N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” 19 Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, 20 era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” 21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo. 22 Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki. 23 N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga. 24 Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya. 25 Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja. 26 Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.”Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” 27 Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.” 28 Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.” 29 Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa. 30 Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.” 31 Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye. 32 Abayisirayiri kyebava batalya kinywa ky’ekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako.

In Other Versions

Genesis 32 in the ANGEFD

Genesis 32 in the ANTPNG2D

Genesis 32 in the AS21

Genesis 32 in the BAGH

Genesis 32 in the BBPNG

Genesis 32 in the BBT1E

Genesis 32 in the BDS

Genesis 32 in the BEV

Genesis 32 in the BHAD

Genesis 32 in the BIB

Genesis 32 in the BLPT

Genesis 32 in the BNT

Genesis 32 in the BNTABOOT

Genesis 32 in the BNTLV

Genesis 32 in the BOATCB

Genesis 32 in the BOATCB2

Genesis 32 in the BOBCV

Genesis 32 in the BOCNT

Genesis 32 in the BOECS

Genesis 32 in the BOGWICC

Genesis 32 in the BOHCB

Genesis 32 in the BOHCV

Genesis 32 in the BOHLNT

Genesis 32 in the BOHNTLTAL

Genesis 32 in the BOICB

Genesis 32 in the BOILNTAP

Genesis 32 in the BOITCV

Genesis 32 in the BOKCV

Genesis 32 in the BOKCV2

Genesis 32 in the BOKHWOG

Genesis 32 in the BOKSSV

Genesis 32 in the BOLCB2

Genesis 32 in the BOMCV

Genesis 32 in the BONAV

Genesis 32 in the BONCB

Genesis 32 in the BONLT

Genesis 32 in the BONUT2

Genesis 32 in the BOPLNT

Genesis 32 in the BOSCB

Genesis 32 in the BOSNC

Genesis 32 in the BOTLNT

Genesis 32 in the BOVCB

Genesis 32 in the BOYCB

Genesis 32 in the BPBB

Genesis 32 in the BPH

Genesis 32 in the BSB

Genesis 32 in the CCB

Genesis 32 in the CUV

Genesis 32 in the CUVS

Genesis 32 in the DBT

Genesis 32 in the DGDNT

Genesis 32 in the DHNT

Genesis 32 in the DNT

Genesis 32 in the ELBE

Genesis 32 in the EMTV

Genesis 32 in the ESV

Genesis 32 in the FBV

Genesis 32 in the FEB

Genesis 32 in the GGMNT

Genesis 32 in the GNT

Genesis 32 in the HARY

Genesis 32 in the HNT

Genesis 32 in the IRVA

Genesis 32 in the IRVB

Genesis 32 in the IRVG

Genesis 32 in the IRVH

Genesis 32 in the IRVK

Genesis 32 in the IRVM

Genesis 32 in the IRVM2

Genesis 32 in the IRVO

Genesis 32 in the IRVP

Genesis 32 in the IRVT

Genesis 32 in the IRVT2

Genesis 32 in the IRVU

Genesis 32 in the ISVN

Genesis 32 in the JSNT

Genesis 32 in the KAPI

Genesis 32 in the KBT1ETNIK

Genesis 32 in the KBV

Genesis 32 in the KJV

Genesis 32 in the KNFD

Genesis 32 in the LBA

Genesis 32 in the LBLA

Genesis 32 in the LNT

Genesis 32 in the LSV

Genesis 32 in the MAAL

Genesis 32 in the MBV

Genesis 32 in the MBV2

Genesis 32 in the MHNT

Genesis 32 in the MKNFD

Genesis 32 in the MNG

Genesis 32 in the MNT

Genesis 32 in the MNT2

Genesis 32 in the MRS1T

Genesis 32 in the NAA

Genesis 32 in the NASB

Genesis 32 in the NBLA

Genesis 32 in the NBS

Genesis 32 in the NBVTP

Genesis 32 in the NET2

Genesis 32 in the NIV11

Genesis 32 in the NNT

Genesis 32 in the NNT2

Genesis 32 in the NNT3

Genesis 32 in the PDDPT

Genesis 32 in the PFNT

Genesis 32 in the RMNT

Genesis 32 in the SBIAS

Genesis 32 in the SBIBS

Genesis 32 in the SBIBS2

Genesis 32 in the SBICS

Genesis 32 in the SBIDS

Genesis 32 in the SBIGS

Genesis 32 in the SBIHS

Genesis 32 in the SBIIS

Genesis 32 in the SBIIS2

Genesis 32 in the SBIIS3

Genesis 32 in the SBIKS

Genesis 32 in the SBIKS2

Genesis 32 in the SBIMS

Genesis 32 in the SBIOS

Genesis 32 in the SBIPS

Genesis 32 in the SBISS

Genesis 32 in the SBITS

Genesis 32 in the SBITS2

Genesis 32 in the SBITS3

Genesis 32 in the SBITS4

Genesis 32 in the SBIUS

Genesis 32 in the SBIVS

Genesis 32 in the SBT

Genesis 32 in the SBT1E

Genesis 32 in the SCHL

Genesis 32 in the SNT

Genesis 32 in the SUSU

Genesis 32 in the SUSU2

Genesis 32 in the SYNO

Genesis 32 in the TBIAOTANT

Genesis 32 in the TBT1E

Genesis 32 in the TBT1E2

Genesis 32 in the TFTIP

Genesis 32 in the TFTU

Genesis 32 in the TGNTATF3T

Genesis 32 in the THAI

Genesis 32 in the TNFD

Genesis 32 in the TNT

Genesis 32 in the TNTIK

Genesis 32 in the TNTIL

Genesis 32 in the TNTIN

Genesis 32 in the TNTIP

Genesis 32 in the TNTIZ

Genesis 32 in the TOMA

Genesis 32 in the TTENT

Genesis 32 in the UBG

Genesis 32 in the UGV

Genesis 32 in the UGV2

Genesis 32 in the UGV3

Genesis 32 in the VBL

Genesis 32 in the VDCC

Genesis 32 in the YALU

Genesis 32 in the YAPE

Genesis 32 in the YBVTP

Genesis 32 in the ZBP