Jeremiah 22 (BOLCB)

1 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda 2 olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. 3 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. 4 Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. 5 ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera MUKAMA.” 6 Kubanga kino MUKAMA ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,ng’entikko y’olusozi Lebanooni,ddala ddala nzija kukufuula ddungu,ng’ebibuga ebitaliimu bantu. 7 Ndikusindikira abakuzikiriza,buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,era balitema emivule gyo egisinga obulungine bagisuula mu muliro. 8 “Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki MUKAMA yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ 9 Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya MUKAMA Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ” 10 Temukaabira kabaka afuddeoba okumukungubagira,wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate. 11 Kubanga kino MUKAMA ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12 Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.” 13 “Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanyaabantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereeren’atabasasula mpeera yaabwe. 14 Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunenen’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’Kale nnaakola amadirisa amanenennaateekamu emivuleera nnaasiigako langi emyufu. 15 “Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?Yakola ebituufu eby’obwenkanya.Noolwekyo byonnabyamugendera bulungi. 16 Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavukale byonna ne bimugendera bulungi.Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”bw’ayogera MUKAMA. 17 “Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwebiri ku magoba ag’obukuusa,ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musangone ku kunyigiriza ne ku kunyaga.” 18 Noolwekyo kino MUKAMA ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,“Tebalimukungubagira;‘Kikafuuwe, mukama wange!’Kikafuuwe,obugagga bwe! 19 Aliziikibwanga bwe baziika endogoyi,akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.” 20 “Genda mu Lebanooni okaabe,leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.Kaabira ku Abalimu,kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde. 21 Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagganaye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,togonderanga ku ddoboozi lyange. 22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.Olwo okwatibwe ensonyioggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna. 23 Mmwe abali mu Lebanooni,abesulira mu bizimbe eby’emivule,nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala. 24 “Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera MUKAMA. 25 “Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.” 28 Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,ekimenyese, ekitaliiko ayagala?Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,basuulibwe mu nsi gye batamanyi? 29 Ayi ggwe ensi, ensi,wulira ekigambo kya Katonda! 30 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangakokubanga tewali ku baana be alikulaakulana,alituula ku ntebe ya Dawudioba aliddayo okufuga mu Yuda.”

In Other Versions

Jeremiah 22 in the ANGEFD

Jeremiah 22 in the ANTPNG2D

Jeremiah 22 in the AS21

Jeremiah 22 in the BAGH

Jeremiah 22 in the BBPNG

Jeremiah 22 in the BBT1E

Jeremiah 22 in the BDS

Jeremiah 22 in the BEV

Jeremiah 22 in the BHAD

Jeremiah 22 in the BIB

Jeremiah 22 in the BLPT

Jeremiah 22 in the BNT

Jeremiah 22 in the BNTABOOT

Jeremiah 22 in the BNTLV

Jeremiah 22 in the BOATCB

Jeremiah 22 in the BOATCB2

Jeremiah 22 in the BOBCV

Jeremiah 22 in the BOCNT

Jeremiah 22 in the BOECS

Jeremiah 22 in the BOGWICC

Jeremiah 22 in the BOHCB

Jeremiah 22 in the BOHCV

Jeremiah 22 in the BOHLNT

Jeremiah 22 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 22 in the BOICB

