1 Kings 5 (BOLCB)
1 Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi. 2 Sulemaani n’atumira Kiramu ng’ayogera nti, 3 “Omanyi nti, Olw’entalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya MUKAMA Katonda we yeekaalu, okutuusa MUKAMA lwe yamala okuteeka abalabe be wansi w’ebigere bye. 4 Naye kaakano MUKAMA Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi ak’engeri yonna. 5 Era, laba, nsuubira okuzimbira Erinnya lya MUKAMA Katonda wange yeekaalu, nga MUKAMA bwe yagamba Dawudi kitange, bwe yayogera nti, ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe ey’obwakabaka mu kifo kyo, yalizimbira Erinnya lyange yeekaalu.’ 6 “Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu n’abaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gy’olinsaba olw’abaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli n’omu alina magezi kutema miti okwenkana ab’e Sidoni.” 7 Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, n’asanyuka nnyo era n’ayogera nti, “MUKAMA yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.” 8 Awo Kiramu n’atumira Sulemaani ng’ayogera nti,“Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola by’oyagala byonna eby’emiti egy’emivule n’emiti egy’emiberosi. 9 Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ng’ebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo ky’olindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere ab’omu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.” 10 Awo Kiramu n’awa Sulemaani emiti gy’emivule n’emiti egy’emiberosi nga bwe yayagala, 11 ne Sulemaani n’amuwanga ebigero by’eŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina eby’emmere ey’ennyumba ye, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka. 12 MUKAMA n’awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, n’okulagaana ne balagaana endagaano bombi. 13 Kabaka Sulemaani n’akuŋŋaanya abakozi mu Isirayiri yonna, ne bawera abasajja emitwalo esatu. 14 N’abaweerezanga e Lebanooni mu mpalo; buli luwalo nga lumala omwezi gumu e Lebanooni n’emyezi ebiri ewaabwe, era Adoniraamu ye yabavunaanyizibwanga. 15 Sulemaani yalina abantu emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, n’emitwalo munaana abaatemanga amayinja ku nsozi, 16 ate n’abaami be enkumi ssatu mu bisatu abaalabiriranga omulimu n’okulagirira abakozi. 17 Kabaka n’alagira bateme amayinja amanene ddala nga bagaggya mu kirombe ky’amayinja ag’omuwendo, okuzimba emisingi gya yeekaalu n’amayinja amateme obulungi. 18 Abaweesi ba Sulemaani n’aba Kiramu, wamu n’abasajja ba Gebali ne balongoosa n’okutegeka ne bategeka emiti n’amayinja eby’okuzimba yeekaalu.
In Other Versions
1 Kings 5 in the ANGEFD
1 Kings 5 in the ANTPNG2D
1 Kings 5 in the AS21
1 Kings 5 in the BAGH
1 Kings 5 in the BBPNG
1 Kings 5 in the BBT1E
1 Kings 5 in the BDS
1 Kings 5 in the BEV
1 Kings 5 in the BHAD
1 Kings 5 in the BIB
1 Kings 5 in the BLPT
1 Kings 5 in the BNT
1 Kings 5 in the BNTABOOT
1 Kings 5 in the BNTLV
1 Kings 5 in the BOATCB
1 Kings 5 in the BOATCB2
1 Kings 5 in the BOBCV
1 Kings 5 in the BOCNT
1 Kings 5 in the BOECS
1 Kings 5 in the BOGWICC
1 Kings 5 in the BOHCB
1 Kings 5 in the BOHCV
