Genesis 44 (BOLCB)

1 Awo Yusufu n’alagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo z’abasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye. 2 Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k’ensawo ya muto waabwe, wamu n’ensimbi ze ez’okugula emmere.” N’akola nga Yusufu bwe yamugamba. 3 Emmambya eba evaayo abasajja ne basiibulwa n’endogoyi zaabwe. 4 Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza? 5 Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’ ” 6 Bwe yabatuukako n’abategeeza ebigambo ebyo. 7 Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo? 8 Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo? 9 Oyo gw’onookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.” 10 N’abaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako ky’avunaanwa.” 11 Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi n’agisumulula. 12 N’alyoka abaaza ng’asookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini. 13 Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu n’atikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga. 14 Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gy’ali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira. 15 Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?” 16 Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.” 17 Yusufu n’addamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa n’ekikopo, y’anaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.” 18 Awo Yuda n’alaga eri Yusufu n’agamba nti, “Ayi mukama wange nkusaba omuddu wo abeeko kyayogera gy’oli, n’obusungu bwo buleme kubuubuuka eri omuddu wo; kubanga oli nga Falaawo yennyini. 19 Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’ 20 Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’ 21 “N’olyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’ 22 Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’ 23 N’oddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bw’ataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’ 24 Bwe twaddayo eri omuddu wo kitaffe, twamutegeeza ebigambo ebyo, mukama wange. 25 Kale kitaffe bwe yagamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku mmere,’ 26 ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’ 27 “Awo omuddu wo, kitaffe n’atugamba nti, ‘Mumanyi, mukazi wange yanzaalira abaana abalenzi babiri; 28 omu yambulako, ne njogera nti mazima yataagulwataagulwa; era siddangayo kumulaba. 29 Bwe muntwalako n’ono, akabi ne kamutuukako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkungubaga.’ 30 “Kale kaakano, bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ng’omulenzi tali naffe, obulamu bwe nga bwe bunyweredde ku bw’omulenzi, 31 bw’anaalaba ng’omulenzi tali naffe, ajja kufa, n’abaddu bo baliserengesa envi z’omuddu wo kitaffe emagombe ng’akyakungubagira omwana we. 32 Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gy’oli ndiba n’obuvunaanyizibwa n’okunenyezebwa ennaku zonna ez’obulamu bwange.’ 33 “Kale kaakano nkwegayirira, omuddu wo nsigale ng’omuddu wa mukama wange, mu kifo ky’omulenzi; omulenzi omuleke addeyo ne baganda be. 34 Kale n’addayo ntya eri kitange ng’omulenzi tali nange? Ntya okulaba akabi akayinza okutuuka ku kitange.”

