Proverbs 31 (BOLCB)
1 Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza. 2 Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,ggwe mutabani w’obweyamo bwange. 3 Tomaliranga maanyi go ku bakazi,newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka. 4 Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,si kya bakabaka okunywanga omwenge,so si kya balangira okwegombanga omwenge, 5 si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa. 6 Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike. 7 Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,alemenga kujjukira nate buyinike bwe. 8 Yogereranga abo abatasobola kweyogerera,otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo. 9 Yogera olamulenga n’obwenkanya,olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu. 10 Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo. 11 Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa. 12 Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,obulamu bwe bwonna. 13 Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka. 14 Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala. 15 Agolokoka tebunnakya,n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola. 16 Alowooza ku nnimiro n’agigula;asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye. 17 Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye. 18 Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,era n’ettabaaza ye ekiro tezikira. 19 Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,engalo ze ne zikwata akati akalanga. 20 Ayanjululiza abaavu omukono gwe,n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu. 21 Mu biseera by’obutiti taba na kutya,kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala. 22 Yeekolera ebibikka obuliri bwe,era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu. 23 Bba amanyibbwa,y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu. 24 Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,n’aguza abasuubuzi enkoba. 25 Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,era tatya ebiro ebigenda okujja. 26 Ayogera n’amagezi,era ayigiriza ebyekisa. 27 Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,era talya mmere ya bugayaavu. 28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti, 29 “Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwanaye bonna ggwe obasinga.” 30 Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,naye omukazi atya MUKAMA anaatenderezebwanga. 31 Mumusasule empeera gy’akoleredde,n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.
In Other Versions
Proverbs 31 in the ANGEFD
Proverbs 31 in the ANTPNG2D
Proverbs 31 in the AS21
Proverbs 31 in the BAGH
Proverbs 31 in the BBPNG
Proverbs 31 in the BBT1E
Proverbs 31 in the BDS
Proverbs 31 in the BEV
Proverbs 31 in the BHAD
Proverbs 31 in the BIB
Proverbs 31 in the BLPT
Proverbs 31 in the BNT
Proverbs 31 in the BNTABOOT
Proverbs 31 in the BNTLV
Proverbs 31 in the BOATCB
Proverbs 31 in the BOATCB2
Proverbs 31 in the BOBCV
Proverbs 31 in the BOCNT
Proverbs 31 in the BOECS
Proverbs 31 in the BOGWICC
Proverbs 31 in the BOHCB
Proverbs 31 in the BOHCV
Proverbs 31 in the BOHLNT
Proverbs 31 in the BOHNTLTAL
Proverbs 31 in the BOICB
Proverbs 31 in the BOILNTAP
Proverbs 31 in the BOITCV
Proverbs 31 in the BOKCV
