Mark 10 (BOLCB)

1 Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo. 2 Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?” 3 Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?” 4 Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.” 5 Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. 6 Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. 7 Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. 8 Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. 9 Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.” 10 Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo. 11 Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze. 12 N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.” 13 Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 14 Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 15 Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.” 16 Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa. 17 Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 18 Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 19 Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” 20 N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.” 21 Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” 22 Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo. 23 Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” 24 Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” 26 Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!” 27 Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.” 28 Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.” 29 Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, 30 ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. 31 Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.” 32 Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi. 33 N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa. 34 Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.” 35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.” 36 N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?” 37 Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?” 38 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?” 39 Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange. 40 Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.” 41 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 42 Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu, 43 naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. 44 Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna. 45 N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.” 46 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo. 47 Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 48 Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 49 Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” 50 Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu. 51 Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!” 52 Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.

In Other Versions

Mark 10 in the ANGEFD

Mark 10 in the ANTPNG2D

Mark 10 in the AS21

Mark 10 in the BAGH

Mark 10 in the BBPNG

Mark 10 in the BBT1E

Mark 10 in the BDS

Mark 10 in the BEV

Mark 10 in the BHAD

Mark 10 in the BIB

Mark 10 in the BLPT

Mark 10 in the BNT

Mark 10 in the BNTABOOT

Mark 10 in the BNTLV

Mark 10 in the BOATCB

Mark 10 in the BOATCB2

Mark 10 in the BOBCV

Mark 10 in the BOCNT

Mark 10 in the BOECS

Mark 10 in the BOGWICC

Mark 10 in the BOHCB

Mark 10 in the BOHCV

Mark 10 in the BOHLNT

Mark 10 in the BOHNTLTAL

Mark 10 in the BOICB

Mark 10 in the BOILNTAP

Mark 10 in the BOITCV

Mark 10 in the BOKCV

Mark 10 in the BOKCV2

Mark 10 in the BOKHWOG

Mark 10 in the BOKSSV

Mark 10 in the BOLCB2

Mark 10 in the BOMCV

Mark 10 in the BONAV

Mark 10 in the BONCB

Mark 10 in the BONLT

Mark 10 in the BONUT2

Mark 10 in the BOPLNT

Mark 10 in the BOSCB

Mark 10 in the BOSNC

Mark 10 in the BOTLNT

Mark 10 in the BOVCB

Mark 10 in the BOYCB

Mark 10 in the BPBB

Mark 10 in the BPH

Mark 10 in the BSB

Mark 10 in the CCB

Mark 10 in the CUV

Mark 10 in the CUVS

Mark 10 in the DBT

Mark 10 in the DGDNT

Mark 10 in the DHNT

Mark 10 in the DNT

Mark 10 in the ELBE

Mark 10 in the EMTV

Mark 10 in the ESV

Mark 10 in the FBV

Mark 10 in the FEB

Mark 10 in the GGMNT

Mark 10 in the GNT

Mark 10 in the HARY

Mark 10 in the HNT

Mark 10 in the IRVA

Mark 10 in the IRVB

Mark 10 in the IRVG

Mark 10 in the IRVH

Mark 10 in the IRVK

Mark 10 in the IRVM

Mark 10 in the IRVM2

Mark 10 in the IRVO

Mark 10 in the IRVP

Mark 10 in the IRVT

Mark 10 in the IRVT2

Mark 10 in the IRVU

Mark 10 in the ISVN

Mark 10 in the JSNT

Mark 10 in the KAPI

Mark 10 in the KBT1ETNIK

Mark 10 in the KBV

Mark 10 in the KJV

Mark 10 in the KNFD

Mark 10 in the LBA

Mark 10 in the LBLA

Mark 10 in the LNT

Mark 10 in the LSV

Mark 10 in the MAAL

Mark 10 in the MBV

Mark 10 in the MBV2

Mark 10 in the MHNT

Mark 10 in the MKNFD

Mark 10 in the MNG

Mark 10 in the MNT

Mark 10 in the MNT2

Mark 10 in the MRS1T

Mark 10 in the NAA

Mark 10 in the NASB

Mark 10 in the NBLA

Mark 10 in the NBS

Mark 10 in the NBVTP

Mark 10 in the NET2

Mark 10 in the NIV11

Mark 10 in the NNT

Mark 10 in the NNT2

Mark 10 in the NNT3

Mark 10 in the PDDPT

Mark 10 in the PFNT

Mark 10 in the RMNT

Mark 10 in the SBIAS

Mark 10 in the SBIBS

Mark 10 in the SBIBS2

Mark 10 in the SBICS

Mark 10 in the SBIDS

Mark 10 in the SBIGS

Mark 10 in the SBIHS

Mark 10 in the SBIIS

Mark 10 in the SBIIS2

Mark 10 in the SBIIS3

Mark 10 in the SBIKS

Mark 10 in the SBIKS2

Mark 10 in the SBIMS

Mark 10 in the SBIOS

Mark 10 in the SBIPS

Mark 10 in the SBISS

Mark 10 in the SBITS

Mark 10 in the SBITS2

Mark 10 in the SBITS3

Mark 10 in the SBITS4

Mark 10 in the SBIUS

Mark 10 in the SBIVS

Mark 10 in the SBT

Mark 10 in the SBT1E

Mark 10 in the SCHL

Mark 10 in the SNT

Mark 10 in the SUSU

Mark 10 in the SUSU2

Mark 10 in the SYNO

Mark 10 in the TBIAOTANT

Mark 10 in the TBT1E

Mark 10 in the TBT1E2

Mark 10 in the TFTIP

Mark 10 in the TFTU

Mark 10 in the TGNTATF3T

Mark 10 in the THAI

Mark 10 in the TNFD

Mark 10 in the TNT

Mark 10 in the TNTIK

Mark 10 in the TNTIL

Mark 10 in the TNTIN

Mark 10 in the TNTIP

Mark 10 in the TNTIZ

Mark 10 in the TOMA

Mark 10 in the TTENT

Mark 10 in the UBG

Mark 10 in the UGV

Mark 10 in the UGV2

Mark 10 in the UGV3

Mark 10 in the VBL

Mark 10 in the VDCC

Mark 10 in the YALU

Mark 10 in the YAPE

Mark 10 in the YBVTP

Mark 10 in the ZBP