Proverbs 16 (BOLCB)
1 Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,Naye okuddamu kuva eri MUKAMA. 2 Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,naye MUKAMA y’apima ebigendererwa. 3 Emirimu gyo gyonna gikwasenga MUKAMA,naye anaatuukirizanga entegeka zo. 4 MUKAMA buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa,n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu. 5 Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri MUKAMA;weewaawo talirema kubonerezebwa. 6 Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa,n’okutya MUKAMA kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi. 7 Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa MUKAMA,aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe. 8 Akatono akafune mu butuukirivu,kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu. 9 Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,naye MUKAMA y’aluŋŋamya bw’anaatambula. 10 Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda,n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya. 11 Ebipimo ne minzaani ebituufu bya MUKAMA,ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola. 12 Kya muzizo bakabaka okukola ebibi,kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu. 13 Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira,era baagala oyo ayogera amazima. 14 Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa,omusajja ow’amagezi alibukkakkanya. 15 Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu;n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba mu biseera ebya ttoggo. 16 Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza! 17 Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi,n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye. 18 Amalala gakulembera okuzikirira,n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. 19 Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala. 20 Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,era alina omukisa oyo eyeesiga MUKAMA. 21 Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu,n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera. 22 Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina,naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa. 23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi,era akamwa ke kayigiriza abalala. 24 Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba. 25 Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,naye ku nkomerero limutuusa mu kufa. 26 Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi,kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola. 27 Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu,era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo. 28 Omuntu omubambaavu asiikuula entalo,n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago. 29 Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa wen’amutwala mu kkubo eritali ttuufu. 30 Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona,n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi. 31 Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu. 32 Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga. 33 Akalulu kayinza okukubibwa,naye okusalawo kwa byonna kuva eri MUKAMA.
In Other Versions
Proverbs 16 in the ANGEFD
Proverbs 16 in the ANTPNG2D
Proverbs 16 in the AS21
Proverbs 16 in the BAGH
Proverbs 16 in the BBPNG
Proverbs 16 in the BBT1E
Proverbs 16 in the BDS
Proverbs 16 in the BEV
Proverbs 16 in the BHAD
Proverbs 16 in the BIB
Proverbs 16 in the BLPT
Proverbs 16 in the BNT
Proverbs 16 in the BNTABOOT
Proverbs 16 in the BNTLV
Proverbs 16 in the BOATCB
