2 Chronicles 29 (BOLCB)

1 Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya. 2 Keezeekiya n’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 3 Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogw’olubereberye, n’aggulawo enzigi za yeekaalu ya MUKAMA, n’aziddaabiriza. 4 N’ayingiza bakabona n’Abaleevi, n’abakuŋŋaanyiza mu luggya olugazi ku luuyi olw’ebuvanjuba, 5 n’abagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya MUKAMA Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu. 6 Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga MUKAMA Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo MUKAMA gy’abeera, ne bamukuba amabega. 7 Baggalawo n’enzigi ez’ekisasi ne bazikiza n’ettabaaza, so tebootereza bubaane wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu watukuvu eri Katonda wa Isirayiri. 8 Obusungu bwa MUKAMA kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, n’ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n’amaaso gammwe. 9 Bajjajjaffe kyebaava bagwa n’ekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe. 10 Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne MUKAMA, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko. 11 Batabani bange temuddangayo kulagajjala nate, kubanga MUKAMA abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, n’okumwoterezanga obubaane.” 12 Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali: Makasi mutabani wa Amasayi,ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’omu lulyo lwa Bakokasi,ne Kiisi mutabani wa Abudi,ne Azaliya mutabani wa Yekalereri ab’omu lulyo lwa Merali,ne Yowa mutabani wa Zimma,ne Adeni mutabani wa Yowa ab’omu lulyo lwa Bagerusoni, 13 ne Simuli ne Yeyeribazzukulu ba Erizafani,ne Zekkaliya ne Mattaniya,bazzukulu ba Asafu, 14 ne Yekweri ne Simeeyi,bazzukulu ba Kemani,ne Semaaya ne Wuziyeeribazzukulu ba Yedusuni. 15 Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, n’oluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekaalu ya MUKAMA nga kabaka bwe yali alagidde, ng’agoberera ebigambo bya MUKAMA. 16 Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa MUKAMA ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya MUKAMA ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya MUKAMA, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni. 17 Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye; ku lunaku olw’omunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya MUKAMA. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya MUKAMA; ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza. 18 Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya MUKAMA yonna, ekyoto eky’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakwo byonna, n’emmeeza ey’emigaati egy’okulaga n’ebintu byakwo byonna. 19 N’ebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olw’obutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso g’ekyoto kya MUKAMA.” 20 Awo bwe bwakya, enkeera kabaka Keezeekiya n’akuŋŋaanya abakungu ab’omu kibuga, ne balaga mu yeekaalu ya MUKAMA. 21 Ne baleeta ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, n’endiga ento nga nnume musanvu, n’embuzi ennume musanvu okuba ebiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ne ku lwa watukuvu, ne ku lwa Yuda. N’alyoka alagira bakabona, bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya MUKAMA. 22 Awo ne batta ente ennume, bakabona ne baddira omusaayi ne bagumansira ku kyoto, oluvannyuma ne batta endiga ennume ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto, n’oluvannyuma ne batta n’endiga ento ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto. 23 Embuzi ennume ezaali ez’ekiweebwayo ku lw’ekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka n’ekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe, 24 n’oluvannyuma bakabona ne bazitta, ne bawaayo omusaayi gwazo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ku kyoto, okutangiririra Isirayiri yenna, kubanga kabaka yali alagidde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna. 25 N’ateeka Abaleevi mu yeekaalu ya MUKAMA nga balina ebitaasa, entongooli, n’ennanga, ng’ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Nasani nnabbi bwe kyali; kubanga ekiragiro ekyo kyava eri MUKAMA ng’ayita mu bannabbi be. 26 Awo Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga bakutte amakondeere. 27 Keezeekiya n’alagira okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo ne batandika okuyimbira MUKAMA, n’amakondeere n’ebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga. 28 Ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n’abamakondeere ne bagafuuwa, era ebyo byonna ne byongerwa okukolebwa okutuusa okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwaggwa. 29 Awo okuwaayo ebiweebwayo bwe kwaggwa, kabaka n’abo bonna abaaliwo ne bavuunama ne basinza. 30 Kabaka Keezeekiya n’abakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza MUKAMA mu bigambo bya Dawudi n’ebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza n’essanyu, ne bavuunama ne basinza. 31 Awo Keezeekiya n’ayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri MUKAMA, musembere, muleete ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya MUKAMA.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, n’abo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa. 32 Omuwendo gw’ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina gwe kyaleeta gwali ente ennume nsanvu, n’endiga ennume kikumi, n’endiga ento nga nnume ebikumi bibiri, ng’ebyo byonna bye byali ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA. 33 N’ensolo ezatukuzibwa okuba ssaddaaka zaali ente ennume lukaaga, n’endiga enkumi ssatu. 34 Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona. 35 Ebiweebwayo ebyokebwa bingi, wamu n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebyawerekerezebwa ku biweebwayo ebyokebwa.Okuweereza mu yeekaalu ya MUKAMA ne kuzzibwawo. 36 Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza olw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.

