1 Chronicles 24 (BOLCB)

1 Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 2 Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona. 3 Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe. 4 Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba. 5 Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali. 6 Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali. 7 Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu,n’akokubiri ku Yedaya, 8 n’akokusatu ku Kalimu,n’akokuna ku Seyolimu, 9 n’akookutaano ku Malukiya,n’ak’omukaaga ku Miyamini, 10 n’ak’omusanvu ku Kakkozi,n’ak’omunaana ku Abiya, 11 n’ak’omwenda ku Yesuwa,n’ak’ekkumi ku Sekaniya, 12 n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu,n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu, 13 n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa,n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu, 14 ak’ekkumi noobutaano ku Biruga,n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri, 15 n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri,n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi, 16 n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya,n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri, 17 ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini,n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli, 18 n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya,n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya. 19 Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya MUKAMA, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga MUKAMA Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira. 20 Bazzukulu ba Leevi abalala baali: okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri;okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya. 21 Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda. 22 Ku Bayizukaali Seromosi,ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi. 23 Ku batabani ba Kebbulooni,Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna. 24 Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka;ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri. 25 Muganda wa Mikka ye yali Issiya,ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya. 26 Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno. 27 Batabani ba Merali,mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli. 28 Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi. 29 Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri. 30 Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi. Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 31 Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.

