2 Chronicles 26 (BOLCB)

1 Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya. 2 N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa. 3 Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. 4 N’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola. 5 N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya MUKAMA, Katonda n’amuwa omukisa. 6 N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti. 7 Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu. 8 Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo. 9 Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe. 10 Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima. 11 Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka. 12 Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). 13 Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka. 14 Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo. 15 N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo. 16 Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri MUKAMA Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya MUKAMA okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. 17 Azaliya kabona ne bakabona ba MUKAMA abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali, 18 ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza MUKAMA obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa MUKAMA Katonda.” 19 Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya MUKAMA, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. 20 Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga MUKAMA yali amukubye omuggo. 21 Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya MUKAMA. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga. 22 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi. 23 Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.

In Other Versions

2 Chronicles 26 in the ANGEFD

2 Chronicles 26 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 26 in the AS21

2 Chronicles 26 in the BAGH

2 Chronicles 26 in the BBPNG

2 Chronicles 26 in the BBT1E

2 Chronicles 26 in the BDS

2 Chronicles 26 in the BEV

2 Chronicles 26 in the BHAD

2 Chronicles 26 in the BIB

2 Chronicles 26 in the BLPT

2 Chronicles 26 in the BNT

2 Chronicles 26 in the BNTABOOT

2 Chronicles 26 in the BNTLV

2 Chronicles 26 in the BOATCB

2 Chronicles 26 in the BOATCB2

2 Chronicles 26 in the BOBCV

2 Chronicles 26 in the BOCNT

2 Chronicles 26 in the BOECS

2 Chronicles 26 in the BOGWICC

2 Chronicles 26 in the BOHCB

2 Chronicles 26 in the BOHCV

2 Chronicles 26 in the BOHLNT

2 Chronicles 26 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 26 in the BOICB

2 Chronicles 26 in the BOILNTAP

2 Chronicles 26 in the BOITCV

2 Chronicles 26 in the BOKCV

2 Chronicles 26 in the BOKCV2

2 Chronicles 26 in the BOKHWOG

2 Chronicles 26 in the BOKSSV

2 Chronicles 26 in the BOLCB2

2 Chronicles 26 in the BOMCV

2 Chronicles 26 in the BONAV

2 Chronicles 26 in the BONCB

2 Chronicles 26 in the BONLT

2 Chronicles 26 in the BONUT2

2 Chronicles 26 in the BOPLNT

2 Chronicles 26 in the BOSCB

2 Chronicles 26 in the BOSNC

2 Chronicles 26 in the BOTLNT

2 Chronicles 26 in the BOVCB

2 Chronicles 26 in the BOYCB

2 Chronicles 26 in the BPBB

2 Chronicles 26 in the BPH

2 Chronicles 26 in the BSB

2 Chronicles 26 in the CCB

2 Chronicles 26 in the CUV

2 Chronicles 26 in the CUVS

2 Chronicles 26 in the DBT

2 Chronicles 26 in the DGDNT

2 Chronicles 26 in the DHNT

2 Chronicles 26 in the DNT

2 Chronicles 26 in the ELBE

2 Chronicles 26 in the EMTV

2 Chronicles 26 in the ESV

2 Chronicles 26 in the FBV

2 Chronicles 26 in the FEB

2 Chronicles 26 in the GGMNT

2 Chronicles 26 in the GNT

2 Chronicles 26 in the HARY

2 Chronicles 26 in the HNT

2 Chronicles 26 in the IRVA

2 Chronicles 26 in the IRVB

2 Chronicles 26 in the IRVG

2 Chronicles 26 in the IRVH

2 Chronicles 26 in the IRVK

2 Chronicles 26 in the IRVM

2 Chronicles 26 in the IRVM2

2 Chronicles 26 in the IRVO

2 Chronicles 26 in the IRVP

2 Chronicles 26 in the IRVT

2 Chronicles 26 in the IRVT2

2 Chronicles 26 in the IRVU

2 Chronicles 26 in the ISVN

2 Chronicles 26 in the JSNT

2 Chronicles 26 in the KAPI

2 Chronicles 26 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 26 in the KBV

2 Chronicles 26 in the KJV

2 Chronicles 26 in the KNFD

2 Chronicles 26 in the LBA

2 Chronicles 26 in the LBLA

2 Chronicles 26 in the LNT

2 Chronicles 26 in the LSV

2 Chronicles 26 in the MAAL

2 Chronicles 26 in the MBV

2 Chronicles 26 in the MBV2

2 Chronicles 26 in the MHNT

2 Chronicles 26 in the MKNFD

2 Chronicles 26 in the MNG

2 Chronicles 26 in the MNT

2 Chronicles 26 in the MNT2

2 Chronicles 26 in the MRS1T

2 Chronicles 26 in the NAA

2 Chronicles 26 in the NASB

2 Chronicles 26 in the NBLA

2 Chronicles 26 in the NBS

2 Chronicles 26 in the NBVTP

2 Chronicles 26 in the NET2

2 Chronicles 26 in the NIV11

2 Chronicles 26 in the NNT

2 Chronicles 26 in the NNT2

2 Chronicles 26 in the NNT3

2 Chronicles 26 in the PDDPT

2 Chronicles 26 in the PFNT

2 Chronicles 26 in the RMNT

2 Chronicles 26 in the SBIAS

2 Chronicles 26 in the SBIBS

2 Chronicles 26 in the SBIBS2

2 Chronicles 26 in the SBICS

2 Chronicles 26 in the SBIDS

2 Chronicles 26 in the SBIGS

2 Chronicles 26 in the SBIHS

2 Chronicles 26 in the SBIIS

2 Chronicles 26 in the SBIIS2

2 Chronicles 26 in the SBIIS3

2 Chronicles 26 in the SBIKS

2 Chronicles 26 in the SBIKS2

2 Chronicles 26 in the SBIMS

2 Chronicles 26 in the SBIOS

2 Chronicles 26 in the SBIPS

2 Chronicles 26 in the SBISS

2 Chronicles 26 in the SBITS

2 Chronicles 26 in the SBITS2

2 Chronicles 26 in the SBITS3

2 Chronicles 26 in the SBITS4

2 Chronicles 26 in the SBIUS

2 Chronicles 26 in the SBIVS

2 Chronicles 26 in the SBT

2 Chronicles 26 in the SBT1E

2 Chronicles 26 in the SCHL

2 Chronicles 26 in the SNT

2 Chronicles 26 in the SUSU

2 Chronicles 26 in the SUSU2

2 Chronicles 26 in the SYNO

2 Chronicles 26 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 26 in the TBT1E

2 Chronicles 26 in the TBT1E2

2 Chronicles 26 in the TFTIP

2 Chronicles 26 in the TFTU

2 Chronicles 26 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 26 in the THAI

2 Chronicles 26 in the TNFD

2 Chronicles 26 in the TNT

2 Chronicles 26 in the TNTIK

2 Chronicles 26 in the TNTIL

2 Chronicles 26 in the TNTIN

2 Chronicles 26 in the TNTIP

2 Chronicles 26 in the TNTIZ

2 Chronicles 26 in the TOMA

2 Chronicles 26 in the TTENT

2 Chronicles 26 in the UBG

2 Chronicles 26 in the UGV

2 Chronicles 26 in the UGV2

2 Chronicles 26 in the UGV3

2 Chronicles 26 in the VBL

2 Chronicles 26 in the VDCC

2 Chronicles 26 in the YALU

2 Chronicles 26 in the YAPE

2 Chronicles 26 in the YBVTP

2 Chronicles 26 in the ZBP