Genesis 43 (BOLCB)

1 Awo enjala bwe yayinga obungi mu nsi, 2 era nga ne mmere gye baggya e Misiri yonna eriiriddwa, kitaabwe n’abagamba nti mugende mutugulire emmere. 3 Naye Yuda n’amuddamu nti, “Omusajja yatukuutirira ddala ng’agamba nti, ‘Temulinyanga ekigere mu maaso gange nga temuzze na muganda wammwe.’ 4 Bw’onokkiriza tuserengete ne muganda waffe okugula emmere, olwo tunaagenda. 5 Naye bw’otomukkirize kugenda naffe, tetujja kuserengeta, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temugenda kulaba maaso gange nga muganda wammwe tali nammwe.’ ” 6 Isirayiri kwe kubaddamu nti, “Mwankola ki kino eky’obubalagaze ne mugamba omusajja nti mulina muganda wammwe omulala.” 7 Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.” 8 Era Yuda n’agamba Isirayiri kitaawe nti, “Mpa omulenzi tulyoke tugende tube balamu, tuleme okufa enjala, ffe naawe n’abaana baffe. 9 Nze newaddeyo okumukuuma, olimubuuza nze. Bwe sirikumuddiza, ne mussa mu maaso go mbeereko omusango ennaku zonna. 10 Kubanga singa tetwalwa twandibadde tukomyewo omulundi ogwokubiri.” 11 Awo Isirayiri kitaabwe n’abagamba nti, “Bwe kinaaba bwe kityo, kale mukole bwe muti: mutwale ebimu ku bibala bya muno mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ekirabo: envumbo ntono, n’omubisi, n’omugavu, n’obubaane ne mooli n’ebinyeebwa ne Alumoni. 12 Mutwale n’ensimbi za mirundi ebiri nga mutwala na ziri ezaali ku mimwa gye nsawo zammwe, osanga omuntu yakola nsobi. 13 Mutwale ne muganda wammwe, musituke muddeyo eri omusajja. 14 Katonda Ayinzabyonna abawe omukisa mu maaso g’omusajja, alyoke aleke muganda wammwe oli awamu ne Benyamini bakomewo. Obanga obulumi bw’okufa kw’abaana bange bulintuukako, kale.” 15 Awo ne batwala ebirabo n’ensimbi za mirundi ebiri, ne Benyamini ne baserengeta naye e Misiri ne bayimirira mu maaso ga Yusufu. 16 Awo Yusufu bwe yalaba nga bali ne Benyamini n’agamba omuweereza we nti, “Bayingize mu nnyumba, otte ensolo ofumbe ekijjulo, kubanga abasajja abo baakulya nange ekyemisana.” 17 Omusajja n’akola nga Yusufu bwe yamulagira, n’ayingiza abasajja mu nnyumba ya Yusufu. 