Psalms 15 (BOLCB)
undefined Zabbuli ya Dawudi. 1 Ayi MUKAMA, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu? 2 Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,akola eby’obutuukirivu,era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe. 3 Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,era mikwano gye tagiyisa bubi,so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be. 4 Anyooma ababi,naye abatya MUKAMA abassaamu ekitiibwa.Atuukiriza ky’asuubizane bwe kiba nga kimulumya. 5 Bw’awola tasaba magoba;so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyoaliba munywevu emirembe gyonna.