Hebrews 11 (BOLCB)
1 Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika. 2 Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda. 3 Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. 4 Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera. 5 Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa. 6 Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera. 7 Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza. 8 Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo. 9 Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu. 10 Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba. 11 Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa. 12 Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika. 13 Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze. 14 Aboogera bwe batyo balaga nti bayolekedde obutaka bwabwe obw’omu nsi endala. 15 Abantu abo singa baalowooza ku birungi eby’ensi eno bandisobodde okudda emabega. 16 Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga. 17 Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa, 18 gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,” 19 gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu. 20 Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa. 21 Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda. 22 Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe. 23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo. 24 Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri. 29 Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo. 30 Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu. 31 Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe. 32 Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala, 33 abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma, 34 be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga. 35 Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde. 36 N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. 37 Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, 38 n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi. 39 Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa. 40 Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.