Mark 16 (BOLCB)
1 Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. 2 Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana. 3 Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana. 4 Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo. 5 Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo! 6 Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. 7 Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ” 8 Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya. 9 Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu. 10 Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga. 11 N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza! 12 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo. 13 Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza. 14 Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira. 15 N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. 16 Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. 17 Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. 18 Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.” 19 Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20 Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.
In Other Versions
Mark 16 in the ANGEFD
Mark 16 in the ANTPNG2D
Mark 16 in the AS21
Mark 16 in the BAGH
Mark 16 in the BBPNG
Mark 16 in the BBT1E
Mark 16 in the BDS
Mark 16 in the BEV
Mark 16 in the BHAD
Mark 16 in the BIB
Mark 16 in the BLPT
Mark 16 in the BNT
Mark 16 in the BNTABOOT
Mark 16 in the BNTLV
Mark 16 in the BOATCB
Mark 16 in the BOATCB2
Mark 16 in the BOBCV
Mark 16 in the BOCNT
Mark 16 in the BOECS
Mark 16 in the BOGWICC
Mark 16 in the BOHCB
Mark 16 in the BOHCV
Mark 16 in the BOHLNT
Mark 16 in the BOHNTLTAL
Mark 16 in the BOICB
Mark 16 in the BOILNTAP
Mark 16 in the BOITCV
Mark 16 in the BOKCV
Mark 16 in the BOKCV2
Mark 16 in the BOKHWOG
Mark 16 in the BOKSSV
Mark 16 in the BOLCB2
Mark 16 in the BOMCV
Mark 16 in the BONAV
Mark 16 in the BONCB
Mark 16 in the BONLT
Mark 16 in the BONUT2
Mark 16 in the BOPLNT
Mark 16 in the BOSCB
Mark 16 in the BOSNC
Mark 16 in the BOTLNT
Mark 16 in the BOVCB
Mark 16 in the BOYCB
Mark 16 in the BPBB
Mark 16 in the BPH
Mark 16 in the BSB
Mark 16 in the CCB
Mark 16 in the CUV
Mark 16 in the CUVS
Mark 16 in the DBT
Mark 16 in the DGDNT
Mark 16 in the DHNT
Mark 16 in the DNT
Mark 16 in the ELBE
Mark 16 in the EMTV
Mark 16 in the ESV
Mark 16 in the FBV
Mark 16 in the FEB
Mark 16 in the GGMNT
Mark 16 in the GNT
Mark 16 in the HARY
Mark 16 in the HNT
Mark 16 in the IRVA
Mark 16 in the IRVB
Mark 16 in the IRVG
Mark 16 in the IRVH
Mark 16 in the IRVK
Mark 16 in the IRVM
Mark 16 in the IRVM2
Mark 16 in the IRVO
Mark 16 in the IRVP
Mark 16 in the IRVT
Mark 16 in the IRVT2
Mark 16 in the IRVU
Mark 16 in the ISVN
Mark 16 in the JSNT
Mark 16 in the KAPI
Mark 16 in the KBT1ETNIK
Mark 16 in the KBV
Mark 16 in the KJV
Mark 16 in the KNFD
Mark 16 in the LBA
Mark 16 in the LBLA
Mark 16 in the LNT
Mark 16 in the LSV
Mark 16 in the MAAL
Mark 16 in the MBV
Mark 16 in the MBV2
Mark 16 in the MHNT
Mark 16 in the MKNFD
Mark 16 in the MNG
Mark 16 in the MNT
Mark 16 in the MNT2
Mark 16 in the MRS1T
Mark 16 in the NAA
Mark 16 in the NASB
Mark 16 in the NBLA
Mark 16 in the NBS
Mark 16 in the NBVTP
Mark 16 in the NET2
Mark 16 in the NIV11
Mark 16 in the NNT
Mark 16 in the NNT2
Mark 16 in the NNT3
Mark 16 in the PDDPT
Mark 16 in the PFNT
Mark 16 in the RMNT
Mark 16 in the SBIAS
Mark 16 in the SBIBS
Mark 16 in the SBIBS2
Mark 16 in the SBICS
Mark 16 in the SBIDS
Mark 16 in the SBIGS
Mark 16 in the SBIHS
Mark 16 in the SBIIS
Mark 16 in the SBIIS2
Mark 16 in the SBIIS3
Mark 16 in the SBIKS
Mark 16 in the SBIKS2
Mark 16 in the SBIMS
Mark 16 in the SBIOS
Mark 16 in the SBIPS
Mark 16 in the SBISS
Mark 16 in the SBITS
Mark 16 in the SBITS2
Mark 16 in the SBITS3
Mark 16 in the SBITS4
Mark 16 in the SBIUS
Mark 16 in the SBIVS
Mark 16 in the SBT
Mark 16 in the SBT1E
Mark 16 in the SCHL
Mark 16 in the SNT
Mark 16 in the SUSU
Mark 16 in the SUSU2
Mark 16 in the SYNO
Mark 16 in the TBIAOTANT
Mark 16 in the TBT1E
Mark 16 in the TBT1E2
Mark 16 in the TFTIP
Mark 16 in the TFTU
Mark 16 in the TGNTATF3T
Mark 16 in the THAI
Mark 16 in the TNFD
Mark 16 in the TNT
Mark 16 in the TNTIK
Mark 16 in the TNTIL
Mark 16 in the TNTIN
Mark 16 in the TNTIP
Mark 16 in the TNTIZ
Mark 16 in the TOMA
Mark 16 in the TTENT
Mark 16 in the UBG
Mark 16 in the UGV
Mark 16 in the UGV2
Mark 16 in the UGV3
Mark 16 in the VBL
Mark 16 in the VDCC
Mark 16 in the YALU
Mark 16 in the YAPE
Mark 16 in the YBVTP
Mark 16 in the ZBP