18 Abasajja ne batya olw’okutwalibwa mu nnyumba ya Yusufu, ne bagamba nti kino kizze lwa nsimbi ezatuddizibwa ne ziteekebwa mu nsawo zaffe omulundi guli, kyetuvudde tuleetebwa wano, anoonye ensonga ku ffe atuvunaane, atufuule abaddu awambe n’endogoyi zaffe. 19 Awo ne bambuka n’omuweereza mu nnyumba ya Yusufu, 20 ne bagamba nti Ayi mukama waffe, twajja omulundi ogwasooka okugula emmere, 21 bwe twatuuka mu kifo we twasula, ne tusumulula ensawo zaffe, nga mu buli kamwa k’ensawo ya buli omu mulimu ensimbi ze ezaali ez’okugula emmere, kyetuvudde tuzizza, 22 era tuleese n’endala olw’okugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe. 23 Ye n’abaddamu nti, “Mubeere bagumu temutya. Katonda wammwe era Katonda wa kitammwe ye yabateekera obugagga mu nsawo zammwe; ensimbi zammwe nazifuna.” Awo kwe kubaleetera Simyoni. 24 Omusajja bwe yamala okuyingiza abasajja abo mu nnyumba ya Yusufu, nga bamaze n’okunaaba ebigere, ng’amaze n’okuliisa endogoyi zaabwe, 25 ne bateekateeka ekirabo kya Yusufu bakimuwe mu ttuntu, kubanga baamanya nga bajja kuliira eyo. 26 Yusufu bwe yakomawo eka ne bamuleetera ekirabo kye baalina ne bamuvuunamira. 27 N’ababuuza bwe bali, n’ababuuza nti, “Kitammwe akyali mulamu bulungi?” 28 Ne bamuddamu nti, “Ssebo, kitaffe akyali mulamu era ali bulungi.” Ne bavuunama mu bukkakkamu. 29 Yusufu bwe yayimusa amaaso, n’alaba Benyamini muganda we, mutabani wa nnyina. N’ababuuza nti, “Ono ye muto wammwe gwe mwantegeezako? Katonda akuwe omukisa mwana wange.” 30 Awo Yusufu n’ayanguwa okuva mu maaso gaabwe, kubanga omutima gwe gwalumwa olwa muganda we, n’anoonya ekifo w’anaakabira. N’alinnya mu kisenge kye n’akaabira eyo. 31 N’anaaba amaziga n’afuluma, n’aguma n’alagira emmere egabwe. 32 Ye ne bamuwa eyiye yekka, ne baganda be bokka, n’Abamisiri abalya naye nabo ne bagabulwa bokka, kubanga Abamisiri tebalyanga n’Abaebulaniya, kubanga kyali kivve eri Abamisiri. 33 Awo baganda ba Yusufu ne batuula mu maaso ge nga baddiriŋŋana okuva ku mukulu mu buzaale bwabwe okutuuka ku muto; ne batunulaganako nga beewuunya. 34 Yusufu n’abakoleza ebitole okuva ku mmeeza ye, naye ekitole kya Benyamini ne kisinga ekya baganda be emirundi etaano. Bwe batyo ne balya ne basanyukira wamu ne Yusufu.

