Genesis 48 (BOLCB)
1 Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu; 2 Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula. 3 N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa. 4 N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’ 5 “Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. 6 N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe. 7 Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.” 8 Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?” 9 Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.” 10 Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera. 11 Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.” 12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa. 15 N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,“Katonda wa jjajjangeIbulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonnaokutuusa leero, 16 Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,owe omukisa abalenzi bano.Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu boera n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.Era bafuuke ekibiina ekinenemu maaso g’ensi.” 17 Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.” 19 Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20 Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase. 21 Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22 Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”
In Other Versions
Genesis 48 in the ANGEFD
Genesis 48 in the ANTPNG2D
Genesis 48 in the AS21
Genesis 48 in the BAGH
Genesis 48 in the BBPNG
Genesis 48 in the BBT1E
Genesis 48 in the BDS
Genesis 48 in the BEV
Genesis 48 in the BHAD
Genesis 48 in the BIB
Genesis 48 in the BLPT
Genesis 48 in the BNT
Genesis 48 in the BNTABOOT
Genesis 48 in the BNTLV
Genesis 48 in the BOATCB
Genesis 48 in the BOATCB2
Genesis 48 in the BOBCV
Genesis 48 in the BOCNT
Genesis 48 in the BOECS
Genesis 48 in the BOGWICC
Genesis 48 in the BOHCB
Genesis 48 in the BOHCV
Genesis 48 in the BOHLNT
Genesis 48 in the BOHNTLTAL
Genesis 48 in the BOICB
Genesis 48 in the BOILNTAP
Genesis 48 in the BOITCV
Genesis 48 in the BOKCV
Genesis 48 in the BOKCV2
Genesis 48 in the BOKHWOG
Genesis 48 in the BOKSSV
Genesis 48 in the BOLCB2
Genesis 48 in the BOMCV
Genesis 48 in the BONAV
Genesis 48 in the BONCB
Genesis 48 in the BONLT
Genesis 48 in the BONUT2
Genesis 48 in the BOPLNT
Genesis 48 in the BOSCB
Genesis 48 in the BOSNC
Genesis 48 in the BOTLNT
Genesis 48 in the BOVCB
Genesis 48 in the BOYCB
Genesis 48 in the BPBB
Genesis 48 in the BPH
Genesis 48 in the BSB
Genesis 48 in the CCB
Genesis 48 in the CUV
Genesis 48 in the CUVS
Genesis 48 in the DBT
Genesis 48 in the DGDNT
Genesis 48 in the DHNT
Genesis 48 in the DNT
Genesis 48 in the ELBE
Genesis 48 in the EMTV
Genesis 48 in the ESV
Genesis 48 in the FBV
Genesis 48 in the FEB
Genesis 48 in the GGMNT
Genesis 48 in the GNT
Genesis 48 in the HARY
Genesis 48 in the HNT
Genesis 48 in the IRVA
Genesis 48 in the IRVB
Genesis 48 in the IRVG
Genesis 48 in the IRVH
Genesis 48 in the IRVK
Genesis 48 in the IRVM
Genesis 48 in the IRVM2
Genesis 48 in the IRVO
Genesis 48 in the IRVP
Genesis 48 in the IRVT
Genesis 48 in the IRVT2
Genesis 48 in the IRVU
Genesis 48 in the ISVN
Genesis 48 in the JSNT
Genesis 48 in the KAPI
Genesis 48 in the KBT1ETNIK
Genesis 48 in the KBV
Genesis 48 in the KJV
Genesis 48 in the KNFD
Genesis 48 in the LBA
Genesis 48 in the LBLA
Genesis 48 in the LNT
Genesis 48 in the LSV
Genesis 48 in the MAAL
Genesis 48 in the MBV
Genesis 48 in the MBV2
Genesis 48 in the MHNT
Genesis 48 in the MKNFD
Genesis 48 in the MNG
Genesis 48 in the MNT
Genesis 48 in the MNT2
Genesis 48 in the MRS1T
Genesis 48 in the NAA
Genesis 48 in the NASB
Genesis 48 in the NBLA
Genesis 48 in the NBS
Genesis 48 in the NBVTP
Genesis 48 in the NET2
Genesis 48 in the NIV11
Genesis 48 in the NNT
Genesis 48 in the NNT2
Genesis 48 in the NNT3
Genesis 48 in the PDDPT
Genesis 48 in the PFNT
Genesis 48 in the RMNT
Genesis 48 in the SBIAS
Genesis 48 in the SBIBS
Genesis 48 in the SBIBS2
Genesis 48 in the SBICS
Genesis 48 in the SBIDS
Genesis 48 in the SBIGS
Genesis 48 in the SBIHS
Genesis 48 in the SBIIS
Genesis 48 in the SBIIS2
Genesis 48 in the SBIIS3
Genesis 48 in the SBIKS
Genesis 48 in the SBIKS2
Genesis 48 in the SBIMS
Genesis 48 in the SBIOS
Genesis 48 in the SBIPS
Genesis 48 in the SBISS
Genesis 48 in the SBITS
Genesis 48 in the SBITS2
Genesis 48 in the SBITS3
Genesis 48 in the SBITS4
Genesis 48 in the SBIUS
Genesis 48 in the SBIVS
Genesis 48 in the SBT
Genesis 48 in the SBT1E
Genesis 48 in the SCHL
Genesis 48 in the SNT
Genesis 48 in the SUSU
Genesis 48 in the SUSU2
Genesis 48 in the SYNO
Genesis 48 in the TBIAOTANT
Genesis 48 in the TBT1E
Genesis 48 in the TBT1E2
Genesis 48 in the TFTIP
Genesis 48 in the TFTU
Genesis 48 in the TGNTATF3T
Genesis 48 in the THAI
Genesis 48 in the TNFD
Genesis 48 in the TNT
Genesis 48 in the TNTIK
Genesis 48 in the TNTIL
Genesis 48 in the TNTIN
Genesis 48 in the TNTIP
Genesis 48 in the TNTIZ
Genesis 48 in the TOMA
Genesis 48 in the TTENT
Genesis 48 in the UBG
Genesis 48 in the UGV
Genesis 48 in the UGV2
Genesis 48 in the UGV3
Genesis 48 in the VBL
Genesis 48 in the VDCC
Genesis 48 in the YALU
Genesis 48 in the YAPE
Genesis 48 in the YBVTP
Genesis 48 in the ZBP