1 Samuel 18 (BOLCB)

1 Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. 2 Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. 3 Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. 4 Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi. 5 Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo. 6 Awo abasajja bwe baali nga bakomawo eka, Dawudi ng’amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isirayiri nga bayimba era nga bazina, okusisinkana kabaka Sawulo, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga balina ebitaasa n’entongooli. 7 Baazinanga ate nga bwe bayimba nti,“Sawulo asse enkumi zeDawudi n’atta emitwalo gye.” 8 Sawulo olwawulira ebigambo ebyo n’asunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. N’ayogera nti, “Dawudi bamuwaanye n’emitwalo, nze ne bampaana n’enkumi; kiki ky’ataafune bw’ataalye bwakabaka?” 9 Awo okuva mu kiseera ekyo Sawulo n’akwatirwa Dawudi obuggya. 10 Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze, 11 n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri. 12 Awo Sawulo n’atya Dawudi, kubanga MUKAMA yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo. 13 Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu. 14 Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga MUKAMA yali wamu naye. 15 Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya. 16 Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi. 17 Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za MUKAMA.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.” 18 Naye Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Nze ani, n’ennyumba ye waffe be baani, era n’ekika kya kitange kye kiki mu Isirayiri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?” 19 Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa. 20 Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira. 21 Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.” 22 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate n’abaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’ ” 23 Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.” 24 Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi. 25 Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’ ” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti. 26 Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n’asanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo, 27 Dawudi n’abasajja be ne bagenda ne batta Abafirisuuti ebikumi bibiri. N’aleeta ebikuta byabwe, n’awaayo omuwendo ogutuukiridde eri kabaka, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n’alyoka amuwa muwala we Mikali amuwase. 28 Naye Sawulo bwe yategeera nga MUKAMA ali wamu ne Dawudi, ate nga ne muwala we Mikali ayagala Dawudi, 29 Sawulo ne yeeyongera okumutya, era n’aba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo. 30 Abaduumizi b’Abafirisuuti ne beeyongera okubatabaalanga, era buli lwe baabalumbanga, Dawudi n’awangulanga okusinga n’Abaserikale ba Sawulo abalala bonna. Erinnya lya Dawudi ne lyatiikirira nnyo.