In Other Versions

1 Chronicles 24 in the ANGEFD

1 Chronicles 24 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 24 in the AS21

1 Chronicles 24 in the BAGH

1 Chronicles 24 in the BBPNG

1 Chronicles 24 in the BBT1E

1 Chronicles 24 in the BDS

1 Chronicles 24 in the BEV

1 Chronicles 24 in the BHAD

1 Chronicles 24 in the BIB

1 Chronicles 24 in the BLPT

1 Chronicles 24 in the BNT

1 Chronicles 24 in the BNTABOOT

1 Chronicles 24 in the BNTLV

1 Chronicles 24 in the BOATCB

1 Chronicles 24 in the BOATCB2

1 Chronicles 24 in the BOBCV

1 Chronicles 24 in the BOCNT

1 Chronicles 24 in the BOECS

1 Chronicles 24 in the BOGWICC

1 Chronicles 24 in the BOHCB

1 Chronicles 24 in the BOHCV

1 Chronicles 24 in the BOHLNT

1 Chronicles 24 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 24 in the BOICB

1 Chronicles 24 in the BOILNTAP

1 Chronicles 24 in the BOITCV

1 Chronicles 24 in the BOKCV

1 Chronicles 24 in the BOKCV2

1 Chronicles 24 in the BOKHWOG

1 Chronicles 24 in the BOKSSV

1 Chronicles 24 in the BOLCB2

1 Chronicles 24 in the BOMCV

1 Chronicles 24 in the BONAV

1 Chronicles 24 in the BONCB

1 Chronicles 24 in the BONLT

1 Chronicles 24 in the BONUT2

1 Chronicles 24 in the BOPLNT

1 Chronicles 24 in the BOSCB

1 Chronicles 24 in the BOSNC

1 Chronicles 24 in the BOTLNT

1 Chronicles 24 in the BOVCB

1 Chronicles 24 in the BOYCB

1 Chronicles 24 in the BPBB

1 Chronicles 24 in the BPH

1 Chronicles 24 in the BSB

1 Chronicles 24 in the CCB

1 Chronicles 24 in the CUV

1 Chronicles 24 in the CUVS

1 Chronicles 24 in the DBT

1 Chronicles 24 in the DGDNT

1 Chronicles 24 in the DHNT

1 Chronicles 24 in the DNT

1 Chronicles 24 in the ELBE

1 Chronicles 24 in the EMTV

1 Chronicles 24 in the ESV

1 Chronicles 24 in the FBV

1 Chronicles 24 in the FEB

1 Chronicles 24 in the GGMNT

1 Chronicles 24 in the GNT

1 Chronicles 24 in the HARY

1 Chronicles 24 in the HNT

1 Chronicles 24 in the IRVA

1 Chronicles 24 in the IRVB

1 Chronicles 24 in the IRVG

1 Chronicles 24 in the IRVH

1 Chronicles 24 in the IRVK

1 Chronicles 24 in the IRVM

1 Chronicles 24 in the IRVM2

1 Chronicles 24 in the IRVO

1 Chronicles 24 in the IRVP

1 Chronicles 24 in the IRVT

1 Chronicles 24 in the IRVT2

1 Chronicles 24 in the IRVU

1 Chronicles 24 in the ISVN

1 Chronicles 24 in the JSNT

1 Chronicles 24 in the KAPI

1 Chronicles 24 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 24 in the KBV

1 Chronicles 24 in the KJV

1 Chronicles 24 in the KNFD

1 Chronicles 24 in the LBA

1 Chronicles 24 in the LBLA

1 Chronicles 24 in the LNT

1 Chronicles 24 in the LSV

1 Chronicles 24 in the MAAL

1 Chronicles 24 in the MBV

1 Chronicles 24 in the MBV2

1 Chronicles 24 in the MHNT

1 Chronicles 24 in the MKNFD

1 Chronicles 24 in the MNG

1 Chronicles 24 in the MNT

1 Chronicles 24 in the MNT2

1 Chronicles 24 in the MRS1T

1 Chronicles 24 in the NAA

1 Chronicles 24 in the NASB

1 Chronicles 24 in the NBLA

1 Chronicles 24 in the NBS

1 Chronicles 24 in the NBVTP

1 Chronicles 24 in the NET2

1 Chronicles 24 in the NIV11

1 Chronicles 24 in the NNT

1 Chronicles 24 in the NNT2

1 Chronicles 24 in the NNT3

1 Chronicles 24 in the PDDPT

1 Chronicles 24 in the PFNT

1 Chronicles 24 in the RMNT

1 Chronicles 24 in the SBIAS

1 Chronicles 24 in the SBIBS

1 Chronicles 24 in the SBIBS2

1 Chronicles 24 in the SBICS

1 Chronicles 24 in the SBIDS

1 Chronicles 24 in the SBIGS

1 Chronicles 24 in the SBIHS

1 Chronicles 24 in the SBIIS

1 Chronicles 24 in the SBIIS2

1 Chronicles 24 in the SBIIS3

1 Chronicles 24 in the SBIKS

1 Chronicles 24 in the SBIKS2

1 Chronicles 24 in the SBIMS

1 Chronicles 24 in the SBIOS

1 Chronicles 24 in the SBIPS

1 Chronicles 24 in the SBISS

1 Chronicles 24 in the SBITS

1 Chronicles 24 in the SBITS2

1 Chronicles 24 in the SBITS3

1 Chronicles 24 in the SBITS4

1 Chronicles 24 in the SBIUS

1 Chronicles 24 in the SBIVS

1 Chronicles 24 in the SBT

1 Chronicles 24 in the SBT1E

1 Chronicles 24 in the SCHL

1 Chronicles 24 in the SNT

1 Chronicles 24 in the SUSU

1 Chronicles 24 in the SUSU2

1 Chronicles 24 in the SYNO

1 Chronicles 24 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 24 in the TBT1E

1 Chronicles 24 in the TBT1E2

1 Chronicles 24 in the TFTIP

1 Chronicles 24 in the TFTU

1 Chronicles 24 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 24 in the THAI

1 Chronicles 24 in the TNFD

1 Chronicles 24 in the TNT

1 Chronicles 24 in the TNTIK

1 Chronicles 24 in the TNTIL

1 Chronicles 24 in the TNTIN

1 Chronicles 24 in the TNTIP

1 Chronicles 24 in the TNTIZ

1 Chronicles 24 in the TOMA

1 Chronicles 24 in the TTENT

1 Chronicles 24 in the UBG

1 Chronicles 24 in the UGV

1 Chronicles 24 in the UGV2

1 Chronicles 24 in the UGV3

1 Chronicles 24 in the VBL

1 Chronicles 24 in the VDCC

1 Chronicles 24 in the YALU

1 Chronicles 24 in the YAPE

1 Chronicles 24 in the YBVTP

1 Chronicles 24 in the ZBP