Numbers 18 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona. 2 Onooleetanga Abaleevi banno ab’omu kika kyo eky’obujjajja ne babeegattako, ggwe ne batabani bo, okubayambanga bwe munaabanga muweereza mu Weema ya MUKAMA ey’Endagaano. 3 Banaaweererezanga wansi wo nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema ya MUKAMA; naye beekuumenga balemenga okusemberera ekyoto wadde eby’omu watukuvu byonna; bwe balikikola, bo naawe mugenda kufa. 4 Bagenda kukwegattako, balabirirenga Weema ya MUKAMA ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema, era tewaabenga mugwira n’omu anaasemberanga we muli. 5 “Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri. 6 Kale weeteegereze: nziridde ab’omu lulyo lwo olw’Abaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ng’ekirabo ekiweereddwayo eri MUKAMA Katonda okukolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 7 Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.” 8 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Alooni nti, “Laba, Nze kennyini nkukwasizza ebiweebwayo byonna ebireetebwa gye ndi; ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga mbikuwadde ggwe ne batabani bo nga gwe mugabo gwammwe ogw’olubeerera. 9 Ku biweebwayo byonna ebitukuvu ennyo ebitayokeddwa mu muliro kunaabangako ebibyo. Omugabo gwo ne batabani bo gunaavanga ku birabo ebitukuvu ennyo abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga: ebiweebwayo eby’emmere y’empeke oba ebiweebwayo olw’ekibi, oba ebiweebwayo olw’omusango. 10 Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ng’ebyo bitukuvu nnyo. 11 “Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako. 12 “Nkuwadde ku mafuta ag’omuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere y’empeke embereberye bye baleetera MUKAMA eby’amakungula gaabwe. 13 Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga MUKAMA Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako. 14 “Buli kintu kyonna mu Isirayiri ekiweereddwayo ddala ne kiwongebwa eri MUKAMA kinaabanga kikyo. 15 Buli ekinaggulangawo enda y’omuntu oba ey’ekisolo, nga kyakuwaayo eri MUKAMA Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye ow’omuntu onoomununulanga, era n’embereberye ez’ensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga. 16 Ebyo eby’okununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogw’obukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. 17 “Naye embereberye ey’ente, oba embereberye ey’endiga oba ey’embuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n’oyokya amasavu gaazo mu muliro ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa MUKAMA Katonda. 18 Ennyama yaazo eneebanga yiyo ng’ekiweebwayo ky’ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe kiri ekikyo. 19 Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga MUKAMA, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogw’olubeerera. Eneebeeranga endagaano ey’omunnyo eya MUKAMA wakati we naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.” 20 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri. 21 “Ebitundu eby’ekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olw’omulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 22 Era okuva leero abaana ba Isirayiri tebaasembererenga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, si kulwa nga bakolerayo ebibi, ne bafa. 23 Abaleevi be banaakolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri. 24 Kubanga ebitundu eby’ekkumi abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga ng’ekiweebwayo eri MUKAMA, mbiwadde Abaleevi okubeera omugabo gwabwe. Noolwekyo tebaabenga na byabusika mu baana ba Isirayiri.” 25 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 26 “Yogera n’Abaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu eby’ekkumi, bye mbawadde ng’omugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu eky’ekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri MUKAMA Katonda. 27 Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ng’emmere y’empeke ey’omu gguuliro oba ng’omubisi ogw’omu ssogolero. 28 Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda nga mukiggya ku bitundu eby’ekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo eby’ekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya MUKAMA ne mukikwasa Alooni kabona. 29 Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri MUKAMA Katonda.’ 30 “Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ng’ebivudde mu gguuliro n’ebivudde mu ssogolero. 31 Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 32 Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu eby’abaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ”

