Jeremiah 38 (BOLCB)

1 Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti, 2 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’ 3 Era bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka w’e Babulooni; anaakiwamba.’ ” 4 Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.” 5 Kabaka Zeddekiya n’addamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.” 6 Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika. 7 Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini, 8 Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, 9 “Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.” 10 Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.” 11 Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya. 12 Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo.” Yeremiya n’akola bw’atyo. 13 Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi. 14 Kabaka Zeddekiya n’atumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya MUKAMA. Kabaka n’agamba Yeremiya nti, “Nnina kye ŋŋenda okukubuuza. Tobaako ky’onkweka.” 15 Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.” 16 Naye kabaka Zeddekiya n’alayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.” 17 Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu. 18 Naye bw’oteweeyo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’ ” 19 Kabaka Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.” 20 Yeremiya n’amuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera MUKAMA Katonda ng’okola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa. 21 Naye bwonoogaana okwewaayo, kino MUKAMA kyandaze: 22 Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti,“ ‘Mikwano gyo gye weesigabaakubuzaabuza ne bakuwangula.Kaakano otubidde mu ttosi.Mikwano gyo gikudduseeko.’  23 “Bakazi bo n’abaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka w’e Babulooni; n’ekibuga kino kijja kwokebwa.” 24 Awo Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa. 25 Abakungu bwe banaawulira nti wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’ 26 bagambe nti, ‘Mbadde neegayirira kabaka aleme kunzizaayo eri mu nnyumba ya Yonasaani okufiira eyo.’ ” 27 Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, n’abaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo ku mubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali n’omu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka. 28 Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi okutuusa olunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa.Yerusaalemi bwe kiti bwe kyawambibwa:

In Other Versions

Jeremiah 38 in the ANGEFD

Jeremiah 38 in the ANTPNG2D

Jeremiah 38 in the AS21

Jeremiah 38 in the BAGH

Jeremiah 38 in the BBPNG

Jeremiah 38 in the BBT1E

Jeremiah 38 in the BDS

Jeremiah 38 in the BEV

Jeremiah 38 in the BHAD

Jeremiah 38 in the BIB

Jeremiah 38 in the BLPT

Jeremiah 38 in the BNT

Jeremiah 38 in the BNTABOOT

Jeremiah 38 in the BNTLV

Jeremiah 38 in the BOATCB

Jeremiah 38 in the BOATCB2

Jeremiah 38 in the BOBCV

Jeremiah 38 in the BOCNT

Jeremiah 38 in the BOECS

Jeremiah 38 in the BOGWICC

Jeremiah 38 in the BOHCB

Jeremiah 38 in the BOHCV

Jeremiah 38 in the BOHLNT

Jeremiah 38 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 38 in the BOICB

