Leviticus 26 (BOLCB)

1 “Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 2 Mukwatenga Ssabbiiti zange, era n’ebifo byange ebitukuvu mubissengamu ekitiibwa. Nze MUKAMA Katonda. 3 “Bwe munaakwatanga amateeka gange, ne mugondera ebiragiro byange n’obwegendereza, 4 nnaabatonnyesezanga enkuba mu ntuuko zaayo, n’ettaka linaavangamu ebibala byalyo, n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. 5 Munaawuulanga okutuusa ku makungula g’emizabbibu, n’okukungula emizabbibu kunaabatuusanga mu biseera eby’okusiga; era munaalyanga emmere yonna nga bwe mwetaaga, ne mubeera mu nsi yammwe nga mulina emirembe. 6 “Ndibawa emirembe mu nsi ne mwebaka bulungi, so tewaabengawo anaabatiisatiisanga. Ebisolo ebikambwe ndibimalamu mu nsi yammwe, era temuubeerengamu ntalo. 7 Munaawonderanga abalabe bammwe ne mubatta n’ekitala ne mubawangula. 8 Abataano mu mmwe banaagobanga ekikumi, era ekikumi mu mmwe banaagobanga omutwalo ogumu, era munaawangulanga abalabe bammwe n’ekitala. 9 “Nnaabassangako omwoyo ne mbawa okuzaala ne mweyongera obungi, era endagaano yange nammwe nnaagituukirizanga. 10 Munaabanga mukyalya ku makungula ag’omwaka oguyise ne mugafulumya olw’amakungula amaggya. 11 Ekifo kyange eky’okubeeramu nnaakiteekanga mu mmwe, era omutima gwange teguubatamwenga. 12 Nnaatambuliranga mu mmwe, era nnaabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. 13 Nze MUKAMA Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, mulyoke mukome okuba abaddu b’Abamisiri; namenya ebikoligo byammwe ne mbasobozesa okutambula nga mwesimbye. 14 “Naye bwe mutampulirenga, ne mutagondera biragiro ebyo byonna, 15 era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange, 16 kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya. 17 Ndibeefuukira, abalabe bammwe n’okubawangula ne babawangula; abo ababakyawa banaabafuganga, ne mudduka n’okudduka so nga tewali abagoba. 18 Oluvannyuma lw’ebyo byonna okubatuukako, era bwe mutaŋŋonderenga, kale ndyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu, olw’ebibi byammwe. 19 Amalala gammwe n’emputtu ndibibaggyamu, eggulu ne likakanyala ng’ekyuma, n’ettaka ne likaluba ng’ekikomo. 20 Amaanyi gammwe ganaabafanga busa, kubanga ettaka lyammwe teriivengamu mmere yaalyo, wadde emiti egy’omu nsi yammwe okubala ebibala byagyo. 21 “Era bwe muneeyongeranga okutambulira mu makubo ge sikkiriza, ne mugaana okumpulira, ndyongera okubaleetako endwadde nnyingi nga za mirundi musanvu ng’ebibi byammwe bwe byenkana. 22 Era ndibasindikira ensolo ez’omu nsiko, ezinaalyanga abaana bammwe, ne zizikiriza ente zammwe n’omuwendo gwammwe ne gukendeera, nga n’enguudo zammwe tewakyali azitambuliramu. 23 “Era okukangavvula okwo bwe kutaabakyusenga kudda gye ndi, naye ne mweyongera okujeema, 24 kale, nange ndibalaga obukambwe, era nze kennyini ndibeebonerereza emirundi musanvu olw’ebyonoono byammwe. 25 Era nnaabaleeteranga entalo okwesasuza olw’okumenya endagaano. Bwe muneekuŋŋaanyizanga mu bibuga byammwe, nnaabaleeteranga endwadde enkambwe, era n’abalabe bammwe banaabawangulanga. 