In Other Versions

Genesis 44 in the ANGEFD

Genesis 44 in the ANTPNG2D

Genesis 44 in the AS21

Genesis 44 in the BAGH

Genesis 44 in the BBPNG

Genesis 44 in the BBT1E

Genesis 44 in the BDS

Genesis 44 in the BEV

Genesis 44 in the BHAD

Genesis 44 in the BIB

Genesis 44 in the BLPT

Genesis 44 in the BNT

Genesis 44 in the BNTABOOT

Genesis 44 in the BNTLV

Genesis 44 in the BOATCB

Genesis 44 in the BOATCB2

Genesis 44 in the BOBCV

Genesis 44 in the BOCNT

Genesis 44 in the BOECS

Genesis 44 in the BOGWICC

Genesis 44 in the BOHCB

Genesis 44 in the BOHCV

Genesis 44 in the BOHLNT

Genesis 44 in the BOHNTLTAL

Genesis 44 in the BOICB

Genesis 44 in the BOILNTAP

Genesis 44 in the BOITCV

Genesis 44 in the BOKCV

Genesis 44 in the BOKCV2

Genesis 44 in the BOKHWOG

Genesis 44 in the BOKSSV

Genesis 44 in the BOLCB2

Genesis 44 in the BOMCV

Genesis 44 in the BONAV

Genesis 44 in the BONCB

Genesis 44 in the BONLT

Genesis 44 in the BONUT2

Genesis 44 in the BOPLNT

Genesis 44 in the BOSCB

Genesis 44 in the BOSNC

Genesis 44 in the BOTLNT

Genesis 44 in the BOVCB

Genesis 44 in the BOYCB

Genesis 44 in the BPBB

Genesis 44 in the BPH

Genesis 44 in the BSB

Genesis 44 in the CCB

Genesis 44 in the CUV

Genesis 44 in the CUVS

Genesis 44 in the DBT

Genesis 44 in the DGDNT

Genesis 44 in the DHNT

Genesis 44 in the DNT

Genesis 44 in the ELBE

Genesis 44 in the EMTV

Genesis 44 in the ESV

Genesis 44 in the FBV

Genesis 44 in the FEB

Genesis 44 in the GGMNT

Genesis 44 in the GNT

Genesis 44 in the HARY

Genesis 44 in the HNT

Genesis 44 in the IRVA

Genesis 44 in the IRVB

Genesis 44 in the IRVG

Genesis 44 in the IRVH

Genesis 44 in the IRVK

Genesis 44 in the IRVM

Genesis 44 in the IRVM2

Genesis 44 in the IRVO

Genesis 44 in the IRVP

Genesis 44 in the IRVT

Genesis 44 in the IRVT2

Genesis 44 in the IRVU

Genesis 44 in the ISVN

Genesis 44 in the JSNT

Genesis 44 in the KAPI

Genesis 44 in the KBT1ETNIK

Genesis 44 in the KBV

Genesis 44 in the KJV

Genesis 44 in the KNFD

Genesis 44 in the LBA

Genesis 44 in the LBLA

Genesis 44 in the LNT

Genesis 44 in the LSV

Genesis 44 in the MAAL

Genesis 44 in the MBV

Genesis 44 in the MBV2

Genesis 44 in the MHNT

Genesis 44 in the MKNFD

Genesis 44 in the MNG

Genesis 44 in the MNT

Genesis 44 in the MNT2

Genesis 44 in the MRS1T

Genesis 44 in the NAA

Genesis 44 in the NASB

Genesis 44 in the NBLA

Genesis 44 in the NBS

Genesis 44 in the NBVTP

Genesis 44 in the NET2

Genesis 44 in the NIV11

Genesis 44 in the NNT

Genesis 44 in the NNT2

Genesis 44 in the NNT3

Genesis 44 in the PDDPT

Genesis 44 in the PFNT

Genesis 44 in the RMNT

Genesis 44 in the SBIAS

Genesis 44 in the SBIBS

Genesis 44 in the SBIBS2

Genesis 44 in the SBICS

Genesis 44 in the SBIDS

Genesis 44 in the SBIGS

Genesis 44 in the SBIHS

Genesis 44 in the SBIIS

Genesis 44 in the SBIIS2

Genesis 44 in the SBIIS3

Genesis 44 in the SBIKS

Genesis 44 in the SBIKS2

Genesis 44 in the SBIMS

Genesis 44 in the SBIOS

Genesis 44 in the SBIPS

Genesis 44 in the SBISS

Genesis 44 in the SBITS

Genesis 44 in the SBITS2

Genesis 44 in the SBITS3

Genesis 44 in the SBITS4

Genesis 44 in the SBIUS

Genesis 44 in the SBIVS

Genesis 44 in the SBT

Genesis 44 in the SBT1E

Genesis 44 in the SCHL

Genesis 44 in the SNT

Genesis 44 in the SUSU

Genesis 44 in the SUSU2

Genesis 44 in the SYNO

Genesis 44 in the TBIAOTANT

Genesis 44 in the TBT1E

Genesis 44 in the TBT1E2

Genesis 44 in the TFTIP

Genesis 44 in the TFTU

Genesis 44 in the TGNTATF3T

Genesis 44 in the THAI

Genesis 44 in the TNFD

Genesis 44 in the TNT

Genesis 44 in the TNTIK

Genesis 44 in the TNTIL

Genesis 44 in the TNTIN

Genesis 44 in the TNTIP

Genesis 44 in the TNTIZ

Genesis 44 in the TOMA

Genesis 44 in the TTENT

Genesis 44 in the UBG

Genesis 44 in the UGV

Genesis 44 in the UGV2

Genesis 44 in the UGV3

Genesis 44 in the VBL

Genesis 44 in the VDCC

Genesis 44 in the YALU

Genesis 44 in the YAPE

Genesis 44 in the YBVTP

Genesis 44 in the ZBP