Zechariah 1 (BOLCB)
1 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti: 2 “MUKAMA yasunguwalira nnyo bajjajjammwe. 3 Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 4 Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera MUKAMA. 5 Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna? 6 Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘MUKAMA ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ” 7 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti. 8 Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu. 9 Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.” 10 Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi MUKAMA z’asindise okulawuna ensi.” 11 Ne ziddamu malayika wa MUKAMA eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.” 12 Awo malayika wa MUKAMA n’agamba nti, “Ayi MUKAMA ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?” 13 MUKAMA n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi. 14 Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi, 15 naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’ 16 “Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye. 17 “Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, MUKAMA Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era MUKAMA alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ” 18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana. 19 Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.” 20 Awo MUKAMA n’andaga abaweesi bana. 21 Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”
In Other Versions
Zechariah 1 in the ANGEFD
Zechariah 1 in the ANTPNG2D
Zechariah 1 in the AS21
Zechariah 1 in the BAGH
Zechariah 1 in the BBPNG
Zechariah 1 in the BBT1E
Zechariah 1 in the BDS
Zechariah 1 in the BEV
Zechariah 1 in the BHAD
Zechariah 1 in the BIB
Zechariah 1 in the BLPT
Zechariah 1 in the BNT
Zechariah 1 in the BNTABOOT
Zechariah 1 in the BNTLV
Zechariah 1 in the BOATCB
Zechariah 1 in the BOATCB2
Zechariah 1 in the BOBCV
Zechariah 1 in the BOCNT
Zechariah 1 in the BOECS
Zechariah 1 in the BOGWICC
Zechariah 1 in the BOHCB
Zechariah 1 in the BOHCV
Zechariah 1 in the BOHLNT
Zechariah 1 in the BOHNTLTAL
Zechariah 1 in the BOICB
Zechariah 1 in the BOILNTAP
Zechariah 1 in the BOITCV
Zechariah 1 in the BOKCV
Zechariah 1 in the BOKCV2
Zechariah 1 in the BOKHWOG
Zechariah 1 in the BOKSSV
Zechariah 1 in the BOLCB2
Zechariah 1 in the BOMCV
Zechariah 1 in the BONAV
Zechariah 1 in the BONCB
Zechariah 1 in the BONLT
Zechariah 1 in the BONUT2
Zechariah 1 in the BOPLNT
Zechariah 1 in the BOSCB
Zechariah 1 in the BOSNC
Zechariah 1 in the BOTLNT
Zechariah 1 in the BOVCB
Zechariah 1 in the BOYCB
Zechariah 1 in the BPBB
Zechariah 1 in the BPH
Zechariah 1 in the BSB
Zechariah 1 in the CCB
Zechariah 1 in the CUV
Zechariah 1 in the CUVS
Zechariah 1 in the DBT
Zechariah 1 in the DGDNT
Zechariah 1 in the DHNT
Zechariah 1 in the DNT
Zechariah 1 in the ELBE
Zechariah 1 in the EMTV
Zechariah 1 in the ESV
Zechariah 1 in the FBV
Zechariah 1 in the FEB
Zechariah 1 in the GGMNT
Zechariah 1 in the GNT
Zechariah 1 in the HARY
Zechariah 1 in the HNT
Zechariah 1 in the IRVA
Zechariah 1 in the IRVB
Zechariah 1 in the IRVG
Zechariah 1 in the IRVH
Zechariah 1 in the IRVK
Zechariah 1 in the IRVM
Zechariah 1 in the IRVM2
Zechariah 1 in the IRVO
Zechariah 1 in the IRVP
Zechariah 1 in the IRVT
Zechariah 1 in the IRVT2
Zechariah 1 in the IRVU
Zechariah 1 in the ISVN
Zechariah 1 in the JSNT
Zechariah 1 in the KAPI
Zechariah 1 in the KBT1ETNIK
Zechariah 1 in the KBV
Zechariah 1 in the KJV
Zechariah 1 in the KNFD
Zechariah 1 in the LBA
Zechariah 1 in the LBLA
Zechariah 1 in the LNT
Zechariah 1 in the LSV
Zechariah 1 in the MAAL
Zechariah 1 in the MBV
Zechariah 1 in the MBV2
Zechariah 1 in the MHNT
Zechariah 1 in the MKNFD
Zechariah 1 in the MNG
Zechariah 1 in the MNT
Zechariah 1 in the MNT2
Zechariah 1 in the MRS1T
Zechariah 1 in the NAA
Zechariah 1 in the NASB
Zechariah 1 in the NBLA
Zechariah 1 in the NBS
Zechariah 1 in the NBVTP
Zechariah 1 in the NET2
Zechariah 1 in the NIV11
Zechariah 1 in the NNT
Zechariah 1 in the NNT2
Zechariah 1 in the NNT3
Zechariah 1 in the PDDPT
Zechariah 1 in the PFNT
Zechariah 1 in the RMNT
Zechariah 1 in the SBIAS
Zechariah 1 in the SBIBS
Zechariah 1 in the SBIBS2
Zechariah 1 in the SBICS
Zechariah 1 in the SBIDS
Zechariah 1 in the SBIGS
Zechariah 1 in the SBIHS
Zechariah 1 in the SBIIS
Zechariah 1 in the SBIIS2
Zechariah 1 in the SBIIS3
Zechariah 1 in the SBIKS
Zechariah 1 in the SBIKS2
Zechariah 1 in the SBIMS
Zechariah 1 in the SBIOS
Zechariah 1 in the SBIPS
Zechariah 1 in the SBISS
Zechariah 1 in the SBITS
Zechariah 1 in the SBITS2
Zechariah 1 in the SBITS3
Zechariah 1 in the SBITS4
Zechariah 1 in the SBIUS
Zechariah 1 in the SBIVS
Zechariah 1 in the SBT
Zechariah 1 in the SBT1E
Zechariah 1 in the SCHL
Zechariah 1 in the SNT
Zechariah 1 in the SUSU
Zechariah 1 in the SUSU2
Zechariah 1 in the SYNO
Zechariah 1 in the TBIAOTANT
Zechariah 1 in the TBT1E
Zechariah 1 in the TBT1E2
Zechariah 1 in the TFTIP
Zechariah 1 in the TFTU
Zechariah 1 in the TGNTATF3T
Zechariah 1 in the THAI
Zechariah 1 in the TNFD
Zechariah 1 in the TNT
Zechariah 1 in the TNTIK
Zechariah 1 in the TNTIL
Zechariah 1 in the TNTIN
Zechariah 1 in the TNTIP
Zechariah 1 in the TNTIZ
Zechariah 1 in the TOMA
Zechariah 1 in the TTENT
Zechariah 1 in the UBG
Zechariah 1 in the UGV
Zechariah 1 in the UGV2
Zechariah 1 in the UGV3
Zechariah 1 in the VBL
Zechariah 1 in the VDCC
Zechariah 1 in the YALU
Zechariah 1 in the YAPE
Zechariah 1 in the YBVTP
Zechariah 1 in the ZBP