26 Bwe ndikendeeza ku bungi bw’emmere yammwe, olwo abakazi ekkumi banaabafumbiranga emmere yammwe mu ntamu emu, era buli omu banaamupimirangako akatole katono. Munaalyanga, naye temukkutenga. 27 “N’ebyo byonna bwe binaalemanga okukyusa emitima gyammwe okumpulira, naye ne mweyongera okunjeemeranga; 28 nange nnaabasunguwaliranga, nze kennyini ne mbeebonerereza emirundi musanvu olw’ebibi byammwe. 29 Mulirya batabani bammwe ne bawala bammwe. 30 Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa. 31 Ebibuga byammwe binaasigaliranga awo tayo, n’ebifo byammwe ebitukuvu nga tebiriiko abifaako, era n’akaloosa akava mu biweebwayo byammwe tekansanyusenga. 32 Ensi yammwe ndigifuula ddungu n’abalabe bammwe abanaagibeerangamu ne bagyewuunya. 33 Ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbagobereza ekitala kyange. Ensi yammwe erifuuka amalungu n’ebibuga byammwe nga bimenyeddwa. 34 Awo ettaka ne liryoka lifuna emyaka egya ssabbiiti zaalyo mu bbanga eryo lye lirimala nga tewali alifaako, nga mmwe muli mu nsi z’abalabe bammwe; ettaka ne liwummulako ne lyeyagalira mu ssabbiiti zaalyo ezo. 35 Ebbanga eryo lyonna ettaka lye lirimala nga tewali kikolerwako, liriba n’okuwummula kwe litaafuna mu ssabbiiti ezaayita bwe mwali nga mmwe mulibeerako. 36 “Mu mmwe, abaliba basigaddewo nga bakyali balamu, nditeeka okutya mu mitima gyabwe nga bali eyo mu nsi z’abalabe baabwe, nga n’eddoboozi ly’akakoola k’omuti akafuumuulibwa n’empewo kabatiisa. Banaddukanga ng’abaliko abalabe ab’ebitala ababagoba, banaagwanga newaakubadde nga tewaabeerengawo babawondera. 37 Banaagwaŋŋanangako ng’abadduka okwewonya omulabe ow’ekitala newaakubadde nga tewaabengawo babawondera. Bwe mutyo temuusobolenga kwolekera balabe bammwe. 38 Mulisaanawo mu mawanga; ensi z’abalabe bammwe ziribamira. 39 N’abo ku mmwe abanaabanga basigaddewo banaakoozimbiranga mu nsi z’abalabe bammwe olw’ebibi byabwe, era balikoozimba n’olw’ebibi bya bakitaabwe. 40 “Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe n’ebyonoono bya bakitaabwe n’obunnanfuusi bwabwe gye ndi n’obujeemu bwabwe, 41 ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi z’abalabe baabwe, era amalala g’emitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olw’ebyonoono byabwe, 42 kale ndijjukira endagaano yange ne Yakobo, ne nzijukira endagaano yange ne Isaaka n’endagaano yange ne Ibulayimu, era ndijjukira n’ensi yaabwe. 43 Naye ensi banaabanga bagivuddemu n’efuna ssabbiiti zaayo kubanga abaagibeerangamu tebakyagirimu. Banaabonerezebwanga olw’ebibi byabwe kubanga baanyoomoolanga amateeka gange ne batagondera biragiro byange. 44 Newaakubadde ng’ebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi z’abalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga n’okumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze MUKAMA Katonda waabwe. 45 Naye ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, be naggya mu nsi ey’e Misiri nga n’amawanga gonna galaba ndyoke mbeere Katonda waabwe. Nze MUKAMA.” 46 Ago ge mateeka n’ebiragiro n’amateeka amakulu MUKAMA ge yakolera abaana ba Isirayiri, nga bwe yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi.

