Leviticus 13 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’agamba Musa ne Alooni nti, 2 “Omuntu yenna bw’anaabanga n’akazimbye ku lususu lw’omubiri gwe, oba awabutuse, oba awali akatulututtu, ne wafaanana ng’awali endwadde ey’ebigenge, aleetebwenga eri Alooni kabona, oba eri omu ku batabani be bakabona. 3 Kabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bw’anaasanganga ng’obwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, ng’olwo ebyo bigenge. Kabona bw’anaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti omuntu oyo si mulongoofu. 4 Naye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lw’omubiri gwe, ate nga n’obwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 5 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga omuntu oyo; bw’anaasanganga ng’awazimbye teweeyongedde, era nga n’obulwadde obwo tebusaasaanye ku lususu, anaayongeranga okumusibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. 6 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, kale bw’anaasanganga ng’obuzimbu tebukyalabika nnyo, era obulwadde obwo nga tebusaasaanye ku lususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga kubadde kubutuka bubutusi. Omuntu oyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga mulongoofu. 7 Naye okubutuka okwo bwe kunaasaasaananga ku lususu oluvannyuma lw’okweyanjula eri kabona amulangirire nti mulongoofu, anaateekwanga okuddayo eri kabona yeeyanjule buto. 8 Kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’okubutuka kusaasaanye ku lususu ku mubiri, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ng’ebyo bigenge. 9 “Omuntu yenna bw’anaakwatibwanga ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona. 10 Kabona anaamukeberanga, bw’anaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza n’obwoya, era awazimbye nga waliwo n’ennyama y’omubiri erungudde, 11 ebyo binaabanga bigenge eby’olutentezi ku lususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Taasibibwenga mu kalantiini, kubanga amaze okutegeererwawo nga bw’atali mulongoofu. 12 “Naye singa ebigenge bisaasaana ku lususu ne bituuka wonna wonna okuva ku mutwe gw’omuntu oyo okutuuka ku bigere nga kabona bw’asobola okulaba, 13 kale kabona anaakeberanga omuntu oyo; bwe kinaazuulibwanga ng’ebigenge bibunye omubiri gw’omuntu oyo gwonna, anaamulangiriranga nga bw’ali omulongoofu; kubanga omubiri gwe gwonna gufuuse mweru, oyo mulongoofu. 14 Naye ku lususu lw’omuntu oyo bwe kunaalabikangako ennyama erungudde taabenga mulongoofu. 15 Kabona anaakeberanga ennyama eyo erungudde, n’amulangirira nga bw’atali mulongoofu. Ennyama erungudde si nnongoofu, kubanga bigenge. 16 Naye singa ennyama erungudde ekyuka n’efuuka enjeru, omuntu oyo anajjanga eri Kabona. 17 Kabona anaamukeberanga, bw’anaazuulanga ng’olususu olulwadde lufuuse lweru, anaalangiriranga omulwadde oyo okuba omulongoofu; bw’atyo anaabanga mulongoofu. 18 “Omuntu bw’anaabanga alwadde ejjute ku lususu lwe, naye ne liwona, 19 kyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona. 20 Kabona anaakeberangawo, bw’anaasanganga nga wennyise okusinga olususu, nga n’obwoya bwawo bufuuse bweru; kale kabona analangiriranga omuntu oyo nga bw’atali mulongoofu. Obwo bulwadde bwa bigenge ebifulumidde awo awaali ejjute. 21 Naye kabona bw’anaakeberangawo, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, ate nga tewennyise okusinga olususu era nga tewakyalabika nnyo, kale kabona anaasibanga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 22 Naye obulwadde obwo bwe bunaasaasaananga ku lususu, kale kabona analangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu, ebyo nga bigenge. 