Genesis 50 (BOLCB)
1 Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera. 2 Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri; 3 baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu. 4 Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti, 5 ‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ” 6 Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.” 7 Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna, 8 n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. 9 N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo. 10 Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu. 11 Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani. 12 Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13 Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be. 14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe. 15 Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.” 16 Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti 17 tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba. 18 Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.” 19 Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda? 20 Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa. 21 Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi. 22 Awo Yusufu n’abeera mu Misiri, ye n’ennyumba ya kitaawe. N’awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 23 N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu. 24 Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.” 25 Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.” 26 Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.
In Other Versions
Genesis 50 in the ANGEFD
Genesis 50 in the ANTPNG2D
Genesis 50 in the AS21
Genesis 50 in the BAGH
Genesis 50 in the BBPNG
Genesis 50 in the BBT1E
Genesis 50 in the BDS
Genesis 50 in the BEV
Genesis 50 in the BHAD
Genesis 50 in the BIB
Genesis 50 in the BLPT
Genesis 50 in the BNT
Genesis 50 in the BNTABOOT
Genesis 50 in the BNTLV
Genesis 50 in the BOATCB
Genesis 50 in the BOATCB2
Genesis 50 in the BOBCV
Genesis 50 in the BOCNT
Genesis 50 in the BOECS
Genesis 50 in the BOGWICC
Genesis 50 in the BOHCB
Genesis 50 in the BOHCV
Genesis 50 in the BOHLNT
Genesis 50 in the BOHNTLTAL
Genesis 50 in the BOICB
Genesis 50 in the BOILNTAP
Genesis 50 in the BOITCV
Genesis 50 in the BOKCV
Genesis 50 in the BOKCV2
Genesis 50 in the BOKHWOG
Genesis 50 in the BOKSSV
Genesis 50 in the BOLCB2
Genesis 50 in the BOMCV
Genesis 50 in the BONAV
Genesis 50 in the BONCB
Genesis 50 in the BONLT
Genesis 50 in the BONUT2
Genesis 50 in the BOPLNT
Genesis 50 in the BOSCB
Genesis 50 in the BOSNC
Genesis 50 in the BOTLNT
Genesis 50 in the BOVCB
Genesis 50 in the BOYCB
Genesis 50 in the BPBB
Genesis 50 in the BPH
Genesis 50 in the BSB
Genesis 50 in the CCB
Genesis 50 in the CUV
Genesis 50 in the CUVS
Genesis 50 in the DBT
Genesis 50 in the DGDNT
Genesis 50 in the DHNT
Genesis 50 in the DNT
Genesis 50 in the ELBE
Genesis 50 in the EMTV
Genesis 50 in the ESV
Genesis 50 in the FBV
Genesis 50 in the FEB
Genesis 50 in the GGMNT
Genesis 50 in the GNT
Genesis 50 in the HARY
Genesis 50 in the HNT
Genesis 50 in the IRVA
Genesis 50 in the IRVB
Genesis 50 in the IRVG
Genesis 50 in the IRVH
Genesis 50 in the IRVK
Genesis 50 in the IRVM
Genesis 50 in the IRVM2
Genesis 50 in the IRVO
Genesis 50 in the IRVP
Genesis 50 in the IRVT
Genesis 50 in the IRVT2
Genesis 50 in the IRVU
Genesis 50 in the ISVN
Genesis 50 in the JSNT
Genesis 50 in the KAPI
Genesis 50 in the KBT1ETNIK
Genesis 50 in the KBV
Genesis 50 in the KJV
Genesis 50 in the KNFD
Genesis 50 in the LBA
Genesis 50 in the LBLA
Genesis 50 in the LNT
Genesis 50 in the LSV
Genesis 50 in the MAAL
Genesis 50 in the MBV
Genesis 50 in the MBV2
Genesis 50 in the MHNT
Genesis 50 in the MKNFD
Genesis 50 in the MNG
Genesis 50 in the MNT
Genesis 50 in the MNT2
Genesis 50 in the MRS1T
Genesis 50 in the NAA
Genesis 50 in the NASB
Genesis 50 in the NBLA
Genesis 50 in the NBS
Genesis 50 in the NBVTP
Genesis 50 in the NET2
Genesis 50 in the NIV11
Genesis 50 in the NNT
Genesis 50 in the NNT2
Genesis 50 in the NNT3
Genesis 50 in the PDDPT
Genesis 50 in the PFNT
Genesis 50 in the RMNT
Genesis 50 in the SBIAS
Genesis 50 in the SBIBS
Genesis 50 in the SBIBS2
Genesis 50 in the SBICS
Genesis 50 in the SBIDS
Genesis 50 in the SBIGS
Genesis 50 in the SBIHS
Genesis 50 in the SBIIS
Genesis 50 in the SBIIS2
Genesis 50 in the SBIIS3
Genesis 50 in the SBIKS
Genesis 50 in the SBIKS2
Genesis 50 in the SBIMS
Genesis 50 in the SBIOS
Genesis 50 in the SBIPS
Genesis 50 in the SBISS
Genesis 50 in the SBITS
Genesis 50 in the SBITS2
Genesis 50 in the SBITS3
Genesis 50 in the SBITS4
Genesis 50 in the SBIUS
Genesis 50 in the SBIVS
Genesis 50 in the SBT
Genesis 50 in the SBT1E
Genesis 50 in the SCHL
Genesis 50 in the SNT
Genesis 50 in the SUSU
Genesis 50 in the SUSU2
Genesis 50 in the SYNO
Genesis 50 in the TBIAOTANT
Genesis 50 in the TBT1E
Genesis 50 in the TBT1E2
Genesis 50 in the TFTIP
Genesis 50 in the TFTU
Genesis 50 in the TGNTATF3T
Genesis 50 in the THAI
Genesis 50 in the TNFD
Genesis 50 in the TNT
Genesis 50 in the TNTIK
Genesis 50 in the TNTIL
Genesis 50 in the TNTIN
Genesis 50 in the TNTIP
Genesis 50 in the TNTIZ
Genesis 50 in the TOMA
Genesis 50 in the TTENT
Genesis 50 in the UBG
Genesis 50 in the UGV
Genesis 50 in the UGV2
Genesis 50 in the UGV3
Genesis 50 in the VBL
Genesis 50 in the VDCC
Genesis 50 in the YALU
Genesis 50 in the YAPE
Genesis 50 in the YBVTP
Genesis 50 in the ZBP