In Other Versions

Leviticus 26 in the ANGEFD

Leviticus 26 in the ANTPNG2D

Leviticus 26 in the AS21

Leviticus 26 in the BAGH

Leviticus 26 in the BBPNG

Leviticus 26 in the BBT1E

Leviticus 26 in the BDS

Leviticus 26 in the BEV

Leviticus 26 in the BHAD

Leviticus 26 in the BIB

Leviticus 26 in the BLPT

Leviticus 26 in the BNT

Leviticus 26 in the BNTABOOT

Leviticus 26 in the BNTLV

Leviticus 26 in the BOATCB

Leviticus 26 in the BOATCB2

Leviticus 26 in the BOBCV

Leviticus 26 in the BOCNT

Leviticus 26 in the BOECS

Leviticus 26 in the BOGWICC

Leviticus 26 in the BOHCB

Leviticus 26 in the BOHCV

Leviticus 26 in the BOHLNT

Leviticus 26 in the BOHNTLTAL

Leviticus 26 in the BOICB

Leviticus 26 in the BOILNTAP

Leviticus 26 in the BOITCV

Leviticus 26 in the BOKCV

Leviticus 26 in the BOKCV2

Leviticus 26 in the BOKHWOG

Leviticus 26 in the BOKSSV

Leviticus 26 in the BOLCB2

Leviticus 26 in the BOMCV

Leviticus 26 in the BONAV

Leviticus 26 in the BONCB

Leviticus 26 in the BONLT

Leviticus 26 in the BONUT2

Leviticus 26 in the BOPLNT

Leviticus 26 in the BOSCB

Leviticus 26 in the BOSNC

Leviticus 26 in the BOTLNT

Leviticus 26 in the BOVCB

Leviticus 26 in the BOYCB

Leviticus 26 in the BPBB

Leviticus 26 in the BPH

Leviticus 26 in the BSB

Leviticus 26 in the CCB

Leviticus 26 in the CUV

Leviticus 26 in the CUVS

Leviticus 26 in the DBT

Leviticus 26 in the DGDNT

Leviticus 26 in the DHNT

Leviticus 26 in the DNT

Leviticus 26 in the ELBE

Leviticus 26 in the EMTV

Leviticus 26 in the ESV

Leviticus 26 in the FBV

Leviticus 26 in the FEB

Leviticus 26 in the GGMNT

Leviticus 26 in the GNT

Leviticus 26 in the HARY

Leviticus 26 in the HNT

Leviticus 26 in the IRVA

Leviticus 26 in the IRVB

Leviticus 26 in the IRVG

Leviticus 26 in the IRVH

Leviticus 26 in the IRVK

Leviticus 26 in the IRVM

Leviticus 26 in the IRVM2

Leviticus 26 in the IRVO

Leviticus 26 in the IRVP

Leviticus 26 in the IRVT

Leviticus 26 in the IRVT2

Leviticus 26 in the IRVU

Leviticus 26 in the ISVN

Leviticus 26 in the JSNT

Leviticus 26 in the KAPI

Leviticus 26 in the KBT1ETNIK

Leviticus 26 in the KBV

Leviticus 26 in the KJV

Leviticus 26 in the KNFD

Leviticus 26 in the LBA

Leviticus 26 in the LBLA

Leviticus 26 in the LNT

Leviticus 26 in the LSV

Leviticus 26 in the MAAL

Leviticus 26 in the MBV

Leviticus 26 in the MBV2

Leviticus 26 in the MHNT

Leviticus 26 in the MKNFD

Leviticus 26 in the MNG

Leviticus 26 in the MNT

Leviticus 26 in the MNT2

Leviticus 26 in the MRS1T

Leviticus 26 in the NAA

Leviticus 26 in the NASB

Leviticus 26 in the NBLA

Leviticus 26 in the NBS

Leviticus 26 in the NBVTP

Leviticus 26 in the NET2

Leviticus 26 in the NIV11

Leviticus 26 in the NNT

Leviticus 26 in the NNT2

Leviticus 26 in the NNT3

Leviticus 26 in the PDDPT

Leviticus 26 in the PFNT

Leviticus 26 in the RMNT

Leviticus 26 in the SBIAS

Leviticus 26 in the SBIBS

Leviticus 26 in the SBIBS2

Leviticus 26 in the SBICS

Leviticus 26 in the SBIDS

Leviticus 26 in the SBIGS

Leviticus 26 in the SBIHS

Leviticus 26 in the SBIIS

Leviticus 26 in the SBIIS2

Leviticus 26 in the SBIIS3

Leviticus 26 in the SBIKS

Leviticus 26 in the SBIKS2

Leviticus 26 in the SBIMS

Leviticus 26 in the SBIOS

Leviticus 26 in the SBIPS

Leviticus 26 in the SBISS

Leviticus 26 in the SBITS

Leviticus 26 in the SBITS2

Leviticus 26 in the SBITS3

Leviticus 26 in the SBITS4

Leviticus 26 in the SBIUS

Leviticus 26 in the SBIVS

Leviticus 26 in the SBT

Leviticus 26 in the SBT1E

Leviticus 26 in the SCHL

Leviticus 26 in the SNT

Leviticus 26 in the SUSU

Leviticus 26 in the SUSU2

Leviticus 26 in the SYNO

Leviticus 26 in the TBIAOTANT

Leviticus 26 in the TBT1E

Leviticus 26 in the TBT1E2

Leviticus 26 in the TFTIP

Leviticus 26 in the TFTU

Leviticus 26 in the TGNTATF3T

Leviticus 26 in the THAI

Leviticus 26 in the TNFD

Leviticus 26 in the TNT

Leviticus 26 in the TNTIK

Leviticus 26 in the TNTIL

Leviticus 26 in the TNTIN

Leviticus 26 in the TNTIP

Leviticus 26 in the TNTIZ

Leviticus 26 in the TOMA

Leviticus 26 in the TTENT

Leviticus 26 in the UBG

Leviticus 26 in the UGV

Leviticus 26 in the UGV2

Leviticus 26 in the UGV3

Leviticus 26 in the VBL

Leviticus 26 in the VDCC

Leviticus 26 in the YALU

Leviticus 26 in the YAPE

Leviticus 26 in the YBVTP

Leviticus 26 in the ZBP