Proverbs 31 in the BOKCV2
Proverbs 31 in the BOKHWOG
Proverbs 31 in the BOKSSV
Proverbs 31 in the BOLCB2
Proverbs 31 in the BOMCV
Proverbs 31 in the BONAV
Proverbs 31 in the BONCB
Proverbs 31 in the BONLT
Proverbs 31 in the BONUT2
Proverbs 31 in the BOPLNT
Proverbs 31 in the BOSCB
Proverbs 31 in the BOSNC
Proverbs 31 in the BOTLNT
Proverbs 31 in the BOVCB
Proverbs 31 in the BOYCB
Proverbs 31 in the BPBB
Proverbs 31 in the BPH
Proverbs 31 in the BSB
Proverbs 31 in the CCB
Proverbs 31 in the CUV
Proverbs 31 in the CUVS
Proverbs 31 in the DBT
Proverbs 31 in the DGDNT
Proverbs 31 in the DHNT
Proverbs 31 in the DNT
Proverbs 31 in the ELBE
Proverbs 31 in the EMTV
Proverbs 31 in the ESV
Proverbs 31 in the FBV
Proverbs 31 in the FEB
Proverbs 31 in the GGMNT
Proverbs 31 in the GNT
Proverbs 31 in the HARY
Proverbs 31 in the HNT
Proverbs 31 in the IRVA
Proverbs 31 in the IRVB
Proverbs 31 in the IRVG
Proverbs 31 in the IRVH
Proverbs 31 in the IRVK
Proverbs 31 in the IRVM
Proverbs 31 in the IRVM2
Proverbs 31 in the IRVO
Proverbs 31 in the IRVP
Proverbs 31 in the IRVT
Proverbs 31 in the IRVT2
Proverbs 31 in the IRVU
Proverbs 31 in the ISVN
Proverbs 31 in the JSNT
Proverbs 31 in the KAPI
Proverbs 31 in the KBT1ETNIK
Proverbs 31 in the KBV
Proverbs 31 in the KJV
Proverbs 31 in the KNFD
Proverbs 31 in the LBA
Proverbs 31 in the LBLA
Proverbs 31 in the LNT
Proverbs 31 in the LSV
Proverbs 31 in the MAAL
Proverbs 31 in the MBV
Proverbs 31 in the MBV2
Proverbs 31 in the MHNT
Proverbs 31 in the MKNFD
Proverbs 31 in the MNG
Proverbs 31 in the MNT
Proverbs 31 in the MNT2
Proverbs 31 in the MRS1T
Proverbs 31 in the NAA
Proverbs 31 in the NASB
Proverbs 31 in the NBLA
Proverbs 31 in the NBS
Proverbs 31 in the NBVTP
Proverbs 31 in the NET2
Proverbs 31 in the NIV11
Proverbs 31 in the NNT
Proverbs 31 in the NNT2
Proverbs 31 in the NNT3
Proverbs 31 in the PDDPT
Proverbs 31 in the PFNT
Proverbs 31 in the RMNT
Proverbs 31 in the SBIAS
Proverbs 31 in the SBIBS
Proverbs 31 in the SBIBS2
Proverbs 31 in the SBICS
Proverbs 31 in the SBIDS
Proverbs 31 in the SBIGS
Proverbs 31 in the SBIHS
Proverbs 31 in the SBIIS
Proverbs 31 in the SBIIS2
Proverbs 31 in the SBIIS3
Proverbs 31 in the SBIKS
Proverbs 31 in the SBIKS2
Proverbs 31 in the SBIMS
Proverbs 31 in the SBIOS
Proverbs 31 in the SBIPS
Proverbs 31 in the SBISS
Proverbs 31 in the SBITS
Proverbs 31 in the SBITS2
Proverbs 31 in the SBITS3
Proverbs 31 in the SBITS4
Proverbs 31 in the SBIUS
Proverbs 31 in the SBIVS
Proverbs 31 in the SBT
Proverbs 31 in the SBT1E
Proverbs 31 in the SCHL
Proverbs 31 in the SNT
Proverbs 31 in the SUSU
Proverbs 31 in the SUSU2
Proverbs 31 in the SYNO
Proverbs 31 in the TBIAOTANT
Proverbs 31 in the TBT1E
Proverbs 31 in the TBT1E2
Proverbs 31 in the TFTIP
Proverbs 31 in the TFTU
Proverbs 31 in the TGNTATF3T
Proverbs 31 in the THAI
Proverbs 31 in the TNFD
Proverbs 31 in the TNT
Proverbs 31 in the TNTIK
Proverbs 31 in the TNTIL
Proverbs 31 in the TNTIN
Proverbs 31 in the TNTIP
Proverbs 31 in the TNTIZ
Proverbs 31 in the TOMA
Proverbs 31 in the TTENT
Proverbs 31 in the UBG
Proverbs 31 in the UGV
Proverbs 31 in the UGV2
Proverbs 31 in the UGV3
Proverbs 31 in the VBL
Proverbs 31 in the VDCC
Proverbs 31 in the YALU
Proverbs 31 in the YAPE
Proverbs 31 in the YBVTP
Proverbs 31 in the ZBP