Jeremiah 38 in the BOILNTAP

Jeremiah 38 in the BOITCV

Jeremiah 38 in the BOKCV

Jeremiah 38 in the BOKCV2

Jeremiah 38 in the BOKHWOG

Jeremiah 38 in the BOKSSV

Jeremiah 38 in the BOLCB2

Jeremiah 38 in the BOMCV

Jeremiah 38 in the BONAV

Jeremiah 38 in the BONCB

Jeremiah 38 in the BONLT

Jeremiah 38 in the BONUT2

Jeremiah 38 in the BOPLNT

Jeremiah 38 in the BOSCB

Jeremiah 38 in the BOSNC

Jeremiah 38 in the BOTLNT

Jeremiah 38 in the BOVCB

Jeremiah 38 in the BOYCB

Jeremiah 38 in the BPBB

Jeremiah 38 in the BPH

Jeremiah 38 in the BSB

Jeremiah 38 in the CCB

Jeremiah 38 in the CUV

Jeremiah 38 in the CUVS

Jeremiah 38 in the DBT

Jeremiah 38 in the DGDNT

Jeremiah 38 in the DHNT

Jeremiah 38 in the DNT

Jeremiah 38 in the ELBE

Jeremiah 38 in the EMTV

Jeremiah 38 in the ESV

Jeremiah 38 in the FBV

Jeremiah 38 in the FEB

Jeremiah 38 in the GGMNT

Jeremiah 38 in the GNT

Jeremiah 38 in the HARY

Jeremiah 38 in the HNT

Jeremiah 38 in the IRVA

Jeremiah 38 in the IRVB

Jeremiah 38 in the IRVG

Jeremiah 38 in the IRVH

Jeremiah 38 in the IRVK

Jeremiah 38 in the IRVM

Jeremiah 38 in the IRVM2

Jeremiah 38 in the IRVO

Jeremiah 38 in the IRVP

Jeremiah 38 in the IRVT

Jeremiah 38 in the IRVT2

Jeremiah 38 in the IRVU

Jeremiah 38 in the ISVN

Jeremiah 38 in the JSNT

Jeremiah 38 in the KAPI

Jeremiah 38 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 38 in the KBV

Jeremiah 38 in the KJV

Jeremiah 38 in the KNFD

Jeremiah 38 in the LBA

Jeremiah 38 in the LBLA

Jeremiah 38 in the LNT

Jeremiah 38 in the LSV

Jeremiah 38 in the MAAL

Jeremiah 38 in the MBV

Jeremiah 38 in the MBV2

Jeremiah 38 in the MHNT

Jeremiah 38 in the MKNFD

Jeremiah 38 in the MNG

Jeremiah 38 in the MNT

Jeremiah 38 in the MNT2

Jeremiah 38 in the MRS1T

Jeremiah 38 in the NAA

Jeremiah 38 in the NASB

Jeremiah 38 in the NBLA

Jeremiah 38 in the NBS

Jeremiah 38 in the NBVTP

Jeremiah 38 in the NET2

Jeremiah 38 in the NIV11

Jeremiah 38 in the NNT

Jeremiah 38 in the NNT2

Jeremiah 38 in the NNT3

Jeremiah 38 in the PDDPT

Jeremiah 38 in the PFNT

Jeremiah 38 in the RMNT

Jeremiah 38 in the SBIAS

Jeremiah 38 in the SBIBS

Jeremiah 38 in the SBIBS2

Jeremiah 38 in the SBICS

Jeremiah 38 in the SBIDS

Jeremiah 38 in the SBIGS

Jeremiah 38 in the SBIHS

Jeremiah 38 in the SBIIS

Jeremiah 38 in the SBIIS2

Jeremiah 38 in the SBIIS3

Jeremiah 38 in the SBIKS

Jeremiah 38 in the SBIKS2

Jeremiah 38 in the SBIMS

Jeremiah 38 in the SBIOS

Jeremiah 38 in the SBIPS

Jeremiah 38 in the SBISS

Jeremiah 38 in the SBITS

Jeremiah 38 in the SBITS2

Jeremiah 38 in the SBITS3

Jeremiah 38 in the SBITS4

Jeremiah 38 in the SBIUS

Jeremiah 38 in the SBIVS

Jeremiah 38 in the SBT

Jeremiah 38 in the SBT1E

Jeremiah 38 in the SCHL

Jeremiah 38 in the SNT

Jeremiah 38 in the SUSU

Jeremiah 38 in the SUSU2

Jeremiah 38 in the SYNO

Jeremiah 38 in the TBIAOTANT

Jeremiah 38 in the TBT1E

Jeremiah 38 in the TBT1E2

Jeremiah 38 in the TFTIP

Jeremiah 38 in the TFTU

Jeremiah 38 in the TGNTATF3T

Jeremiah 38 in the THAI

Jeremiah 38 in the TNFD

Jeremiah 38 in the TNT

Jeremiah 38 in the TNTIK

Jeremiah 38 in the TNTIL

Jeremiah 38 in the TNTIN

Jeremiah 38 in the TNTIP

Jeremiah 38 in the TNTIZ

Jeremiah 38 in the TOMA

Jeremiah 38 in the TTENT

Jeremiah 38 in the UBG

Jeremiah 38 in the UGV

Jeremiah 38 in the UGV2

Jeremiah 38 in the UGV3

Jeremiah 38 in the VBL

Jeremiah 38 in the VDCC

Jeremiah 38 in the YALU

Jeremiah 38 in the YAPE

Jeremiah 38 in the YBVTP

Jeremiah 38 in the ZBP