23 Naye obuzimbu bwe bunaasigalanga mu kifo kimu ne butasaasaana, eyo eneebanga nkovu ya jjute, era kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti mulongoofu. 24 “Singa wabaawo ku lususu lw’omuntu awayidde omuliro, awo awali ennyama eyidde ne wazimba, ne wafuuka watwakaavu oba weeru, 25 kabona anaakeberangawo, obwoya bwawo bwe bunaabanga bufuuse bweru, ate nga walabika ng’awennyise okusinga olususu, ebyo nga bigenge bye bifulumye ku lususu oluyidde. Kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu; ebyo binaabanga bigenge. 26 Naye kabona bw’anaakeberanga awo awayidde, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, era nga tewennyise kusinga lususu, naye nga tewakyalabika nnyo, kabona anaasibiranga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 27 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaamukeberanga, kale bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaana ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ebyo nga bigenge. 28 Naye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ng’awazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga eyo y’enkovu ku lususu awaayokebwa omuliro. 29 “Omusajja oba omukazi bw’anaalwalanga ebbwa ku mutwe oba ku kalevu, 30 kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwe linaabanga lyennyise okusinga olususu, nga n’obwoya obulirimu bwa kyenvu ate nga bwa matalaga; kale kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; eryo nga lye bbwa erisiiwa, nga bye bigenge eby’oku mutwe oba eby’oku kalevu. 31 Kabona bw’anaakeberanga ebbwa erisiiwa, n’asanga nga teryennyise kuyisa lususu, ate nga mu lyo nga temuliimu bwoya buddugavu, kale kabona anaasibiranga omuntu oyo alina ebbwa erisiiwa mu kalantiini amalemu ennaku musanvu. 32 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bw’anaasanganga ng’okusiiwa tekusaasaanye, ate nga mu bbwa temuliimu bwoya bwa kyenvu, era ng’awasiiwa tewennyise kusinga lususu, 33 omuntu oyo asaananga amwebwe okuggyako awo awalwadde wokka; ate kabona anaamusibiranga mu kalantiini ennaku endala musanvu. 34 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga awo awasiiwa, okusiiwa bwe kunaabanga tekusaasaanye ku lususu, ate nga tewennyise kusinga lususu, kale, kabona anaalangiriranga omuntu oyo nga bw’ali omulongoofu; era omuntu oyo anaayozanga engoye ze n’abeera mulongoofu. 35 Naye okusiiwa bwe kunaasaasaananga ku lususu ng’amaze okulongooka, 36 kabona anaayongeranga okumukebera, bw’anaasanganga ng’okusiiwa kusaasaanye ku lususu, kabona taanoonyenga bwoya bwa kyenvu mu bbwa eryo; omuntu oyo si mulongoofu. 37 Naye mu kulaba kwa kabona, okusiiwa bwe kunaabanga tekweyongedde, nga n’obwoya obwa kyenvu bukuze mu bbwa, olwo ng’okusiiwa kuwonye, era omuntu oyo nga mulongoofu era kabona naye anaamulangiriranga nti mulongoofu. 38 “Omusajja oba omukazi bw’anaabanga n’obutulututtu obweru ku mubiri gwe, 39 kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’obutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lw’omuntu oyo, ye aba mulongoofu. 40 “Omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ku mutwe gwe zonna, anaabeeranga kyemwa, naye nga mulongoofu. 41 Era omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ez’omu maaso nga ku kyenyi, oyo anaabanga wa kiwalaata eky’omu bwenyi, kyokka nga mulongoofu. 