In Other Versions

1 Samuel 18 in the ANGEFD

1 Samuel 18 in the ANTPNG2D

1 Samuel 18 in the AS21

1 Samuel 18 in the BAGH

1 Samuel 18 in the BBPNG

1 Samuel 18 in the BBT1E

1 Samuel 18 in the BDS

1 Samuel 18 in the BEV

1 Samuel 18 in the BHAD

1 Samuel 18 in the BIB

1 Samuel 18 in the BLPT

1 Samuel 18 in the BNT

1 Samuel 18 in the BNTABOOT

1 Samuel 18 in the BNTLV

1 Samuel 18 in the BOATCB

1 Samuel 18 in the BOATCB2

1 Samuel 18 in the BOBCV

1 Samuel 18 in the BOCNT

1 Samuel 18 in the BOECS

1 Samuel 18 in the BOGWICC

1 Samuel 18 in the BOHCB

1 Samuel 18 in the BOHCV

1 Samuel 18 in the BOHLNT

1 Samuel 18 in the BOHNTLTAL

1 Samuel 18 in the BOICB

1 Samuel 18 in the BOILNTAP

1 Samuel 18 in the BOITCV

1 Samuel 18 in the BOKCV

1 Samuel 18 in the BOKCV2

1 Samuel 18 in the BOKHWOG

1 Samuel 18 in the BOKSSV

1 Samuel 18 in the BOLCB2

1 Samuel 18 in the BOMCV

1 Samuel 18 in the BONAV

1 Samuel 18 in the BONCB

1 Samuel 18 in the BONLT

1 Samuel 18 in the BONUT2

1 Samuel 18 in the BOPLNT

1 Samuel 18 in the BOSCB

1 Samuel 18 in the BOSNC

1 Samuel 18 in the BOTLNT

1 Samuel 18 in the BOVCB

1 Samuel 18 in the BOYCB

1 Samuel 18 in the BPBB

1 Samuel 18 in the BPH

1 Samuel 18 in the BSB

1 Samuel 18 in the CCB

1 Samuel 18 in the CUV

1 Samuel 18 in the CUVS

1 Samuel 18 in the DBT

1 Samuel 18 in the DGDNT

1 Samuel 18 in the DHNT

1 Samuel 18 in the DNT

1 Samuel 18 in the ELBE

1 Samuel 18 in the EMTV

1 Samuel 18 in the ESV

1 Samuel 18 in the FBV

1 Samuel 18 in the FEB

1 Samuel 18 in the GGMNT

1 Samuel 18 in the GNT

1 Samuel 18 in the HARY

1 Samuel 18 in the HNT

1 Samuel 18 in the IRVA

1 Samuel 18 in the IRVB

1 Samuel 18 in the IRVG

1 Samuel 18 in the IRVH

1 Samuel 18 in the IRVK

1 Samuel 18 in the IRVM

1 Samuel 18 in the IRVM2

1 Samuel 18 in the IRVO

1 Samuel 18 in the IRVP

1 Samuel 18 in the IRVT

1 Samuel 18 in the IRVT2

1 Samuel 18 in the IRVU

1 Samuel 18 in the ISVN

1 Samuel 18 in the JSNT

1 Samuel 18 in the KAPI

1 Samuel 18 in the KBT1ETNIK

1 Samuel 18 in the KBV

1 Samuel 18 in the KJV

1 Samuel 18 in the KNFD

1 Samuel 18 in the LBA

1 Samuel 18 in the LBLA

1 Samuel 18 in the LNT

1 Samuel 18 in the LSV

1 Samuel 18 in the MAAL

1 Samuel 18 in the MBV

1 Samuel 18 in the MBV2

1 Samuel 18 in the MHNT

1 Samuel 18 in the MKNFD

1 Samuel 18 in the MNG

1 Samuel 18 in the MNT

1 Samuel 18 in the MNT2

1 Samuel 18 in the MRS1T

1 Samuel 18 in the NAA

1 Samuel 18 in the NASB

1 Samuel 18 in the NBLA

1 Samuel 18 in the NBS

1 Samuel 18 in the NBVTP

1 Samuel 18 in the NET2

1 Samuel 18 in the NIV11

1 Samuel 18 in the NNT

1 Samuel 18 in the NNT2

1 Samuel 18 in the NNT3

1 Samuel 18 in the PDDPT

1 Samuel 18 in the PFNT

1 Samuel 18 in the RMNT

1 Samuel 18 in the SBIAS

1 Samuel 18 in the SBIBS

1 Samuel 18 in the SBIBS2

1 Samuel 18 in the SBICS

1 Samuel 18 in the SBIDS

1 Samuel 18 in the SBIGS

1 Samuel 18 in the SBIHS

1 Samuel 18 in the SBIIS

1 Samuel 18 in the SBIIS2

1 Samuel 18 in the SBIIS3

1 Samuel 18 in the SBIKS

1 Samuel 18 in the SBIKS2

1 Samuel 18 in the SBIMS

1 Samuel 18 in the SBIOS

1 Samuel 18 in the SBIPS

1 Samuel 18 in the SBISS

1 Samuel 18 in the SBITS

1 Samuel 18 in the SBITS2

1 Samuel 18 in the SBITS3

1 Samuel 18 in the SBITS4

1 Samuel 18 in the SBIUS

1 Samuel 18 in the SBIVS

1 Samuel 18 in the SBT

1 Samuel 18 in the SBT1E

1 Samuel 18 in the SCHL

1 Samuel 18 in the SNT

1 Samuel 18 in the SUSU

1 Samuel 18 in the SUSU2

1 Samuel 18 in the SYNO

1 Samuel 18 in the TBIAOTANT

1 Samuel 18 in the TBT1E

1 Samuel 18 in the TBT1E2

1 Samuel 18 in the TFTIP

1 Samuel 18 in the TFTU

1 Samuel 18 in the TGNTATF3T

1 Samuel 18 in the THAI

1 Samuel 18 in the TNFD

1 Samuel 18 in the TNT

1 Samuel 18 in the TNTIK

1 Samuel 18 in the TNTIL

1 Samuel 18 in the TNTIN

1 Samuel 18 in the TNTIP

1 Samuel 18 in the TNTIZ

1 Samuel 18 in the TOMA

1 Samuel 18 in the TTENT

1 Samuel 18 in the UBG

1 Samuel 18 in the UGV

1 Samuel 18 in the UGV2

1 Samuel 18 in the UGV3

1 Samuel 18 in the VBL

1 Samuel 18 in the VDCC

1 Samuel 18 in the YALU

1 Samuel 18 in the YAPE

1 Samuel 18 in the YBVTP

1 Samuel 18 in the ZBP