Luke 9 (BOLCB)

1 Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde. 2 N’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde. 3 N’abalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri. 4 Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga. 5 Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.” 6 Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya. 7 Awo Kerode eyali afuga Ggaliraaya bwe yawulira ebintu ebyo byonna, n’asoberwa, kubanga abantu abamu baali bagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu,” 8 n’abalala nti, “Eriya yali alabise,” n’abalala nti, “Omu ku bannabbi ab’edda azuukidde mu bafu.” 9 Naye Kerode ne yeebuuza nti, “Yokaana namutemako omutwe; naye ate kale ono ye ani gwe mpulirako ebigambo bino byonna?” N’ayagala okulaba Yesu. 10 Awo abatume bwe baakomawo ne bategeeza Yesu bye baakola. Yesu n’abatwala mu kyama ne bagenda bokka mu kibuga ekiyitibwa Besusayida. 11 Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu n’abaaniriza, n’abayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, n’abaali abalwadde n’abawonya. 12 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi n’ababiri ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere n’okusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.” 13 Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!”Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.” 14 Waaliwo abasajja ng’enkumi ttaano. Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina by’abantu ng’amakumi ataano buli kimu.” 15 Abayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula. 16 Awo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu. 17 Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri. 18 Lwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?” 19 Ne baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti omu ku bannabbi ab’edda y’azuukidde.” 20 Yesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?”Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.” 21 Awo Yesu n’abakuutira, ng’abalagira obutakitegeezaako muntu yenna, 22 n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!” 23 Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! 24 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. 25 Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 26 Buli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu. 27 “Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.” 28 Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba. 29 Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana. 30 Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya, 31 abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi. 32 Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye. 33 Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!” 34 Naye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde. 35 Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!” 36 Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo. 37 Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38 Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. 39 Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. 40 Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.” 41 Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.” 42 Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. 43 Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti, 44 “Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.” 45 Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza. 46 Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo. 47 Naye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’addira omwana omuto n’amuyimiriza w’ali. 48 N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.” 49 Awo Yokaana n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.” 50 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.” 51 Awo ekiseera eky’okulinnya kwe mu ggulu bwe kyali kisembedde, n’amalirira okugenda e Yerusaalemi. 52 N’atuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga ky’Abasamaliya okumutegekera. 53 Naye abantu b’eyo ne batamwaniriza, kubanga yali amaliridde okulaga mu Yerusaalemi. 54 Abayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?” 55 Naye Yesu n’akyuka n’abanenya. 56 Ne bagenda mu kabuga akalala. 57 Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, “Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga.” 58 Yesu n’amugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.” 59 N’agamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.”Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.” 60 Yesu n’amugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.” 61 N’omulala n’agamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange.” 62 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