42 Naye mu mutwe omutali nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi bwe munaabangamu akafo akalwadde ebbwa nga kalungudde keeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, ebyo nga bigenge bye bifulumye mu mutwe ogutaliimu nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi. 43 Kale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bw’anaasanganga ng’akafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ng’ebigenge bwe biba nga biri ku lususu olw’omubiri, 44 omuntu oyo anaabanga mugenge, nga si mulongoofu. Kabona anaamulangiriranga nga bw’atali mulongoofu, olw’obulwadde obwo mu mutwe gwe. 45 “Omuntu anaalwalanga ebigenge anaayambalanga engoye njulifu, n’enviiri z’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziduumuuka, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw’engulu n’atambula nga bw’aleekaana nti, ‘Siri mulongoofu! Siri mulongoofu!’ 46 Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira. 47 “Obulwadde bw’ebigenge bwe bunaalabikanga mu byambalo by’omusajja oba eby’omukazi, ebyambalo ebyo nga bikoleddwa mu byoya by’endiga oba mu bafuta oba maliba, 48 oba mu nfunyiro ne mu ntabiro z’ebyambalo by’ebyoya by’endiga, oba mu bafuta oba mu maliba, oba mu kyambalo ekya buli ngeri yonna ekitungiddwa mu maliba; 49 era obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nga bwa langi ya kiragalalagala oba myufumyufu, nga buli mu kyambalo oba mu nfunyiro oba mu ntabiro zaakyo, oba mu kyambalo kyonna ekitungiddwa mu maliba; obwo nga bulwadde bwa bigenge, era bunaalagibwanga kabona. 50 Kabona anaakeberanga obulwadde obwo, anaasibiranga ekintu ekyo omuli obulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 51 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga obulwadde obwo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde obwo bauaasanye mu kyambalo, mu nfunyiro oba mu butungiro oba mu maliba, oba mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, ng’amanya ng’obulwadde obwo bwa bigenge ebitta n’omuntu; ekyo ekyambalo nga si kirongoofu. 52 Kabona anaayokyanga ebyambalo ebyo, obanga obulwadde buli mu nfunyiro oba mu ntabiro ez’ebyambalo ebya bafuta oba eby’ebyoya by’endiga, oba ebirala byonna ebitungiddwa mu maliba, kubanga obwo bwe bulwadde bw’ebigenge ebittira ddala. Ebyambalo ebyo binaayokebwanga mu muliro. 53 “Kabona bw’anaabanga akebedde ekyambalo ekirimu obulwadde, n’asanga nga tebusaasaanye mu kyambalo, ne mu nfunyiro zaakyo, oba ne mu ntabiro, oba ne mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, 54 kale kabona anaalagiranga ne bayoza ekyambalo ekyo omuli obulwadde, n’ayongera okukisibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. 55 Awo kabona anaakeberanga ekyambalo ekyo ekyoze, bw’anaasanganga ng’erangi y’akafo awali obulwadde tekyuse, newaakubadde ng’obulwadde tebusaasaanye, ekyambalo ekyo nga si kirongoofu. Mukyokyanga mu muliro, awali ebigenge ne bwe wanaabanga mu kyambalo mu maaso oba mu mabega gaakyo. 56 Naye kabona bw’anaakeberanga n’asanga nga bwe bamaze okwoza ekyambalo, akafo ako awali obulwadde tekakyalabika nnyo, akafo ako anaakayuzangamu mu kyambalo ekyo, oba mu ddiba oba mu kiruke kyonna ekyambalwa. 57 Naye obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nate mu kyambalo, oba mu kyambalo eky’eddiba oba ekiruke, nga busaasaanye, kale munaayokyanga mu muliro ekyambalo ekyo omuli obulwadde. 58 Naye mu kyambalo kyonna, oba ekyambalo eky’eddiba oba ekiruke, obulwadde bwe buggwangamu nga kimaze okwozebwa, kale kinaayozebwanga omulundi ogwokubiri, ne kiba kirongoofu.” 59 Eryo lye tteeka ery’obulwadde bw’ebigenge mu byambalo by’ebyoya by’endiga, oba linena, oba ebiruke obulusi, oba ebitunge mu maliba mu ngeri ezitali zimu, erinaasinziirwangako okulangirira obanga ekyambalo kirongoofu oba si kirongoofu.

