Numbers 21 (BOLCB)

1 Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo. 2 Awo Isirayiri ne yeeyama eri MUKAMA Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.” 3 MUKAMA Katonda n’awulira okwegayirira kw’Abayisirayiri, Abakanani n’abawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma. 4 Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza. 5 Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.” 6 Awo MUKAMA n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa. 7 Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne MUKAMA Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire MUKAMA atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu. 8 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” 9 Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu. 10 Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo. 11 Ne basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 12 Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo. 13 Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli. 14 Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za MUKAMA Katonda, nti,“Zakabu ne Sufa,n’ebiwonvu bya Alunoni, 15 n’obuserengeto bw’ebiwonvuebituuka ku kibuga kya Ali,ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.” 16 Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi MUKAMA we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.” 17 Isirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti,“Weetale, ggwe Oluzzi!Muluyimbirire! 18 Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima,abakungu n’abantu lwe baayiikuula,abakungu, emiggo gyabwe.” 19 Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi. 20 Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu. 21 Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti, 22 “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.” 23 Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24 Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 25 Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. 26 Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni. 27 Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti,“Mujje e Kesuboni kizimbibwe;ekibuga kya Sikoni kizzibwewo. 28 “Omuliro gwafuluma mu Kesuboni,ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni.Gwayokya Ali ekya Mowaabu,n’abatuula mu nsozi za Alunoni. 29 Zikusanze, gwe Mowaabu!Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi!Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoline bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamune bawala be, ng’abawambe. 30 “Naye tubawanguddeKesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni.Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa,kwe kutuukira ddala ku Medeba.” 31 Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli. 32 Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu. 33 Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei. 34 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.” 35 Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu. Ensi ye ne bagirya.

In Other Versions

Numbers 21 in the ANGEFD

Numbers 21 in the ANTPNG2D

Numbers 21 in the AS21

Numbers 21 in the BAGH

Numbers 21 in the BBPNG

Numbers 21 in the BBT1E

Numbers 21 in the BDS

Numbers 21 in the BEV

Numbers 21 in the BHAD

Numbers 21 in the BIB

Numbers 21 in the BLPT

Numbers 21 in the BNT

Numbers 21 in the BNTABOOT

Numbers 21 in the BNTLV

Numbers 21 in the BOATCB

Numbers 21 in the BOATCB2

Numbers 21 in the BOBCV

Numbers 21 in the BOCNT

Numbers 21 in the BOECS

Numbers 21 in the BOGWICC

Numbers 21 in the BOHCB

Numbers 21 in the BOHCV

Numbers 21 in the BOHLNT

Numbers 21 in the BOHNTLTAL

Numbers 21 in the BOICB

Numbers 21 in the BOILNTAP

Numbers 21 in the BOITCV

Numbers 21 in the BOKCV

Numbers 21 in the BOKCV2

Numbers 21 in the BOKHWOG

Numbers 21 in the BOKSSV

Numbers 21 in the BOLCB2

Numbers 21 in the BOMCV

Numbers 21 in the BONAV

Numbers 21 in the BONCB

Numbers 21 in the BONLT

Numbers 21 in the BONUT2

Numbers 21 in the BOPLNT

Numbers 21 in the BOSCB

Numbers 21 in the BOSNC

Numbers 21 in the BOTLNT

Numbers 21 in the BOVCB

Numbers 21 in the BOYCB

Numbers 21 in the BPBB

Numbers 21 in the BPH

Numbers 21 in the BSB

Numbers 21 in the CCB

Numbers 21 in the CUV

Numbers 21 in the CUVS

Numbers 21 in the DBT

Numbers 21 in the DGDNT

Numbers 21 in the DHNT

Numbers 21 in the DNT

Numbers 21 in the ELBE

Numbers 21 in the EMTV

Numbers 21 in the ESV

Numbers 21 in the FBV

Numbers 21 in the FEB

Numbers 21 in the GGMNT

Numbers 21 in the GNT

Numbers 21 in the HARY

Numbers 21 in the HNT

Numbers 21 in the IRVA

Numbers 21 in the IRVB

Numbers 21 in the IRVG

Numbers 21 in the IRVH

Numbers 21 in the IRVK

Numbers 21 in the IRVM

Numbers 21 in the IRVM2

Numbers 21 in the IRVO

Numbers 21 in the IRVP

Numbers 21 in the IRVT

Numbers 21 in the IRVT2

Numbers 21 in the IRVU

Numbers 21 in the ISVN

Numbers 21 in the JSNT

Numbers 21 in the KAPI

Numbers 21 in the KBT1ETNIK

Numbers 21 in the KBV

Numbers 21 in the KJV

Numbers 21 in the KNFD

Numbers 21 in the LBA

Numbers 21 in the LBLA

Numbers 21 in the LNT

Numbers 21 in the LSV

Numbers 21 in the MAAL

Numbers 21 in the MBV

Numbers 21 in the MBV2

Numbers 21 in the MHNT

Numbers 21 in the MKNFD

Numbers 21 in the MNG

Numbers 21 in the MNT

Numbers 21 in the MNT2

Numbers 21 in the MRS1T

Numbers 21 in the NAA

Numbers 21 in the NASB

Numbers 21 in the NBLA

Numbers 21 in the NBS

Numbers 21 in the NBVTP

Numbers 21 in the NET2

Numbers 21 in the NIV11

Numbers 21 in the NNT

Numbers 21 in the NNT2

Numbers 21 in the NNT3

Numbers 21 in the PDDPT

Numbers 21 in the PFNT

Numbers 21 in the RMNT

Numbers 21 in the SBIAS

Numbers 21 in the SBIBS

Numbers 21 in the SBIBS2

Numbers 21 in the SBICS

Numbers 21 in the SBIDS

Numbers 21 in the SBIGS

Numbers 21 in the SBIHS

Numbers 21 in the SBIIS

Numbers 21 in the SBIIS2

Numbers 21 in the SBIIS3

Numbers 21 in the SBIKS

Numbers 21 in the SBIKS2

Numbers 21 in the SBIMS

Numbers 21 in the SBIOS

Numbers 21 in the SBIPS

Numbers 21 in the SBISS

Numbers 21 in the SBITS

Numbers 21 in the SBITS2

Numbers 21 in the SBITS3

Numbers 21 in the SBITS4

Numbers 21 in the SBIUS

Numbers 21 in the SBIVS

Numbers 21 in the SBT

Numbers 21 in the SBT1E

Numbers 21 in the SCHL

Numbers 21 in the SNT

Numbers 21 in the SUSU

Numbers 21 in the SUSU2

Numbers 21 in the SYNO

Numbers 21 in the TBIAOTANT

Numbers 21 in the TBT1E

Numbers 21 in the TBT1E2

Numbers 21 in the TFTIP

Numbers 21 in the TFTU

Numbers 21 in the TGNTATF3T

Numbers 21 in the THAI

Numbers 21 in the TNFD

Numbers 21 in the TNT

Numbers 21 in the TNTIK

Numbers 21 in the TNTIL

Numbers 21 in the TNTIN

Numbers 21 in the TNTIP

Numbers 21 in the TNTIZ

Numbers 21 in the TOMA

Numbers 21 in the TTENT

Numbers 21 in the UBG

Numbers 21 in the UGV

Numbers 21 in the UGV2

Numbers 21 in the UGV3

Numbers 21 in the VBL

Numbers 21 in the VDCC

Numbers 21 in the YALU

Numbers 21 in the YAPE

Numbers 21 in the YBVTP

Numbers 21 in the ZBP