Joshua 24 (BOLCB)

1 Awo Yoswa n’akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, n’ayita abakadde ba Isirayiri n’abakulembeze, abalamuzi era n’abakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Katonda. 2 Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala. 3 Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala w’omugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde. 4 Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri. 5 “ ‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri n’ebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo ne mbaggyayo. 6 Bwe naggya bajjajjammwe e Misiri mwatuuka ku Nnyanja Emyufu. Abamisiri abaali mu magaali, n’abeebagadde embalaasi ne bawondera bajjajjammwe okutuuka ku Nnyanja Emyufu. 7 Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira MUKAMA Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe n’Abamisiri; Abamisiri n’abayiwako ennyanja n’ebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene. 8 “ ‘Nabaleeta mu nsi ey’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe. 9 Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, n’atumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire; 10 naye Balamu saamuwuliriza, n’abawa buwi mukisa emirundi n’emirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe. 11 “ ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe. 12 Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. 13 Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala by’emizabbibu n’emizeeyituuni bye mutaasimba.’ 14 “Noolwekyo kaakano mutye MUKAMA Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze MUKAMA Katonda. 15 Naye bwe muba temwagala kuweereza MUKAMA, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga MUKAMA Katonda.” 16 Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka MUKAMA okuweerezanga bakatonda abalala. 17 MUKAMA Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu. 18 MUKAMA Katonda n’agoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga MUKAMA Katonda, kubanga ye Katonda waffe.” 19 Yoswa n’agamba abantu nti, “Kizibu okuweereza MUKAMA, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wa buggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe. 20 Obanga munaalekanga MUKAMA, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira n’abazikiriza n’abamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.” 21 Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda, tunaweerezanga MUKAMA.” 22 Yoswa n’agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga MUKAMA Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.” 23 N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri MUKAMA Katonda wa Isirayiri.” 24 Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Tujja kuweerezanga MUKAMA Katonda waffe era tujja kumugonderanga.” 25 Awo Yoswa n’akola endagaano n’abantu ku lunaku olwo, n’abakolera amateeka n’ebiragiro. 26 Era n’awandiika ebintu bino mu kitabo ky’amateeka ekya Katonda, n’atwala ejjinja eddene ennyo n’aliteeka wansi w’omwera ogwali mu kifo kya MUKAMA ekitukuvu. 27 Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna MUKAMA Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.” 28 Yoswa n’asindika abantu bagende, buli omu mu mugabo gwe. 29 Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa MUKAMA, n’afa ng’awezezza emyaka kikumi mu kkumi. 30 Ne bamuziika mu ttaka ly’obusika bwe lye yaweebwa e Timunasusera, ekiri mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ku luuyi olw’obukiikakkono olw’olusozi Gaasi. 31 Abayisirayiri ne baweereza MUKAMA ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna MUKAMA Katonda gye yakolera Isirayiri. 32 N’amagumba ga Yusufu, abaana ba Isirayiri ge baggya e Misiri ne bagaziika e Sekemu, mu kifo ky’ettaka Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza kikumi ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu ne liba omugabo gw’abaana ba Yusufu. 33 Eriyazaali mutabani wa Alooni naye n’afa, n’aziikibwa ku lusozi Gibea olwaweebwa Finekaasi mutabani we, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu.

