Genesis 5 (BOLCB)
1 Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. 2 Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.” 3 Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. 4 Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 5 Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa. 6 Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi. 7 Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 8 Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa. 9 Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani. 10 Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 11 Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa. 12 Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. 13 Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 14 Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi. 15 Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi. 16 Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 17 Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa. 18 Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka. 19 Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 20 Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa. 21 Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera. 22 Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 23 Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. 24 Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala. 25 Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. 26 Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 27 Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa. 28 Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi 29 n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka MUKAMA lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” 30 Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 31 Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu. 32 Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
In Other Versions
Genesis 5 in the ANGEFD
Genesis 5 in the ANTPNG2D
Genesis 5 in the AS21
Genesis 5 in the BAGH
Genesis 5 in the BBPNG
Genesis 5 in the BBT1E
Genesis 5 in the BDS
Genesis 5 in the BEV
Genesis 5 in the BHAD
Genesis 5 in the BIB
Genesis 5 in the BLPT
Genesis 5 in the BNT
Genesis 5 in the BNTABOOT
Genesis 5 in the BNTLV
Genesis 5 in the BOATCB
Genesis 5 in the BOATCB2
Genesis 5 in the BOBCV
Genesis 5 in the BOCNT
Genesis 5 in the BOECS
Genesis 5 in the BOGWICC
Genesis 5 in the BOHCB
Genesis 5 in the BOHCV
Genesis 5 in the BOHLNT
Genesis 5 in the BOHNTLTAL
Genesis 5 in the BOICB
Genesis 5 in the BOILNTAP
Genesis 5 in the BOITCV
Genesis 5 in the BOKCV
Genesis 5 in the BOKCV2
Genesis 5 in the BOKHWOG
Genesis 5 in the BOKSSV
Genesis 5 in the BOLCB2
Genesis 5 in the BOMCV
Genesis 5 in the BONAV
Genesis 5 in the BONCB
Genesis 5 in the BONLT
Genesis 5 in the BONUT2
Genesis 5 in the BOPLNT
Genesis 5 in the BOSCB
Genesis 5 in the BOSNC
Genesis 5 in the BOTLNT
Genesis 5 in the BOVCB
Genesis 5 in the BOYCB
Genesis 5 in the BPBB
Genesis 5 in the BPH
Genesis 5 in the BSB
Genesis 5 in the CCB
Genesis 5 in the CUV
Genesis 5 in the CUVS
Genesis 5 in the DBT
Genesis 5 in the DGDNT
Genesis 5 in the DHNT
Genesis 5 in the DNT
Genesis 5 in the ELBE
Genesis 5 in the EMTV
Genesis 5 in the ESV
Genesis 5 in the FBV
Genesis 5 in the FEB
Genesis 5 in the GGMNT
Genesis 5 in the GNT
Genesis 5 in the HARY
Genesis 5 in the HNT
Genesis 5 in the IRVA
Genesis 5 in the IRVB
Genesis 5 in the IRVG
Genesis 5 in the IRVH
Genesis 5 in the IRVK
Genesis 5 in the IRVM
Genesis 5 in the IRVM2
Genesis 5 in the IRVO
Genesis 5 in the IRVP
Genesis 5 in the IRVT
Genesis 5 in the IRVT2
Genesis 5 in the IRVU
Genesis 5 in the ISVN
Genesis 5 in the JSNT
Genesis 5 in the KAPI
Genesis 5 in the KBT1ETNIK
Genesis 5 in the KBV
Genesis 5 in the KJV
Genesis 5 in the KNFD
Genesis 5 in the LBA
Genesis 5 in the LBLA
Genesis 5 in the LNT
Genesis 5 in the LSV
Genesis 5 in the MAAL
Genesis 5 in the MBV
Genesis 5 in the MBV2
Genesis 5 in the MHNT
Genesis 5 in the MKNFD
Genesis 5 in the MNG
Genesis 5 in the MNT
Genesis 5 in the MNT2
Genesis 5 in the MRS1T
Genesis 5 in the NAA
Genesis 5 in the NASB
Genesis 5 in the NBLA
Genesis 5 in the NBS
Genesis 5 in the NBVTP
Genesis 5 in the NET2
Genesis 5 in the NIV11
Genesis 5 in the NNT
Genesis 5 in the NNT2
Genesis 5 in the NNT3
Genesis 5 in the PDDPT
Genesis 5 in the PFNT
Genesis 5 in the RMNT
Genesis 5 in the SBIAS
Genesis 5 in the SBIBS
Genesis 5 in the SBIBS2
Genesis 5 in the SBICS
Genesis 5 in the SBIDS
Genesis 5 in the SBIGS
Genesis 5 in the SBIHS
Genesis 5 in the SBIIS
Genesis 5 in the SBIIS2
Genesis 5 in the SBIIS3
Genesis 5 in the SBIKS
Genesis 5 in the SBIKS2
Genesis 5 in the SBIMS
Genesis 5 in the SBIOS
Genesis 5 in the SBIPS
Genesis 5 in the SBISS
Genesis 5 in the SBITS
Genesis 5 in the SBITS2
Genesis 5 in the SBITS3
Genesis 5 in the SBITS4
Genesis 5 in the SBIUS
Genesis 5 in the SBIVS
Genesis 5 in the SBT
Genesis 5 in the SBT1E
Genesis 5 in the SCHL
Genesis 5 in the SNT
Genesis 5 in the SUSU
Genesis 5 in the SUSU2
Genesis 5 in the SYNO
Genesis 5 in the TBIAOTANT
Genesis 5 in the TBT1E
Genesis 5 in the TBT1E2
Genesis 5 in the TFTIP
Genesis 5 in the TFTU
Genesis 5 in the TGNTATF3T
Genesis 5 in the THAI
Genesis 5 in the TNFD
Genesis 5 in the TNT
Genesis 5 in the TNTIK
Genesis 5 in the TNTIL
Genesis 5 in the TNTIN
Genesis 5 in the TNTIP
Genesis 5 in the TNTIZ
Genesis 5 in the TOMA
Genesis 5 in the TTENT
Genesis 5 in the UBG
Genesis 5 in the UGV
Genesis 5 in the UGV2
Genesis 5 in the UGV3
Genesis 5 in the VBL
Genesis 5 in the VDCC
Genesis 5 in the YALU
Genesis 5 in the YAPE
Genesis 5 in the YBVTP
Genesis 5 in the ZBP