Jeremiah 37 (BOLCB)
1 Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’afuula Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda okuba kabaka wa Yuda mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu. 2 Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo MUKAMA bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya. 3 Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri MUKAMA Katonda waffe.” 4 Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bw’ayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera. 5 Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi. 6 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti, 7 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri. 8 Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’ 9 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka. 10 Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.” 11 Awo eggye ly’Abakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo, 12 Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo. 13 Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!” 14 Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu. 15 Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera. 16 Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kkomera mwe yamala ebbanga eddene. 17 Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri MUKAMA?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.” 18 Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera? 19 Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno? 20 Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’ ” 21 Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.
In Other Versions
Jeremiah 37 in the ANGEFD
Jeremiah 37 in the ANTPNG2D
Jeremiah 37 in the AS21
Jeremiah 37 in the BAGH
Jeremiah 37 in the BBPNG
Jeremiah 37 in the BBT1E
Jeremiah 37 in the BDS
Jeremiah 37 in the BEV
Jeremiah 37 in the BHAD
Jeremiah 37 in the BIB
Jeremiah 37 in the BLPT
Jeremiah 37 in the BNT
Jeremiah 37 in the BNTABOOT
Jeremiah 37 in the BNTLV
Jeremiah 37 in the BOATCB
Jeremiah 37 in the BOATCB2
Jeremiah 37 in the BOBCV
Jeremiah 37 in the BOCNT
Jeremiah 37 in the BOECS
Jeremiah 37 in the BOGWICC
Jeremiah 37 in the BOHCB
Jeremiah 37 in the BOHCV
Jeremiah 37 in the BOHLNT
Jeremiah 37 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 37 in the BOICB
Jeremiah 37 in the BOILNTAP
Jeremiah 37 in the BOITCV
Jeremiah 37 in the BOKCV
Jeremiah 37 in the BOKCV2
Jeremiah 37 in the BOKHWOG
Jeremiah 37 in the BOKSSV
Jeremiah 37 in the BOLCB2
Jeremiah 37 in the BOMCV
Jeremiah 37 in the BONAV
Jeremiah 37 in the BONCB
Jeremiah 37 in the BONLT
Jeremiah 37 in the BONUT2
Jeremiah 37 in the BOPLNT
Jeremiah 37 in the BOSCB
Jeremiah 37 in the BOSNC
Jeremiah 37 in the BOTLNT
Jeremiah 37 in the BOVCB
Jeremiah 37 in the BOYCB
Jeremiah 37 in the BPBB
Jeremiah 37 in the BPH
Jeremiah 37 in the BSB
Jeremiah 37 in the CCB
Jeremiah 37 in the CUV
Jeremiah 37 in the CUVS
Jeremiah 37 in the DBT
Jeremiah 37 in the DGDNT
Jeremiah 37 in the DHNT
Jeremiah 37 in the DNT
Jeremiah 37 in the ELBE
Jeremiah 37 in the EMTV
Jeremiah 37 in the ESV
Jeremiah 37 in the FBV
Jeremiah 37 in the FEB
Jeremiah 37 in the GGMNT
Jeremiah 37 in the GNT
Jeremiah 37 in the HARY
Jeremiah 37 in the HNT
Jeremiah 37 in the IRVA
Jeremiah 37 in the IRVB
Jeremiah 37 in the IRVG
Jeremiah 37 in the IRVH
Jeremiah 37 in the IRVK
Jeremiah 37 in the IRVM
Jeremiah 37 in the IRVM2
Jeremiah 37 in the IRVO
Jeremiah 37 in the IRVP
Jeremiah 37 in the IRVT
Jeremiah 37 in the IRVT2
Jeremiah 37 in the IRVU
Jeremiah 37 in the ISVN
Jeremiah 37 in the JSNT
Jeremiah 37 in the KAPI
Jeremiah 37 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 37 in the KBV
Jeremiah 37 in the KJV
Jeremiah 37 in the KNFD
Jeremiah 37 in the LBA
Jeremiah 37 in the LBLA
Jeremiah 37 in the LNT
Jeremiah 37 in the LSV
Jeremiah 37 in the MAAL
Jeremiah 37 in the MBV
Jeremiah 37 in the MBV2
Jeremiah 37 in the MHNT
Jeremiah 37 in the MKNFD
Jeremiah 37 in the MNG
Jeremiah 37 in the MNT
Jeremiah 37 in the MNT2
Jeremiah 37 in the MRS1T
Jeremiah 37 in the NAA
Jeremiah 37 in the NASB
Jeremiah 37 in the NBLA
Jeremiah 37 in the NBS
Jeremiah 37 in the NBVTP
Jeremiah 37 in the NET2
Jeremiah 37 in the NIV11
Jeremiah 37 in the NNT
Jeremiah 37 in the NNT2
Jeremiah 37 in the NNT3
Jeremiah 37 in the PDDPT
Jeremiah 37 in the PFNT
Jeremiah 37 in the RMNT
Jeremiah 37 in the SBIAS
Jeremiah 37 in the SBIBS
Jeremiah 37 in the SBIBS2
Jeremiah 37 in the SBICS
Jeremiah 37 in the SBIDS
Jeremiah 37 in the SBIGS
Jeremiah 37 in the SBIHS
Jeremiah 37 in the SBIIS
Jeremiah 37 in the SBIIS2
Jeremiah 37 in the SBIIS3
Jeremiah 37 in the SBIKS
Jeremiah 37 in the SBIKS2
Jeremiah 37 in the SBIMS
Jeremiah 37 in the SBIOS
Jeremiah 37 in the SBIPS
Jeremiah 37 in the SBISS
Jeremiah 37 in the SBITS
Jeremiah 37 in the SBITS2
Jeremiah 37 in the SBITS3
Jeremiah 37 in the SBITS4
Jeremiah 37 in the SBIUS
Jeremiah 37 in the SBIVS
Jeremiah 37 in the SBT
Jeremiah 37 in the SBT1E
Jeremiah 37 in the SCHL
Jeremiah 37 in the SNT
Jeremiah 37 in the SUSU
Jeremiah 37 in the SUSU2
Jeremiah 37 in the SYNO
Jeremiah 37 in the TBIAOTANT
Jeremiah 37 in the TBT1E
Jeremiah 37 in the TBT1E2
Jeremiah 37 in the TFTIP
Jeremiah 37 in the TFTU
Jeremiah 37 in the TGNTATF3T
Jeremiah 37 in the THAI
Jeremiah 37 in the TNFD
Jeremiah 37 in the TNT
Jeremiah 37 in the TNTIK
Jeremiah 37 in the TNTIL
Jeremiah 37 in the TNTIN
Jeremiah 37 in the TNTIP
Jeremiah 37 in the TNTIZ
Jeremiah 37 in the TOMA
Jeremiah 37 in the TTENT
Jeremiah 37 in the UBG
Jeremiah 37 in the UGV
Jeremiah 37 in the UGV2
Jeremiah 37 in the UGV3
Jeremiah 37 in the VBL
Jeremiah 37 in the VDCC
Jeremiah 37 in the YALU
Jeremiah 37 in the YAPE
Jeremiah 37 in the YBVTP
Jeremiah 37 in the ZBP