In Other Versions

Numbers 18 in the ANGEFD

Numbers 18 in the ANTPNG2D

Numbers 18 in the AS21

Numbers 18 in the BAGH

Numbers 18 in the BBPNG

Numbers 18 in the BBT1E

Numbers 18 in the BDS

Numbers 18 in the BEV

Numbers 18 in the BHAD

Numbers 18 in the BIB

Numbers 18 in the BLPT

Numbers 18 in the BNT

Numbers 18 in the BNTABOOT

Numbers 18 in the BNTLV

Numbers 18 in the BOATCB

Numbers 18 in the BOATCB2

Numbers 18 in the BOBCV

Numbers 18 in the BOCNT

Numbers 18 in the BOECS

Numbers 18 in the BOGWICC

Numbers 18 in the BOHCB

Numbers 18 in the BOHCV

Numbers 18 in the BOHLNT

Numbers 18 in the BOHNTLTAL

Numbers 18 in the BOICB

Numbers 18 in the BOILNTAP

Numbers 18 in the BOITCV

Numbers 18 in the BOKCV

Numbers 18 in the BOKCV2

Numbers 18 in the BOKHWOG

Numbers 18 in the BOKSSV

Numbers 18 in the BOLCB2

Numbers 18 in the BOMCV

Numbers 18 in the BONAV

Numbers 18 in the BONCB

Numbers 18 in the BONLT

Numbers 18 in the BONUT2

Numbers 18 in the BOPLNT

Numbers 18 in the BOSCB

Numbers 18 in the BOSNC

Numbers 18 in the BOTLNT

Numbers 18 in the BOVCB

Numbers 18 in the BOYCB

Numbers 18 in the BPBB

Numbers 18 in the BPH

Numbers 18 in the BSB

Numbers 18 in the CCB

Numbers 18 in the CUV

Numbers 18 in the CUVS

Numbers 18 in the DBT

Numbers 18 in the DGDNT

Numbers 18 in the DHNT

Numbers 18 in the DNT

Numbers 18 in the ELBE

Numbers 18 in the EMTV

Numbers 18 in the ESV

Numbers 18 in the FBV

Numbers 18 in the FEB

Numbers 18 in the GGMNT

Numbers 18 in the GNT

Numbers 18 in the HARY

Numbers 18 in the HNT

Numbers 18 in the IRVA

Numbers 18 in the IRVB

Numbers 18 in the IRVG

Numbers 18 in the IRVH

Numbers 18 in the IRVK

Numbers 18 in the IRVM

Numbers 18 in the IRVM2

Numbers 18 in the IRVO

Numbers 18 in the IRVP

Numbers 18 in the IRVT

Numbers 18 in the IRVT2

Numbers 18 in the IRVU

Numbers 18 in the ISVN

Numbers 18 in the JSNT

Numbers 18 in the KAPI

Numbers 18 in the KBT1ETNIK

Numbers 18 in the KBV

Numbers 18 in the KJV

Numbers 18 in the KNFD

Numbers 18 in the LBA

Numbers 18 in the LBLA

Numbers 18 in the LNT

Numbers 18 in the LSV

Numbers 18 in the MAAL

Numbers 18 in the MBV

Numbers 18 in the MBV2

Numbers 18 in the MHNT

Numbers 18 in the MKNFD

Numbers 18 in the MNG

Numbers 18 in the MNT

Numbers 18 in the MNT2

Numbers 18 in the MRS1T

Numbers 18 in the NAA

Numbers 18 in the NASB

Numbers 18 in the NBLA

Numbers 18 in the NBS

Numbers 18 in the NBVTP

Numbers 18 in the NET2

Numbers 18 in the NIV11

Numbers 18 in the NNT

Numbers 18 in the NNT2

Numbers 18 in the NNT3

Numbers 18 in the PDDPT

Numbers 18 in the PFNT

Numbers 18 in the RMNT

Numbers 18 in the SBIAS

Numbers 18 in the SBIBS

Numbers 18 in the SBIBS2

Numbers 18 in the SBICS

Numbers 18 in the SBIDS

Numbers 18 in the SBIGS

Numbers 18 in the SBIHS

Numbers 18 in the SBIIS

Numbers 18 in the SBIIS2

Numbers 18 in the SBIIS3

Numbers 18 in the SBIKS

Numbers 18 in the SBIKS2

Numbers 18 in the SBIMS

Numbers 18 in the SBIOS

Numbers 18 in the SBIPS

Numbers 18 in the SBISS

Numbers 18 in the SBITS

Numbers 18 in the SBITS2

Numbers 18 in the SBITS3

Numbers 18 in the SBITS4

Numbers 18 in the SBIUS

Numbers 18 in the SBIVS

Numbers 18 in the SBT

Numbers 18 in the SBT1E

Numbers 18 in the SCHL

Numbers 18 in the SNT

Numbers 18 in the SUSU

Numbers 18 in the SUSU2

Numbers 18 in the SYNO

Numbers 18 in the TBIAOTANT

Numbers 18 in the TBT1E

Numbers 18 in the TBT1E2

Numbers 18 in the TFTIP

Numbers 18 in the TFTU

Numbers 18 in the TGNTATF3T

Numbers 18 in the THAI

Numbers 18 in the TNFD

Numbers 18 in the TNT

Numbers 18 in the TNTIK

Numbers 18 in the TNTIL

Numbers 18 in the TNTIN

Numbers 18 in the TNTIP

Numbers 18 in the TNTIZ

Numbers 18 in the TOMA

Numbers 18 in the TTENT

Numbers 18 in the UBG

Numbers 18 in the UGV

Numbers 18 in the UGV2

Numbers 18 in the UGV3

Numbers 18 in the VBL

Numbers 18 in the VDCC

Numbers 18 in the YALU

Numbers 18 in the YAPE

Numbers 18 in the YBVTP

Numbers 18 in the ZBP