1 Kings 5 in the BOHLNT
1 Kings 5 in the BOHNTLTAL
1 Kings 5 in the BOICB
1 Kings 5 in the BOILNTAP
1 Kings 5 in the BOITCV
1 Kings 5 in the BOKCV
1 Kings 5 in the BOKCV2
1 Kings 5 in the BOKHWOG
1 Kings 5 in the BOKSSV
1 Kings 5 in the BOLCB2
1 Kings 5 in the BOMCV
1 Kings 5 in the BONAV
1 Kings 5 in the BONCB
1 Kings 5 in the BONLT
1 Kings 5 in the BONUT2
1 Kings 5 in the BOPLNT
1 Kings 5 in the BOSCB
1 Kings 5 in the BOSNC
1 Kings 5 in the BOTLNT
1 Kings 5 in the BOVCB
1 Kings 5 in the BOYCB
1 Kings 5 in the BPBB
1 Kings 5 in the BPH
1 Kings 5 in the BSB
1 Kings 5 in the CCB
1 Kings 5 in the CUV
1 Kings 5 in the CUVS
1 Kings 5 in the DBT
1 Kings 5 in the DGDNT
1 Kings 5 in the DHNT
1 Kings 5 in the DNT
1 Kings 5 in the ELBE
1 Kings 5 in the EMTV
1 Kings 5 in the ESV
1 Kings 5 in the FBV
1 Kings 5 in the FEB
1 Kings 5 in the GGMNT
1 Kings 5 in the GNT
1 Kings 5 in the HARY
1 Kings 5 in the HNT
1 Kings 5 in the IRVA
1 Kings 5 in the IRVB
1 Kings 5 in the IRVG
1 Kings 5 in the IRVH
1 Kings 5 in the IRVK
1 Kings 5 in the IRVM
1 Kings 5 in the IRVM2
1 Kings 5 in the IRVO
1 Kings 5 in the IRVP
1 Kings 5 in the IRVT
1 Kings 5 in the IRVT2
1 Kings 5 in the IRVU
1 Kings 5 in the ISVN
1 Kings 5 in the JSNT
1 Kings 5 in the KAPI
1 Kings 5 in the KBT1ETNIK
1 Kings 5 in the KBV
1 Kings 5 in the KJV
1 Kings 5 in the KNFD
1 Kings 5 in the LBA
1 Kings 5 in the LBLA
1 Kings 5 in the LNT
1 Kings 5 in the LSV
1 Kings 5 in the MAAL
1 Kings 5 in the MBV
1 Kings 5 in the MBV2
1 Kings 5 in the MHNT
1 Kings 5 in the MKNFD
1 Kings 5 in the MNG
1 Kings 5 in the MNT
1 Kings 5 in the MNT2
1 Kings 5 in the MRS1T
1 Kings 5 in the NAA
1 Kings 5 in the NASB
1 Kings 5 in the NBLA
1 Kings 5 in the NBS
1 Kings 5 in the NBVTP
1 Kings 5 in the NET2
1 Kings 5 in the NIV11
1 Kings 5 in the NNT
1 Kings 5 in the NNT2
1 Kings 5 in the NNT3
1 Kings 5 in the PDDPT
1 Kings 5 in the PFNT
1 Kings 5 in the RMNT
1 Kings 5 in the SBIAS
1 Kings 5 in the SBIBS
1 Kings 5 in the SBIBS2
1 Kings 5 in the SBICS
1 Kings 5 in the SBIDS
1 Kings 5 in the SBIGS
1 Kings 5 in the SBIHS
1 Kings 5 in the SBIIS
1 Kings 5 in the SBIIS2
1 Kings 5 in the SBIIS3
1 Kings 5 in the SBIKS
1 Kings 5 in the SBIKS2
1 Kings 5 in the SBIMS
1 Kings 5 in the SBIOS
1 Kings 5 in the SBIPS
1 Kings 5 in the SBISS
1 Kings 5 in the SBITS
1 Kings 5 in the SBITS2
1 Kings 5 in the SBITS3
1 Kings 5 in the SBITS4
1 Kings 5 in the SBIUS
1 Kings 5 in the SBIVS
1 Kings 5 in the SBT
1 Kings 5 in the SBT1E
1 Kings 5 in the SCHL
1 Kings 5 in the SNT
1 Kings 5 in the SUSU
1 Kings 5 in the SUSU2
1 Kings 5 in the SYNO
1 Kings 5 in the TBIAOTANT
1 Kings 5 in the TBT1E
1 Kings 5 in the TBT1E2
1 Kings 5 in the TFTIP
1 Kings 5 in the TFTU
1 Kings 5 in the TGNTATF3T
1 Kings 5 in the THAI
1 Kings 5 in the TNFD
1 Kings 5 in the TNT
1 Kings 5 in the TNTIK
1 Kings 5 in the TNTIL
1 Kings 5 in the TNTIN
1 Kings 5 in the TNTIP
1 Kings 5 in the TNTIZ
1 Kings 5 in the TOMA
1 Kings 5 in the TTENT
1 Kings 5 in the UBG
1 Kings 5 in the UGV
1 Kings 5 in the UGV2
1 Kings 5 in the UGV3
1 Kings 5 in the VBL
1 Kings 5 in the VDCC
1 Kings 5 in the YALU
1 Kings 5 in the YAPE
1 Kings 5 in the YBVTP
1 Kings 5 in the ZBP