Proverbs 16 in the BOATCB2
Proverbs 16 in the BOBCV
Proverbs 16 in the BOCNT
Proverbs 16 in the BOECS
Proverbs 16 in the BOGWICC
Proverbs 16 in the BOHCB
Proverbs 16 in the BOHCV
Proverbs 16 in the BOHLNT
Proverbs 16 in the BOHNTLTAL
Proverbs 16 in the BOICB
Proverbs 16 in the BOILNTAP
Proverbs 16 in the BOITCV
Proverbs 16 in the BOKCV
Proverbs 16 in the BOKCV2
Proverbs 16 in the BOKHWOG
Proverbs 16 in the BOKSSV
Proverbs 16 in the BOLCB2
Proverbs 16 in the BOMCV
Proverbs 16 in the BONAV
Proverbs 16 in the BONCB
Proverbs 16 in the BONLT
Proverbs 16 in the BONUT2
Proverbs 16 in the BOPLNT
Proverbs 16 in the BOSCB
Proverbs 16 in the BOSNC
Proverbs 16 in the BOTLNT
Proverbs 16 in the BOVCB
Proverbs 16 in the BOYCB
Proverbs 16 in the BPBB
Proverbs 16 in the BPH
Proverbs 16 in the BSB
Proverbs 16 in the CCB
Proverbs 16 in the CUV
Proverbs 16 in the CUVS
Proverbs 16 in the DBT
Proverbs 16 in the DGDNT
Proverbs 16 in the DHNT
Proverbs 16 in the DNT
Proverbs 16 in the ELBE
Proverbs 16 in the EMTV
Proverbs 16 in the ESV
Proverbs 16 in the FBV
Proverbs 16 in the FEB
Proverbs 16 in the GGMNT
Proverbs 16 in the GNT
Proverbs 16 in the HARY
Proverbs 16 in the HNT
Proverbs 16 in the IRVA
Proverbs 16 in the IRVB
Proverbs 16 in the IRVG
Proverbs 16 in the IRVH
Proverbs 16 in the IRVK
Proverbs 16 in the IRVM
Proverbs 16 in the IRVM2
Proverbs 16 in the IRVO
Proverbs 16 in the IRVP
Proverbs 16 in the IRVT
Proverbs 16 in the IRVT2
Proverbs 16 in the IRVU
Proverbs 16 in the ISVN
Proverbs 16 in the JSNT
Proverbs 16 in the KAPI
Proverbs 16 in the KBT1ETNIK
Proverbs 16 in the KBV
Proverbs 16 in the KJV
Proverbs 16 in the KNFD
Proverbs 16 in the LBA
Proverbs 16 in the LBLA
Proverbs 16 in the LNT
Proverbs 16 in the LSV
Proverbs 16 in the MAAL
Proverbs 16 in the MBV
Proverbs 16 in the MBV2
Proverbs 16 in the MHNT
Proverbs 16 in the MKNFD
Proverbs 16 in the MNG
Proverbs 16 in the MNT
Proverbs 16 in the MNT2
Proverbs 16 in the MRS1T
Proverbs 16 in the NAA
Proverbs 16 in the NASB
Proverbs 16 in the NBLA
Proverbs 16 in the NBS
Proverbs 16 in the NBVTP
Proverbs 16 in the NET2
Proverbs 16 in the NIV11
Proverbs 16 in the NNT
Proverbs 16 in the NNT2
Proverbs 16 in the NNT3
Proverbs 16 in the PDDPT
Proverbs 16 in the PFNT
Proverbs 16 in the RMNT
Proverbs 16 in the SBIAS
Proverbs 16 in the SBIBS
Proverbs 16 in the SBIBS2
Proverbs 16 in the SBICS
Proverbs 16 in the SBIDS
Proverbs 16 in the SBIGS
Proverbs 16 in the SBIHS
Proverbs 16 in the SBIIS
Proverbs 16 in the SBIIS2
Proverbs 16 in the SBIIS3
Proverbs 16 in the SBIKS
Proverbs 16 in the SBIKS2
Proverbs 16 in the SBIMS
Proverbs 16 in the SBIOS
Proverbs 16 in the SBIPS
Proverbs 16 in the SBISS
Proverbs 16 in the SBITS
Proverbs 16 in the SBITS2
Proverbs 16 in the SBITS3
Proverbs 16 in the SBITS4
Proverbs 16 in the SBIUS
Proverbs 16 in the SBIVS
Proverbs 16 in the SBT
Proverbs 16 in the SBT1E
Proverbs 16 in the SCHL
Proverbs 16 in the SNT
Proverbs 16 in the SUSU
Proverbs 16 in the SUSU2
Proverbs 16 in the SYNO
Proverbs 16 in the TBIAOTANT
Proverbs 16 in the TBT1E
Proverbs 16 in the TBT1E2
Proverbs 16 in the TFTIP
Proverbs 16 in the TFTU
Proverbs 16 in the TGNTATF3T
Proverbs 16 in the THAI
Proverbs 16 in the TNFD
Proverbs 16 in the TNT
Proverbs 16 in the TNTIK
Proverbs 16 in the TNTIL
Proverbs 16 in the TNTIN
Proverbs 16 in the TNTIP
Proverbs 16 in the TNTIZ
Proverbs 16 in the TOMA
Proverbs 16 in the TTENT
Proverbs 16 in the UBG
Proverbs 16 in the UGV
Proverbs 16 in the UGV2
Proverbs 16 in the UGV3
Proverbs 16 in the VBL
Proverbs 16 in the VDCC
Proverbs 16 in the YALU
Proverbs 16 in the YAPE
Proverbs 16 in the YBVTP
Proverbs 16 in the ZBP