Jeremiah 22 in the BOILNTAP

Jeremiah 22 in the BOITCV

Jeremiah 22 in the BOKCV

Jeremiah 22 in the BOKCV2

Jeremiah 22 in the BOKHWOG

Jeremiah 22 in the BOKSSV

Jeremiah 22 in the BOLCB2

Jeremiah 22 in the BOMCV

Jeremiah 22 in the BONAV

Jeremiah 22 in the BONCB

Jeremiah 22 in the BONLT

Jeremiah 22 in the BONUT2

Jeremiah 22 in the BOPLNT

Jeremiah 22 in the BOSCB

Jeremiah 22 in the BOSNC

Jeremiah 22 in the BOTLNT

Jeremiah 22 in the BOVCB

Jeremiah 22 in the BOYCB

Jeremiah 22 in the BPBB

Jeremiah 22 in the BPH

Jeremiah 22 in the BSB

Jeremiah 22 in the CCB

Jeremiah 22 in the CUV

Jeremiah 22 in the CUVS

Jeremiah 22 in the DBT

Jeremiah 22 in the DGDNT

Jeremiah 22 in the DHNT

Jeremiah 22 in the DNT

Jeremiah 22 in the ELBE

Jeremiah 22 in the EMTV

Jeremiah 22 in the ESV

Jeremiah 22 in the FBV

Jeremiah 22 in the FEB

Jeremiah 22 in the GGMNT

Jeremiah 22 in the GNT

Jeremiah 22 in the HARY

Jeremiah 22 in the HNT

Jeremiah 22 in the IRVA

Jeremiah 22 in the IRVB

Jeremiah 22 in the IRVG

Jeremiah 22 in the IRVH

Jeremiah 22 in the IRVK

Jeremiah 22 in the IRVM

Jeremiah 22 in the IRVM2

Jeremiah 22 in the IRVO

Jeremiah 22 in the IRVP

Jeremiah 22 in the IRVT

Jeremiah 22 in the IRVT2

Jeremiah 22 in the IRVU

Jeremiah 22 in the ISVN

Jeremiah 22 in the JSNT

Jeremiah 22 in the KAPI

Jeremiah 22 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 22 in the KBV

Jeremiah 22 in the KJV

Jeremiah 22 in the KNFD

Jeremiah 22 in the LBA

Jeremiah 22 in the LBLA

Jeremiah 22 in the LNT

Jeremiah 22 in the LSV

Jeremiah 22 in the MAAL

Jeremiah 22 in the MBV

Jeremiah 22 in the MBV2

Jeremiah 22 in the MHNT

Jeremiah 22 in the MKNFD

Jeremiah 22 in the MNG

Jeremiah 22 in the MNT

Jeremiah 22 in the MNT2

Jeremiah 22 in the MRS1T

Jeremiah 22 in the NAA

Jeremiah 22 in the NASB

Jeremiah 22 in the NBLA

Jeremiah 22 in the NBS

Jeremiah 22 in the NBVTP

Jeremiah 22 in the NET2

Jeremiah 22 in the NIV11

Jeremiah 22 in the NNT

Jeremiah 22 in the NNT2

Jeremiah 22 in the NNT3

Jeremiah 22 in the PDDPT

Jeremiah 22 in the PFNT

Jeremiah 22 in the RMNT

Jeremiah 22 in the SBIAS

Jeremiah 22 in the SBIBS

Jeremiah 22 in the SBIBS2

Jeremiah 22 in the SBICS

Jeremiah 22 in the SBIDS

Jeremiah 22 in the SBIGS

Jeremiah 22 in the SBIHS

Jeremiah 22 in the SBIIS

Jeremiah 22 in the SBIIS2

Jeremiah 22 in the SBIIS3

Jeremiah 22 in the SBIKS

Jeremiah 22 in the SBIKS2

Jeremiah 22 in the SBIMS

Jeremiah 22 in the SBIOS

Jeremiah 22 in the SBIPS

Jeremiah 22 in the SBISS

Jeremiah 22 in the SBITS

Jeremiah 22 in the SBITS2

Jeremiah 22 in the SBITS3

Jeremiah 22 in the SBITS4

Jeremiah 22 in the SBIUS

Jeremiah 22 in the SBIVS

Jeremiah 22 in the SBT

Jeremiah 22 in the SBT1E

Jeremiah 22 in the SCHL

Jeremiah 22 in the SNT

Jeremiah 22 in the SUSU

Jeremiah 22 in the SUSU2

Jeremiah 22 in the SYNO

Jeremiah 22 in the TBIAOTANT

Jeremiah 22 in the TBT1E

Jeremiah 22 in the TBT1E2

Jeremiah 22 in the TFTIP

Jeremiah 22 in the TFTU

Jeremiah 22 in the TGNTATF3T

Jeremiah 22 in the THAI

Jeremiah 22 in the TNFD

Jeremiah 22 in the TNT

Jeremiah 22 in the TNTIK

Jeremiah 22 in the TNTIL

Jeremiah 22 in the TNTIN

Jeremiah 22 in the TNTIP

Jeremiah 22 in the TNTIZ

Jeremiah 22 in the TOMA

Jeremiah 22 in the TTENT

Jeremiah 22 in the UBG

Jeremiah 22 in the UGV

Jeremiah 22 in the UGV2

Jeremiah 22 in the UGV3

Jeremiah 22 in the VBL

Jeremiah 22 in the VDCC

Jeremiah 22 in the YALU

Jeremiah 22 in the YAPE

Jeremiah 22 in the YBVTP

Jeremiah 22 in the ZBP