In Other Versions

Genesis 43 in the ANGEFD

Genesis 43 in the ANTPNG2D

Genesis 43 in the AS21

Genesis 43 in the BAGH

Genesis 43 in the BBPNG

Genesis 43 in the BBT1E

Genesis 43 in the BDS

Genesis 43 in the BEV

Genesis 43 in the BHAD

Genesis 43 in the BIB

Genesis 43 in the BLPT

Genesis 43 in the BNT

Genesis 43 in the BNTABOOT

Genesis 43 in the BNTLV

Genesis 43 in the BOATCB

Genesis 43 in the BOATCB2

Genesis 43 in the BOBCV

Genesis 43 in the BOCNT

Genesis 43 in the BOECS

Genesis 43 in the BOGWICC

Genesis 43 in the BOHCB

Genesis 43 in the BOHCV

Genesis 43 in the BOHLNT

Genesis 43 in the BOHNTLTAL

Genesis 43 in the BOICB

Genesis 43 in the BOILNTAP

Genesis 43 in the BOITCV

Genesis 43 in the BOKCV

Genesis 43 in the BOKCV2

Genesis 43 in the BOKHWOG

Genesis 43 in the BOKSSV

Genesis 43 in the BOLCB2

Genesis 43 in the BOMCV

Genesis 43 in the BONAV

Genesis 43 in the BONCB

Genesis 43 in the BONLT

Genesis 43 in the BONUT2

Genesis 43 in the BOPLNT

Genesis 43 in the BOSCB

Genesis 43 in the BOSNC

Genesis 43 in the BOTLNT

Genesis 43 in the BOVCB

Genesis 43 in the BOYCB

Genesis 43 in the BPBB

Genesis 43 in the BPH

Genesis 43 in the BSB

Genesis 43 in the CCB

Genesis 43 in the CUV

Genesis 43 in the CUVS

Genesis 43 in the DBT

Genesis 43 in the DGDNT

Genesis 43 in the DHNT

Genesis 43 in the DNT

Genesis 43 in the ELBE

Genesis 43 in the EMTV

Genesis 43 in the ESV

Genesis 43 in the FBV

Genesis 43 in the FEB

Genesis 43 in the GGMNT

Genesis 43 in the GNT

Genesis 43 in the HARY

Genesis 43 in the HNT

Genesis 43 in the IRVA

Genesis 43 in the IRVB

Genesis 43 in the IRVG

Genesis 43 in the IRVH

Genesis 43 in the IRVK

Genesis 43 in the IRVM

Genesis 43 in the IRVM2

Genesis 43 in the IRVO

Genesis 43 in the IRVP

Genesis 43 in the IRVT

Genesis 43 in the IRVT2

Genesis 43 in the IRVU

Genesis 43 in the ISVN

Genesis 43 in the JSNT

Genesis 43 in the KAPI

Genesis 43 in the KBT1ETNIK

Genesis 43 in the KBV

Genesis 43 in the KJV

Genesis 43 in the KNFD

Genesis 43 in the LBA

Genesis 43 in the LBLA

Genesis 43 in the LNT

Genesis 43 in the LSV

Genesis 43 in the MAAL

Genesis 43 in the MBV

Genesis 43 in the MBV2

Genesis 43 in the MHNT

Genesis 43 in the MKNFD

Genesis 43 in the MNG

Genesis 43 in the MNT

Genesis 43 in the MNT2

Genesis 43 in the MRS1T

Genesis 43 in the NAA

Genesis 43 in the NASB

Genesis 43 in the NBLA

Genesis 43 in the NBS

Genesis 43 in the NBVTP

Genesis 43 in the NET2

Genesis 43 in the NIV11

Genesis 43 in the NNT

Genesis 43 in the NNT2

Genesis 43 in the NNT3

Genesis 43 in the PDDPT

Genesis 43 in the PFNT

Genesis 43 in the RMNT

Genesis 43 in the SBIAS

Genesis 43 in the SBIBS

Genesis 43 in the SBIBS2

Genesis 43 in the SBICS

Genesis 43 in the SBIDS

Genesis 43 in the SBIGS

Genesis 43 in the SBIHS

Genesis 43 in the SBIIS

Genesis 43 in the SBIIS2

Genesis 43 in the SBIIS3

Genesis 43 in the SBIKS

Genesis 43 in the SBIKS2

Genesis 43 in the SBIMS

Genesis 43 in the SBIOS

Genesis 43 in the SBIPS

Genesis 43 in the SBISS

Genesis 43 in the SBITS

Genesis 43 in the SBITS2

Genesis 43 in the SBITS3

Genesis 43 in the SBITS4

Genesis 43 in the SBIUS

Genesis 43 in the SBIVS

Genesis 43 in the SBT

Genesis 43 in the SBT1E

Genesis 43 in the SCHL

Genesis 43 in the SNT

Genesis 43 in the SUSU

Genesis 43 in the SUSU2

Genesis 43 in the SYNO

Genesis 43 in the TBIAOTANT

Genesis 43 in the TBT1E

Genesis 43 in the TBT1E2

Genesis 43 in the TFTIP

Genesis 43 in the TFTU

Genesis 43 in the TGNTATF3T

Genesis 43 in the THAI

Genesis 43 in the TNFD

Genesis 43 in the TNT

Genesis 43 in the TNTIK

Genesis 43 in the TNTIL

Genesis 43 in the TNTIN

Genesis 43 in the TNTIP

Genesis 43 in the TNTIZ

Genesis 43 in the TOMA

Genesis 43 in the TTENT

Genesis 43 in the UBG

Genesis 43 in the UGV

Genesis 43 in the UGV2

Genesis 43 in the UGV3

Genesis 43 in the VBL

Genesis 43 in the VDCC

Genesis 43 in the YALU

Genesis 43 in the YAPE

Genesis 43 in the YBVTP

Genesis 43 in the ZBP