In Other Versions

Leviticus 13 in the ANGEFD

Leviticus 13 in the ANTPNG2D

Leviticus 13 in the AS21

Leviticus 13 in the BAGH

Leviticus 13 in the BBPNG

Leviticus 13 in the BBT1E

Leviticus 13 in the BDS

Leviticus 13 in the BEV

Leviticus 13 in the BHAD

Leviticus 13 in the BIB

Leviticus 13 in the BLPT

Leviticus 13 in the BNT

Leviticus 13 in the BNTABOOT

Leviticus 13 in the BNTLV

Leviticus 13 in the BOATCB

Leviticus 13 in the BOATCB2

Leviticus 13 in the BOBCV

Leviticus 13 in the BOCNT

Leviticus 13 in the BOECS

Leviticus 13 in the BOGWICC

Leviticus 13 in the BOHCB

Leviticus 13 in the BOHCV

Leviticus 13 in the BOHLNT

Leviticus 13 in the BOHNTLTAL

Leviticus 13 in the BOICB

Leviticus 13 in the BOILNTAP

Leviticus 13 in the BOITCV

Leviticus 13 in the BOKCV

Leviticus 13 in the BOKCV2

Leviticus 13 in the BOKHWOG

Leviticus 13 in the BOKSSV

Leviticus 13 in the BOLCB2

Leviticus 13 in the BOMCV

Leviticus 13 in the BONAV

Leviticus 13 in the BONCB

Leviticus 13 in the BONLT

Leviticus 13 in the BONUT2

Leviticus 13 in the BOPLNT

Leviticus 13 in the BOSCB

Leviticus 13 in the BOSNC

Leviticus 13 in the BOTLNT

Leviticus 13 in the BOVCB

Leviticus 13 in the BOYCB

Leviticus 13 in the BPBB

Leviticus 13 in the BPH

Leviticus 13 in the BSB

Leviticus 13 in the CCB

Leviticus 13 in the CUV

Leviticus 13 in the CUVS

Leviticus 13 in the DBT

Leviticus 13 in the DGDNT

Leviticus 13 in the DHNT

Leviticus 13 in the DNT

Leviticus 13 in the ELBE

Leviticus 13 in the EMTV

Leviticus 13 in the ESV

Leviticus 13 in the FBV

Leviticus 13 in the FEB

Leviticus 13 in the GGMNT

Leviticus 13 in the GNT

Leviticus 13 in the HARY

Leviticus 13 in the HNT

Leviticus 13 in the IRVA

Leviticus 13 in the IRVB

Leviticus 13 in the IRVG

Leviticus 13 in the IRVH

Leviticus 13 in the IRVK

Leviticus 13 in the IRVM

Leviticus 13 in the IRVM2

Leviticus 13 in the IRVO

Leviticus 13 in the IRVP

Leviticus 13 in the IRVT

Leviticus 13 in the IRVT2

Leviticus 13 in the IRVU

Leviticus 13 in the ISVN

Leviticus 13 in the JSNT

Leviticus 13 in the KAPI

Leviticus 13 in the KBT1ETNIK

Leviticus 13 in the KBV

Leviticus 13 in the KJV

Leviticus 13 in the KNFD

Leviticus 13 in the LBA

Leviticus 13 in the LBLA

Leviticus 13 in the LNT

Leviticus 13 in the LSV

Leviticus 13 in the MAAL

Leviticus 13 in the MBV

Leviticus 13 in the MBV2

Leviticus 13 in the MHNT

Leviticus 13 in the MKNFD

Leviticus 13 in the MNG

Leviticus 13 in the MNT

Leviticus 13 in the MNT2

Leviticus 13 in the MRS1T

Leviticus 13 in the NAA

Leviticus 13 in the NASB

Leviticus 13 in the NBLA

Leviticus 13 in the NBS

Leviticus 13 in the NBVTP

Leviticus 13 in the NET2

Leviticus 13 in the NIV11

Leviticus 13 in the NNT

Leviticus 13 in the NNT2

Leviticus 13 in the NNT3

Leviticus 13 in the PDDPT

Leviticus 13 in the PFNT

Leviticus 13 in the RMNT

Leviticus 13 in the SBIAS

Leviticus 13 in the SBIBS

Leviticus 13 in the SBIBS2

Leviticus 13 in the SBICS

Leviticus 13 in the SBIDS

Leviticus 13 in the SBIGS

Leviticus 13 in the SBIHS

Leviticus 13 in the SBIIS

Leviticus 13 in the SBIIS2

Leviticus 13 in the SBIIS3

Leviticus 13 in the SBIKS

Leviticus 13 in the SBIKS2

Leviticus 13 in the SBIMS

Leviticus 13 in the SBIOS

Leviticus 13 in the SBIPS

Leviticus 13 in the SBISS

Leviticus 13 in the SBITS

Leviticus 13 in the SBITS2

Leviticus 13 in the SBITS3

Leviticus 13 in the SBITS4

Leviticus 13 in the SBIUS

Leviticus 13 in the SBIVS

Leviticus 13 in the SBT

Leviticus 13 in the SBT1E

Leviticus 13 in the SCHL

Leviticus 13 in the SNT

Leviticus 13 in the SUSU

Leviticus 13 in the SUSU2

Leviticus 13 in the SYNO

Leviticus 13 in the TBIAOTANT

Leviticus 13 in the TBT1E

Leviticus 13 in the TBT1E2

Leviticus 13 in the TFTIP

Leviticus 13 in the TFTU

Leviticus 13 in the TGNTATF3T

Leviticus 13 in the THAI

Leviticus 13 in the TNFD

Leviticus 13 in the TNT

Leviticus 13 in the TNTIK

Leviticus 13 in the TNTIL

Leviticus 13 in the TNTIN

Leviticus 13 in the TNTIP

Leviticus 13 in the TNTIZ

Leviticus 13 in the TOMA

Leviticus 13 in the TTENT

Leviticus 13 in the UBG

Leviticus 13 in the UGV

Leviticus 13 in the UGV2

Leviticus 13 in the UGV3

Leviticus 13 in the VBL

Leviticus 13 in the VDCC

Leviticus 13 in the YALU

Leviticus 13 in the YAPE

Leviticus 13 in the YBVTP

Leviticus 13 in the ZBP