Psalms 61 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. 1 Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;wulira okusaba kwange. 2 Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,omutima gwange nga gugenda gunafuwa.Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka. 3 Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe. 4 Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo. 5 Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo. 6 Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi, 7 alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga. 8 Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.