Psalms 138 (BOLCB)
undefined Zabbuli Ya Dawudi. 1 Nnaakutenderezanga Ayi MUKAMA, n’omutima gwange gwonna;ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza. 2 Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,ne ntendereza erinnya lyoolw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;kubanga wagulumiza ekigambo kyon’erinnya lyo okusinga ebintu byonna. 3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange. 4 Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi MUKAMA,nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko. 5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi MUKAMA;kubanga ekitiibwa kya MUKAMA kinene. 6 Newaakubadde nga MUKAMA asukkulumye,naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala. 7 Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,naye ggwe okuuma obulamu bwange;ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya. 8 MUKAMA alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;kubanga okwagala kwo, Ayi MUKAMA, kubeerera emirembe gyonna.Tolekulira ebyo bye watonda.