In Other Versions

Luke 9 in the ANGEFD

Luke 9 in the ANTPNG2D

Luke 9 in the AS21

Luke 9 in the BAGH

Luke 9 in the BBPNG

Luke 9 in the BBT1E

Luke 9 in the BDS

Luke 9 in the BEV

Luke 9 in the BHAD

Luke 9 in the BIB

Luke 9 in the BLPT

Luke 9 in the BNT

Luke 9 in the BNTABOOT

Luke 9 in the BNTLV

Luke 9 in the BOATCB

Luke 9 in the BOATCB2

Luke 9 in the BOBCV

Luke 9 in the BOCNT

Luke 9 in the BOECS

Luke 9 in the BOGWICC

Luke 9 in the BOHCB

Luke 9 in the BOHCV

Luke 9 in the BOHLNT

Luke 9 in the BOHNTLTAL

Luke 9 in the BOICB

Luke 9 in the BOILNTAP

Luke 9 in the BOITCV

Luke 9 in the BOKCV

Luke 9 in the BOKCV2

Luke 9 in the BOKHWOG

Luke 9 in the BOKSSV

Luke 9 in the BOLCB2

Luke 9 in the BOMCV

Luke 9 in the BONAV

Luke 9 in the BONCB

Luke 9 in the BONLT

Luke 9 in the BONUT2

Luke 9 in the BOPLNT

Luke 9 in the BOSCB

Luke 9 in the BOSNC

Luke 9 in the BOTLNT

Luke 9 in the BOVCB

Luke 9 in the BOYCB

Luke 9 in the BPBB

Luke 9 in the BPH

Luke 9 in the BSB

Luke 9 in the CCB

Luke 9 in the CUV

Luke 9 in the CUVS

Luke 9 in the DBT

Luke 9 in the DGDNT

Luke 9 in the DHNT

Luke 9 in the DNT

Luke 9 in the ELBE

Luke 9 in the EMTV

Luke 9 in the ESV

Luke 9 in the FBV

Luke 9 in the FEB

Luke 9 in the GGMNT

Luke 9 in the GNT

Luke 9 in the HARY

Luke 9 in the HNT

Luke 9 in the IRVA

Luke 9 in the IRVB

Luke 9 in the IRVG

Luke 9 in the IRVH

Luke 9 in the IRVK

Luke 9 in the IRVM

Luke 9 in the IRVM2

Luke 9 in the IRVO

Luke 9 in the IRVP

Luke 9 in the IRVT

Luke 9 in the IRVT2

Luke 9 in the IRVU

Luke 9 in the ISVN

Luke 9 in the JSNT

Luke 9 in the KAPI

Luke 9 in the KBT1ETNIK

Luke 9 in the KBV

Luke 9 in the KJV

Luke 9 in the KNFD

Luke 9 in the LBA

Luke 9 in the LBLA

Luke 9 in the LNT

Luke 9 in the LSV

Luke 9 in the MAAL

Luke 9 in the MBV

Luke 9 in the MBV2

Luke 9 in the MHNT

Luke 9 in the MKNFD

Luke 9 in the MNG

Luke 9 in the MNT

Luke 9 in the MNT2

Luke 9 in the MRS1T

Luke 9 in the NAA

Luke 9 in the NASB

Luke 9 in the NBLA

Luke 9 in the NBS

Luke 9 in the NBVTP

Luke 9 in the NET2

Luke 9 in the NIV11

Luke 9 in the NNT

Luke 9 in the NNT2

Luke 9 in the NNT3

Luke 9 in the PDDPT

Luke 9 in the PFNT

Luke 9 in the RMNT

Luke 9 in the SBIAS

Luke 9 in the SBIBS

Luke 9 in the SBIBS2

Luke 9 in the SBICS

Luke 9 in the SBIDS

Luke 9 in the SBIGS

Luke 9 in the SBIHS

Luke 9 in the SBIIS

Luke 9 in the SBIIS2

Luke 9 in the SBIIS3

Luke 9 in the SBIKS

Luke 9 in the SBIKS2

Luke 9 in the SBIMS

Luke 9 in the SBIOS

Luke 9 in the SBIPS

Luke 9 in the SBISS

Luke 9 in the SBITS

Luke 9 in the SBITS2

Luke 9 in the SBITS3

Luke 9 in the SBITS4

Luke 9 in the SBIUS

Luke 9 in the SBIVS

Luke 9 in the SBT

Luke 9 in the SBT1E

Luke 9 in the SCHL

Luke 9 in the SNT

Luke 9 in the SUSU

Luke 9 in the SUSU2

Luke 9 in the SYNO

Luke 9 in the TBIAOTANT

Luke 9 in the TBT1E

Luke 9 in the TBT1E2

Luke 9 in the TFTIP

Luke 9 in the TFTU

Luke 9 in the TGNTATF3T

Luke 9 in the THAI

Luke 9 in the TNFD

Luke 9 in the TNT

Luke 9 in the TNTIK

Luke 9 in the TNTIL

Luke 9 in the TNTIN

Luke 9 in the TNTIP

Luke 9 in the TNTIZ

Luke 9 in the TOMA

Luke 9 in the TTENT

Luke 9 in the UBG

Luke 9 in the UGV

Luke 9 in the UGV2

Luke 9 in the UGV3

Luke 9 in the VBL

Luke 9 in the VDCC

Luke 9 in the YALU

Luke 9 in the YAPE

Luke 9 in the YBVTP

Luke 9 in the ZBP