Psalms 70 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza. 1 Ayi Katonda oyanguwa okundokole.Ayi MUKAMA oyanguwe okumbeera. 2 Abo abannoonya okunzitabatabulwetabulwe;abo abannoonya okunzikiriza,bagobebwe nga baswadde. 3 Abagamba nti, “Kasonso,”badduke nga bajjudde ensonyi. 4 Naye bonna abakunoonyabasanyukenga bajagulizenga mu ggwe.Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,“Katonda agulumizibwenga!” 5 Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,Ayi MUKAMA, tolwa!