Jeremiah 42 (BOLCB)
1 Awo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira 2 nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe MUKAMA Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo. 3 Saba MUKAMA Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.” 4 Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri MUKAMA Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna MUKAMA by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.” 5 Awo ne bagamba Yeremiya nti, “MUKAMA abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna MUKAMA Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba. 6 Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera MUKAMA Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera MUKAMA Katonda waffe.” 7 Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Yeremiya. 8 N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu. 9 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti, 10 ‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako. 11 Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera MUKAMA, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo. 12 Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’ 13 “Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde MUKAMA Katonda wammwe. 14 Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’ 15 kale nno muwulire ekigambo kya MUKAMA, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, 16 olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. 17 Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ 18 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’ 19 “Mmwe abafisseewo ku Yuda, MUKAMA abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero 20 nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri MUKAMA Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri MUKAMA Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’ 21 Mbabuulidde leero, naye era temugondedde MUKAMA Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba. 22 Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”
In Other Versions
Jeremiah 42 in the ANGEFD
Jeremiah 42 in the ANTPNG2D
Jeremiah 42 in the AS21
Jeremiah 42 in the BAGH
Jeremiah 42 in the BBPNG
Jeremiah 42 in the BBT1E
Jeremiah 42 in the BDS
Jeremiah 42 in the BEV
Jeremiah 42 in the BHAD
Jeremiah 42 in the BIB
Jeremiah 42 in the BLPT
Jeremiah 42 in the BNT
Jeremiah 42 in the BNTABOOT
Jeremiah 42 in the BNTLV
Jeremiah 42 in the BOATCB
Jeremiah 42 in the BOATCB2
Jeremiah 42 in the BOBCV
Jeremiah 42 in the BOCNT
Jeremiah 42 in the BOECS
Jeremiah 42 in the BOGWICC
Jeremiah 42 in the BOHCB
Jeremiah 42 in the BOHCV
Jeremiah 42 in the BOHLNT
Jeremiah 42 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 42 in the BOICB
Jeremiah 42 in the BOILNTAP
Jeremiah 42 in the BOITCV
Jeremiah 42 in the BOKCV
Jeremiah 42 in the BOKCV2
Jeremiah 42 in the BOKHWOG
Jeremiah 42 in the BOKSSV
Jeremiah 42 in the BOLCB2
Jeremiah 42 in the BOMCV
Jeremiah 42 in the BONAV
Jeremiah 42 in the BONCB
Jeremiah 42 in the BONLT
Jeremiah 42 in the BONUT2
Jeremiah 42 in the BOPLNT
Jeremiah 42 in the BOSCB
Jeremiah 42 in the BOSNC
Jeremiah 42 in the BOTLNT
Jeremiah 42 in the BOVCB
Jeremiah 42 in the BOYCB
Jeremiah 42 in the BPBB
Jeremiah 42 in the BPH
Jeremiah 42 in the BSB
Jeremiah 42 in the CCB
Jeremiah 42 in the CUV
Jeremiah 42 in the CUVS
Jeremiah 42 in the DBT
Jeremiah 42 in the DGDNT
Jeremiah 42 in the DHNT
Jeremiah 42 in the DNT
Jeremiah 42 in the ELBE
Jeremiah 42 in the EMTV
Jeremiah 42 in the ESV
Jeremiah 42 in the FBV
Jeremiah 42 in the FEB
Jeremiah 42 in the GGMNT
Jeremiah 42 in the GNT
Jeremiah 42 in the HARY
Jeremiah 42 in the HNT
Jeremiah 42 in the IRVA
Jeremiah 42 in the IRVB
Jeremiah 42 in the IRVG
Jeremiah 42 in the IRVH
Jeremiah 42 in the IRVK
Jeremiah 42 in the IRVM
Jeremiah 42 in the IRVM2
Jeremiah 42 in the IRVO
Jeremiah 42 in the IRVP
Jeremiah 42 in the IRVT
Jeremiah 42 in the IRVT2
Jeremiah 42 in the IRVU
Jeremiah 42 in the ISVN
Jeremiah 42 in the JSNT
Jeremiah 42 in the KAPI
Jeremiah 42 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 42 in the KBV
Jeremiah 42 in the KJV
Jeremiah 42 in the KNFD
Jeremiah 42 in the LBA
Jeremiah 42 in the LBLA
Jeremiah 42 in the LNT
Jeremiah 42 in the LSV
Jeremiah 42 in the MAAL
Jeremiah 42 in the MBV
Jeremiah 42 in the MBV2
Jeremiah 42 in the MHNT
Jeremiah 42 in the MKNFD
Jeremiah 42 in the MNG
Jeremiah 42 in the MNT
Jeremiah 42 in the MNT2
Jeremiah 42 in the MRS1T
Jeremiah 42 in the NAA
Jeremiah 42 in the NASB
Jeremiah 42 in the NBLA
Jeremiah 42 in the NBS
Jeremiah 42 in the NBVTP
Jeremiah 42 in the NET2
Jeremiah 42 in the NIV11
Jeremiah 42 in the NNT
Jeremiah 42 in the NNT2
Jeremiah 42 in the NNT3
Jeremiah 42 in the PDDPT
Jeremiah 42 in the PFNT
Jeremiah 42 in the RMNT
Jeremiah 42 in the SBIAS
Jeremiah 42 in the SBIBS
Jeremiah 42 in the SBIBS2
Jeremiah 42 in the SBICS
Jeremiah 42 in the SBIDS
Jeremiah 42 in the SBIGS
Jeremiah 42 in the SBIHS
Jeremiah 42 in the SBIIS
Jeremiah 42 in the SBIIS2
Jeremiah 42 in the SBIIS3
Jeremiah 42 in the SBIKS
Jeremiah 42 in the SBIKS2
Jeremiah 42 in the SBIMS
Jeremiah 42 in the SBIOS
Jeremiah 42 in the SBIPS
Jeremiah 42 in the SBISS
Jeremiah 42 in the SBITS
Jeremiah 42 in the SBITS2
Jeremiah 42 in the SBITS3
Jeremiah 42 in the SBITS4
Jeremiah 42 in the SBIUS
Jeremiah 42 in the SBIVS
Jeremiah 42 in the SBT
Jeremiah 42 in the SBT1E
Jeremiah 42 in the SCHL
Jeremiah 42 in the SNT
Jeremiah 42 in the SUSU
Jeremiah 42 in the SUSU2
Jeremiah 42 in the SYNO
Jeremiah 42 in the TBIAOTANT
Jeremiah 42 in the TBT1E
Jeremiah 42 in the TBT1E2
Jeremiah 42 in the TFTIP
Jeremiah 42 in the TFTU
Jeremiah 42 in the TGNTATF3T
Jeremiah 42 in the THAI
Jeremiah 42 in the TNFD
Jeremiah 42 in the TNT
Jeremiah 42 in the TNTIK
Jeremiah 42 in the TNTIL
Jeremiah 42 in the TNTIN
Jeremiah 42 in the TNTIP
Jeremiah 42 in the TNTIZ
Jeremiah 42 in the TOMA
Jeremiah 42 in the TTENT
Jeremiah 42 in the UBG
Jeremiah 42 in the UGV
Jeremiah 42 in the UGV2
Jeremiah 42 in the UGV3
Jeremiah 42 in the VBL
Jeremiah 42 in the VDCC
Jeremiah 42 in the YALU
Jeremiah 42 in the YAPE
Jeremiah 42 in the YBVTP
Jeremiah 42 in the ZBP