Numbers 3 (BOLCB)

1 Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera MUKAMA mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi. 2 Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali. 3 Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona. 4 Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga MUKAMA ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu. 5 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 6 “Leeta ab’omu kika kya Leevi obakwase Alooni kabona bamuweerezenga. 7 Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya MUKAMA. 8 Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya MUKAMA nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri. 9 Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri. 10 Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.” 11 MUKAMA Katonda n’ayongera okugamba Musa nti, 12 “Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange, 13 kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze MUKAMA Katonda.” 14 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti, 15 “Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.” 16 Bw’atyo Musa n’ababala nga MUKAMA Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kyali. 17 Gano ge mannya ga batabani ba Leevi:Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali. 18 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali:Libuni ne Simeeyi. 19 Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali:Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri. 20 Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali:Makuli ne Musi.Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali. 21 Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni. 22 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500). 23 Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya MUKAMA. 24 Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri. 25 Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema, 26 n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo. 27 Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi. 28 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga (8,600).Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu. 29 Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya MUKAMA. 30 Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri. 31 Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo. 32 Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu. 33 Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali. 34 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200). 35 Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri;Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya MUKAMA. 36 Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya MUKAMA byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo. 37 Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa. 38 Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya MUKAMA, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya MUKAMA ey’Okukuŋŋaanirangamu.Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri.Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa. 39 Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000). 40 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna. 41 Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze MUKAMA Katonda.” 42 Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga MUKAMA Katonda bwe yamulagira. 43 Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu. 44 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 45 “Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze MUKAMA Katonda. 46 Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja, 47 onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. 48 Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.” 49 Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi. 50 Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri. 51 Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kyali, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa.

In Other Versions

Numbers 3 in the ANGEFD

Numbers 3 in the ANTPNG2D

Numbers 3 in the AS21

Numbers 3 in the BAGH

Numbers 3 in the BBPNG

Numbers 3 in the BBT1E

Numbers 3 in the BDS

Numbers 3 in the BEV

Numbers 3 in the BHAD

Numbers 3 in the BIB

Numbers 3 in the BLPT

Numbers 3 in the BNT

Numbers 3 in the BNTABOOT

Numbers 3 in the BNTLV

Numbers 3 in the BOATCB

Numbers 3 in the BOATCB2

Numbers 3 in the BOBCV

Numbers 3 in the BOCNT

Numbers 3 in the BOECS

Numbers 3 in the BOGWICC

Numbers 3 in the BOHCB

Numbers 3 in the BOHCV

Numbers 3 in the BOHLNT

Numbers 3 in the BOHNTLTAL

Numbers 3 in the BOICB

Numbers 3 in the BOILNTAP

Numbers 3 in the BOITCV

Numbers 3 in the BOKCV

Numbers 3 in the BOKCV2

Numbers 3 in the BOKHWOG

Numbers 3 in the BOKSSV

Numbers 3 in the BOLCB2

Numbers 3 in the BOMCV

Numbers 3 in the BONAV

Numbers 3 in the BONCB

Numbers 3 in the BONLT

Numbers 3 in the BONUT2

Numbers 3 in the BOPLNT

Numbers 3 in the BOSCB

Numbers 3 in the BOSNC

Numbers 3 in the BOTLNT

Numbers 3 in the BOVCB

Numbers 3 in the BOYCB

Numbers 3 in the BPBB

Numbers 3 in the BPH

Numbers 3 in the BSB

Numbers 3 in the CCB

Numbers 3 in the CUV

Numbers 3 in the CUVS

Numbers 3 in the DBT

Numbers 3 in the DGDNT

Numbers 3 in the DHNT

Numbers 3 in the DNT

Numbers 3 in the ELBE

Numbers 3 in the EMTV

Numbers 3 in the ESV

Numbers 3 in the FBV

Numbers 3 in the FEB

Numbers 3 in the GGMNT

Numbers 3 in the GNT

Numbers 3 in the HARY

Numbers 3 in the HNT

Numbers 3 in the IRVA

Numbers 3 in the IRVB

Numbers 3 in the IRVG

Numbers 3 in the IRVH

Numbers 3 in the IRVK

Numbers 3 in the IRVM

Numbers 3 in the IRVM2

Numbers 3 in the IRVO

Numbers 3 in the IRVP

Numbers 3 in the IRVT

Numbers 3 in the IRVT2

Numbers 3 in the IRVU

Numbers 3 in the ISVN

Numbers 3 in the JSNT

Numbers 3 in the KAPI

Numbers 3 in the KBT1ETNIK

Numbers 3 in the KBV

Numbers 3 in the KJV

Numbers 3 in the KNFD

Numbers 3 in the LBA

Numbers 3 in the LBLA

Numbers 3 in the LNT

Numbers 3 in the LSV

Numbers 3 in the MAAL

Numbers 3 in the MBV

Numbers 3 in the MBV2

Numbers 3 in the MHNT

Numbers 3 in the MKNFD

Numbers 3 in the MNG

Numbers 3 in the MNT

Numbers 3 in the MNT2

Numbers 3 in the MRS1T

Numbers 3 in the NAA

Numbers 3 in the NASB

Numbers 3 in the NBLA

Numbers 3 in the NBS

Numbers 3 in the NBVTP

Numbers 3 in the NET2

Numbers 3 in the NIV11

Numbers 3 in the NNT

Numbers 3 in the NNT2

Numbers 3 in the NNT3

Numbers 3 in the PDDPT

Numbers 3 in the PFNT

Numbers 3 in the RMNT

Numbers 3 in the SBIAS

Numbers 3 in the SBIBS

Numbers 3 in the SBIBS2

Numbers 3 in the SBICS

Numbers 3 in the SBIDS

Numbers 3 in the SBIGS

Numbers 3 in the SBIHS

Numbers 3 in the SBIIS

Numbers 3 in the SBIIS2

Numbers 3 in the SBIIS3

Numbers 3 in the SBIKS

Numbers 3 in the SBIKS2

Numbers 3 in the SBIMS

Numbers 3 in the SBIOS

Numbers 3 in the SBIPS

Numbers 3 in the SBISS

Numbers 3 in the SBITS

Numbers 3 in the SBITS2

Numbers 3 in the SBITS3

Numbers 3 in the SBITS4

Numbers 3 in the SBIUS

Numbers 3 in the SBIVS

Numbers 3 in the SBT

Numbers 3 in the SBT1E

Numbers 3 in the SCHL

Numbers 3 in the SNT

Numbers 3 in the SUSU

Numbers 3 in the SUSU2

Numbers 3 in the SYNO

Numbers 3 in the TBIAOTANT

Numbers 3 in the TBT1E

Numbers 3 in the TBT1E2

Numbers 3 in the TFTIP

Numbers 3 in the TFTU

Numbers 3 in the TGNTATF3T

Numbers 3 in the THAI

Numbers 3 in the TNFD

Numbers 3 in the TNT

Numbers 3 in the TNTIK

Numbers 3 in the TNTIL

Numbers 3 in the TNTIN

Numbers 3 in the TNTIP

Numbers 3 in the TNTIZ

Numbers 3 in the TOMA

Numbers 3 in the TTENT

Numbers 3 in the UBG

Numbers 3 in the UGV

Numbers 3 in the UGV2

Numbers 3 in the UGV3

Numbers 3 in the VBL

Numbers 3 in the VDCC

Numbers 3 in the YALU

Numbers 3 in the YAPE

Numbers 3 in the YBVTP

Numbers 3 in the ZBP