1 Thessalonians 4 (BOLCB)
1 Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. 2 Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu. 3 Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, 4 buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, 5 so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. 6 Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. 7 Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. 8 Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu. 9 Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. 10 Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. 11 Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, 12 mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga. 13 Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. 14 Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. 15 Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 16 Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 17 naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18 Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.
In Other Versions
1 Thessalonians 4 in the ANGEFD
1 Thessalonians 4 in the ANTPNG2D
1 Thessalonians 4 in the BBPNG
1 Thessalonians 4 in the BBT1E
1 Thessalonians 4 in the BNTABOOT
1 Thessalonians 4 in the BNTLV
1 Thessalonians 4 in the BOATCB
1 Thessalonians 4 in the BOATCB2
1 Thessalonians 4 in the BOBCV
1 Thessalonians 4 in the BOCNT
1 Thessalonians 4 in the BOECS
1 Thessalonians 4 in the BOGWICC
1 Thessalonians 4 in the BOHCB
1 Thessalonians 4 in the BOHCV
1 Thessalonians 4 in the BOHLNT
1 Thessalonians 4 in the BOHNTLTAL
1 Thessalonians 4 in the BOICB
1 Thessalonians 4 in the BOILNTAP
1 Thessalonians 4 in the BOITCV
1 Thessalonians 4 in the BOKCV
1 Thessalonians 4 in the BOKCV2
1 Thessalonians 4 in the BOKHWOG
1 Thessalonians 4 in the BOKSSV
1 Thessalonians 4 in the BOLCB2
1 Thessalonians 4 in the BOMCV
1 Thessalonians 4 in the BONAV
1 Thessalonians 4 in the BONCB
1 Thessalonians 4 in the BONLT
1 Thessalonians 4 in the BONUT2
1 Thessalonians 4 in the BOPLNT
1 Thessalonians 4 in the BOSCB
1 Thessalonians 4 in the BOSNC
1 Thessalonians 4 in the BOTLNT
1 Thessalonians 4 in the BOVCB
1 Thessalonians 4 in the BOYCB
1 Thessalonians 4 in the DGDNT
1 Thessalonians 4 in the GGMNT
1 Thessalonians 4 in the IRVM2
1 Thessalonians 4 in the IRVT2
1 Thessalonians 4 in the KBT1ETNIK
1 Thessalonians 4 in the MKNFD
1 Thessalonians 4 in the MRS1T
1 Thessalonians 4 in the NBVTP
1 Thessalonians 4 in the NIV11
1 Thessalonians 4 in the PDDPT
1 Thessalonians 4 in the SBIAS
1 Thessalonians 4 in the SBIBS
1 Thessalonians 4 in the SBIBS2
1 Thessalonians 4 in the SBICS
1 Thessalonians 4 in the SBIDS
1 Thessalonians 4 in the SBIGS
1 Thessalonians 4 in the SBIHS
1 Thessalonians 4 in the SBIIS
1 Thessalonians 4 in the SBIIS2
1 Thessalonians 4 in the SBIIS3
1 Thessalonians 4 in the SBIKS
1 Thessalonians 4 in the SBIKS2
1 Thessalonians 4 in the SBIMS
1 Thessalonians 4 in the SBIOS
1 Thessalonians 4 in the SBIPS
1 Thessalonians 4 in the SBISS
1 Thessalonians 4 in the SBITS
1 Thessalonians 4 in the SBITS2
1 Thessalonians 4 in the SBITS3
1 Thessalonians 4 in the SBITS4
1 Thessalonians 4 in the SBIUS
1 Thessalonians 4 in the SBIVS
1 Thessalonians 4 in the SBT1E
1 Thessalonians 4 in the SUSU2
1 Thessalonians 4 in the TBIAOTANT
1 Thessalonians 4 in the TBT1E
1 Thessalonians 4 in the TBT1E2
1 Thessalonians 4 in the TFTIP
1 Thessalonians 4 in the TGNTATF3T
1 Thessalonians 4 in the TNTIK
1 Thessalonians 4 in the TNTIL
1 Thessalonians 4 in the TNTIN
1 Thessalonians 4 in the TNTIP
1 Thessalonians 4 in the TNTIZ
1 Thessalonians 4 in the TTENT