Joshua 6 (BOLCB)

1 Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. 2 MUKAMA n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. 3 Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. 4 Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. 5 Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.” 6 Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya MUKAMA nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume.” 7 N’alagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya MUKAMA.” 8 Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya MUKAMA bw’ebavaako emabega. 9 Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona ab’amakondeere, olwo eggye ery’emabega ne ligoberera Essanduuko ng’eno amakondeere bwe ganyaanyaagira. 10 Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.” 11 Bw’etyo Essanduuko ya MUKAMA ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka. 12 Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya MUKAMA, 13 ne bakabona omusanvu abafuuyi b’amakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye ery’emabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya MUKAMA, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa. 14 Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga. 15 Ku lunaku olw’omusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu. 16 Ku mulundi ogw’omusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa n’alagira abantu nti, “Muleekaane kubanga MUKAMA abawadde ekibuga. 17 Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri MUKAMA bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. 18 Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri MUKAMA okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira. 19 Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri MUKAMA era byakutereka mu ggwanika lya MUKAMA.” 20 Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba. 21 Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja n’abakazi, n’abaana abato, n’ente, n’endiga, n’endogoyi ne byonna ne babizikiriza n’ekitala. 22 Awo Yoswa n’agamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli n’abantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.” 23 Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina n’abantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru w’olusiisira lw’Abayisirayiri. 24 Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya MUKAMA. 25 Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko. 26 Yoswa n’alayira nti,“Akolimirwe mu maaso ga MUKAMA omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko.Bw’alyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye.Ate era bw’alyaŋŋanga okuwangamu enzigi z’emiryango gyakyo,alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.” 27 Bw’atyo MUKAMA n’abeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.

In Other Versions

Joshua 6 in the ANGEFD

Joshua 6 in the ANTPNG2D

Joshua 6 in the AS21

Joshua 6 in the BAGH

Joshua 6 in the BBPNG

Joshua 6 in the BBT1E

Joshua 6 in the BDS

Joshua 6 in the BEV

Joshua 6 in the BHAD

Joshua 6 in the BIB

Joshua 6 in the BLPT

Joshua 6 in the BNT

Joshua 6 in the BNTABOOT

Joshua 6 in the BNTLV

Joshua 6 in the BOATCB

Joshua 6 in the BOATCB2

Joshua 6 in the BOBCV

Joshua 6 in the BOCNT

Joshua 6 in the BOECS

Joshua 6 in the BOGWICC

Joshua 6 in the BOHCB

Joshua 6 in the BOHCV

Joshua 6 in the BOHLNT

Joshua 6 in the BOHNTLTAL

Joshua 6 in the BOICB

Joshua 6 in the BOILNTAP

Joshua 6 in the BOITCV

Joshua 6 in the BOKCV

Joshua 6 in the BOKCV2

Joshua 6 in the BOKHWOG

Joshua 6 in the BOKSSV

Joshua 6 in the BOLCB2

Joshua 6 in the BOMCV

Joshua 6 in the BONAV

Joshua 6 in the BONCB

Joshua 6 in the BONLT

Joshua 6 in the BONUT2

Joshua 6 in the BOPLNT

Joshua 6 in the BOSCB

Joshua 6 in the BOSNC

Joshua 6 in the BOTLNT

Joshua 6 in the BOVCB

Joshua 6 in the BOYCB

Joshua 6 in the BPBB

Joshua 6 in the BPH

Joshua 6 in the BSB

Joshua 6 in the CCB

Joshua 6 in the CUV

Joshua 6 in the CUVS

Joshua 6 in the DBT

Joshua 6 in the DGDNT

Joshua 6 in the DHNT

Joshua 6 in the DNT

Joshua 6 in the ELBE

Joshua 6 in the EMTV

Joshua 6 in the ESV

Joshua 6 in the FBV

Joshua 6 in the FEB

Joshua 6 in the GGMNT

Joshua 6 in the GNT

Joshua 6 in the HARY

Joshua 6 in the HNT

Joshua 6 in the IRVA

Joshua 6 in the IRVB

Joshua 6 in the IRVG

Joshua 6 in the IRVH

Joshua 6 in the IRVK

Joshua 6 in the IRVM

Joshua 6 in the IRVM2

Joshua 6 in the IRVO

Joshua 6 in the IRVP

Joshua 6 in the IRVT

Joshua 6 in the IRVT2

Joshua 6 in the IRVU

Joshua 6 in the ISVN

Joshua 6 in the JSNT

Joshua 6 in the KAPI

Joshua 6 in the KBT1ETNIK

Joshua 6 in the KBV

Joshua 6 in the KJV

Joshua 6 in the KNFD

Joshua 6 in the LBA

Joshua 6 in the LBLA

Joshua 6 in the LNT

Joshua 6 in the LSV

Joshua 6 in the MAAL

Joshua 6 in the MBV

Joshua 6 in the MBV2

Joshua 6 in the MHNT

Joshua 6 in the MKNFD

Joshua 6 in the MNG

Joshua 6 in the MNT

Joshua 6 in the MNT2

Joshua 6 in the MRS1T

Joshua 6 in the NAA

Joshua 6 in the NASB

Joshua 6 in the NBLA

Joshua 6 in the NBS

Joshua 6 in the NBVTP

Joshua 6 in the NET2

Joshua 6 in the NIV11

Joshua 6 in the NNT

Joshua 6 in the NNT2

Joshua 6 in the NNT3

Joshua 6 in the PDDPT

Joshua 6 in the PFNT

Joshua 6 in the RMNT

Joshua 6 in the SBIAS

Joshua 6 in the SBIBS

Joshua 6 in the SBIBS2

Joshua 6 in the SBICS

Joshua 6 in the SBIDS

Joshua 6 in the SBIGS

Joshua 6 in the SBIHS

Joshua 6 in the SBIIS

Joshua 6 in the SBIIS2

Joshua 6 in the SBIIS3

Joshua 6 in the SBIKS

Joshua 6 in the SBIKS2

Joshua 6 in the SBIMS

Joshua 6 in the SBIOS

Joshua 6 in the SBIPS

Joshua 6 in the SBISS

Joshua 6 in the SBITS

Joshua 6 in the SBITS2

Joshua 6 in the SBITS3

Joshua 6 in the SBITS4

Joshua 6 in the SBIUS

Joshua 6 in the SBIVS

Joshua 6 in the SBT

Joshua 6 in the SBT1E

Joshua 6 in the SCHL

Joshua 6 in the SNT

Joshua 6 in the SUSU

Joshua 6 in the SUSU2

Joshua 6 in the SYNO

Joshua 6 in the TBIAOTANT

Joshua 6 in the TBT1E

Joshua 6 in the TBT1E2

Joshua 6 in the TFTIP

Joshua 6 in the TFTU

Joshua 6 in the TGNTATF3T

Joshua 6 in the THAI

Joshua 6 in the TNFD

Joshua 6 in the TNT

Joshua 6 in the TNTIK

Joshua 6 in the TNTIL

Joshua 6 in the TNTIN

Joshua 6 in the TNTIP

Joshua 6 in the TNTIZ

Joshua 6 in the TOMA

Joshua 6 in the TTENT

Joshua 6 in the UBG

Joshua 6 in the UGV

Joshua 6 in the UGV2

Joshua 6 in the UGV3

Joshua 6 in the VBL

Joshua 6 in the VDCC

Joshua 6 in the YALU

Joshua 6 in the YAPE

Joshua 6 in the YBVTP

Joshua 6 in the ZBP