In Other Versions

Joshua 24 in the ANGEFD

Joshua 24 in the ANTPNG2D

Joshua 24 in the AS21

Joshua 24 in the BAGH

Joshua 24 in the BBPNG

Joshua 24 in the BBT1E

Joshua 24 in the BDS

Joshua 24 in the BEV

Joshua 24 in the BHAD

Joshua 24 in the BIB

Joshua 24 in the BLPT

Joshua 24 in the BNT

Joshua 24 in the BNTABOOT

Joshua 24 in the BNTLV

Joshua 24 in the BOATCB

Joshua 24 in the BOATCB2

Joshua 24 in the BOBCV

Joshua 24 in the BOCNT

Joshua 24 in the BOECS

Joshua 24 in the BOGWICC

Joshua 24 in the BOHCB

Joshua 24 in the BOHCV

Joshua 24 in the BOHLNT

Joshua 24 in the BOHNTLTAL

Joshua 24 in the BOICB

Joshua 24 in the BOILNTAP

Joshua 24 in the BOITCV

Joshua 24 in the BOKCV

Joshua 24 in the BOKCV2

Joshua 24 in the BOKHWOG

Joshua 24 in the BOKSSV

Joshua 24 in the BOLCB2

Joshua 24 in the BOMCV

Joshua 24 in the BONAV

Joshua 24 in the BONCB

Joshua 24 in the BONLT

Joshua 24 in the BONUT2

Joshua 24 in the BOPLNT

Joshua 24 in the BOSCB

Joshua 24 in the BOSNC

Joshua 24 in the BOTLNT

Joshua 24 in the BOVCB

Joshua 24 in the BOYCB

Joshua 24 in the BPBB

Joshua 24 in the BPH

Joshua 24 in the BSB

Joshua 24 in the CCB

Joshua 24 in the CUV

Joshua 24 in the CUVS

Joshua 24 in the DBT

Joshua 24 in the DGDNT

Joshua 24 in the DHNT

Joshua 24 in the DNT

Joshua 24 in the ELBE

Joshua 24 in the EMTV

Joshua 24 in the ESV

Joshua 24 in the FBV

Joshua 24 in the FEB

Joshua 24 in the GGMNT

Joshua 24 in the GNT

Joshua 24 in the HARY

Joshua 24 in the HNT

Joshua 24 in the IRVA

Joshua 24 in the IRVB

Joshua 24 in the IRVG

Joshua 24 in the IRVH

Joshua 24 in the IRVK

Joshua 24 in the IRVM

Joshua 24 in the IRVM2

Joshua 24 in the IRVO

Joshua 24 in the IRVP

Joshua 24 in the IRVT

Joshua 24 in the IRVT2

Joshua 24 in the IRVU

Joshua 24 in the ISVN

Joshua 24 in the JSNT

Joshua 24 in the KAPI

Joshua 24 in the KBT1ETNIK

Joshua 24 in the KBV

Joshua 24 in the KJV

Joshua 24 in the KNFD

Joshua 24 in the LBA

Joshua 24 in the LBLA

Joshua 24 in the LNT

Joshua 24 in the LSV

Joshua 24 in the MAAL

Joshua 24 in the MBV

Joshua 24 in the MBV2

Joshua 24 in the MHNT

Joshua 24 in the MKNFD

Joshua 24 in the MNG

Joshua 24 in the MNT

Joshua 24 in the MNT2

Joshua 24 in the MRS1T

Joshua 24 in the NAA

Joshua 24 in the NASB

Joshua 24 in the NBLA

Joshua 24 in the NBS

Joshua 24 in the NBVTP

Joshua 24 in the NET2

Joshua 24 in the NIV11

Joshua 24 in the NNT

Joshua 24 in the NNT2

Joshua 24 in the NNT3

Joshua 24 in the PDDPT

Joshua 24 in the PFNT

Joshua 24 in the RMNT

Joshua 24 in the SBIAS

Joshua 24 in the SBIBS

Joshua 24 in the SBIBS2

Joshua 24 in the SBICS

Joshua 24 in the SBIDS

Joshua 24 in the SBIGS

Joshua 24 in the SBIHS

Joshua 24 in the SBIIS

Joshua 24 in the SBIIS2

Joshua 24 in the SBIIS3

Joshua 24 in the SBIKS

Joshua 24 in the SBIKS2

Joshua 24 in the SBIMS

Joshua 24 in the SBIOS

Joshua 24 in the SBIPS

Joshua 24 in the SBISS

Joshua 24 in the SBITS

Joshua 24 in the SBITS2

Joshua 24 in the SBITS3

Joshua 24 in the SBITS4

Joshua 24 in the SBIUS

Joshua 24 in the SBIVS

Joshua 24 in the SBT

Joshua 24 in the SBT1E

Joshua 24 in the SCHL

Joshua 24 in the SNT

Joshua 24 in the SUSU

Joshua 24 in the SUSU2

Joshua 24 in the SYNO

Joshua 24 in the TBIAOTANT

Joshua 24 in the TBT1E

Joshua 24 in the TBT1E2

Joshua 24 in the TFTIP

Joshua 24 in the TFTU

Joshua 24 in the TGNTATF3T

Joshua 24 in the THAI

Joshua 24 in the TNFD

Joshua 24 in the TNT

Joshua 24 in the TNTIK

Joshua 24 in the TNTIL

Joshua 24 in the TNTIN

Joshua 24 in the TNTIP

Joshua 24 in the TNTIZ

Joshua 24 in the TOMA

Joshua 24 in the TTENT

Joshua 24 in the UBG

Joshua 24 in the UGV

Joshua 24 in the UGV2

Joshua 24 in the UGV3

Joshua 24 in the VBL

Joshua 24 in the VDCC

Joshua 24 in the YALU

Joshua 24 in the YAPE

Joshua 24 in the YBVTP

Joshua 24 in the ZBP