In Other Versions

2 Chronicles 29 in the ANGEFD

2 Chronicles 29 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 29 in the AS21

2 Chronicles 29 in the BAGH

2 Chronicles 29 in the BBPNG

2 Chronicles 29 in the BBT1E

2 Chronicles 29 in the BDS

2 Chronicles 29 in the BEV

2 Chronicles 29 in the BHAD

2 Chronicles 29 in the BIB

2 Chronicles 29 in the BLPT

2 Chronicles 29 in the BNT

2 Chronicles 29 in the BNTABOOT

2 Chronicles 29 in the BNTLV

2 Chronicles 29 in the BOATCB

2 Chronicles 29 in the BOATCB2

2 Chronicles 29 in the BOBCV

2 Chronicles 29 in the BOCNT

2 Chronicles 29 in the BOECS

2 Chronicles 29 in the BOGWICC

2 Chronicles 29 in the BOHCB

2 Chronicles 29 in the BOHCV

2 Chronicles 29 in the BOHLNT

2 Chronicles 29 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 29 in the BOICB

2 Chronicles 29 in the BOILNTAP

2 Chronicles 29 in the BOITCV

2 Chronicles 29 in the BOKCV

2 Chronicles 29 in the BOKCV2

2 Chronicles 29 in the BOKHWOG

2 Chronicles 29 in the BOKSSV

2 Chronicles 29 in the BOLCB2

2 Chronicles 29 in the BOMCV

2 Chronicles 29 in the BONAV

2 Chronicles 29 in the BONCB

2 Chronicles 29 in the BONLT

2 Chronicles 29 in the BONUT2

2 Chronicles 29 in the BOPLNT

2 Chronicles 29 in the BOSCB

2 Chronicles 29 in the BOSNC

2 Chronicles 29 in the BOTLNT

2 Chronicles 29 in the BOVCB

2 Chronicles 29 in the BOYCB

2 Chronicles 29 in the BPBB

2 Chronicles 29 in the BPH

2 Chronicles 29 in the BSB

2 Chronicles 29 in the CCB

2 Chronicles 29 in the CUV

2 Chronicles 29 in the CUVS

2 Chronicles 29 in the DBT

2 Chronicles 29 in the DGDNT

2 Chronicles 29 in the DHNT

2 Chronicles 29 in the DNT

2 Chronicles 29 in the ELBE

2 Chronicles 29 in the EMTV

2 Chronicles 29 in the ESV

2 Chronicles 29 in the FBV

2 Chronicles 29 in the FEB

2 Chronicles 29 in the GGMNT

2 Chronicles 29 in the GNT

2 Chronicles 29 in the HARY

2 Chronicles 29 in the HNT

2 Chronicles 29 in the IRVA

2 Chronicles 29 in the IRVB

2 Chronicles 29 in the IRVG

2 Chronicles 29 in the IRVH

2 Chronicles 29 in the IRVK

2 Chronicles 29 in the IRVM

2 Chronicles 29 in the IRVM2

2 Chronicles 29 in the IRVO

2 Chronicles 29 in the IRVP

2 Chronicles 29 in the IRVT

2 Chronicles 29 in the IRVT2

2 Chronicles 29 in the IRVU

2 Chronicles 29 in the ISVN

2 Chronicles 29 in the JSNT

2 Chronicles 29 in the KAPI

2 Chronicles 29 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 29 in the KBV

2 Chronicles 29 in the KJV

2 Chronicles 29 in the KNFD

2 Chronicles 29 in the LBA

2 Chronicles 29 in the LBLA

2 Chronicles 29 in the LNT

2 Chronicles 29 in the LSV

2 Chronicles 29 in the MAAL

2 Chronicles 29 in the MBV

2 Chronicles 29 in the MBV2

2 Chronicles 29 in the MHNT

2 Chronicles 29 in the MKNFD

2 Chronicles 29 in the MNG

2 Chronicles 29 in the MNT

2 Chronicles 29 in the MNT2

2 Chronicles 29 in the MRS1T

2 Chronicles 29 in the NAA

2 Chronicles 29 in the NASB

2 Chronicles 29 in the NBLA

2 Chronicles 29 in the NBS

2 Chronicles 29 in the NBVTP

2 Chronicles 29 in the NET2

2 Chronicles 29 in the NIV11

2 Chronicles 29 in the NNT

2 Chronicles 29 in the NNT2

2 Chronicles 29 in the NNT3

2 Chronicles 29 in the PDDPT

2 Chronicles 29 in the PFNT

2 Chronicles 29 in the RMNT

2 Chronicles 29 in the SBIAS

2 Chronicles 29 in the SBIBS

2 Chronicles 29 in the SBIBS2

2 Chronicles 29 in the SBICS

2 Chronicles 29 in the SBIDS

2 Chronicles 29 in the SBIGS

2 Chronicles 29 in the SBIHS

2 Chronicles 29 in the SBIIS

2 Chronicles 29 in the SBIIS2

2 Chronicles 29 in the SBIIS3

2 Chronicles 29 in the SBIKS

2 Chronicles 29 in the SBIKS2

2 Chronicles 29 in the SBIMS

2 Chronicles 29 in the SBIOS

2 Chronicles 29 in the SBIPS

2 Chronicles 29 in the SBISS

2 Chronicles 29 in the SBITS

2 Chronicles 29 in the SBITS2

2 Chronicles 29 in the SBITS3

2 Chronicles 29 in the SBITS4

2 Chronicles 29 in the SBIUS

2 Chronicles 29 in the SBIVS

2 Chronicles 29 in the SBT

2 Chronicles 29 in the SBT1E

2 Chronicles 29 in the SCHL

2 Chronicles 29 in the SNT

2 Chronicles 29 in the SUSU

2 Chronicles 29 in the SUSU2

2 Chronicles 29 in the SYNO

2 Chronicles 29 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 29 in the TBT1E

2 Chronicles 29 in the TBT1E2

2 Chronicles 29 in the TFTIP

2 Chronicles 29 in the TFTU

2 Chronicles 29 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 29 in the THAI

2 Chronicles 29 in the TNFD

2 Chronicles 29 in the TNT

2 Chronicles 29 in the TNTIK

2 Chronicles 29 in the TNTIL

2 Chronicles 29 in the TNTIN

2 Chronicles 29 in the TNTIP

2 Chronicles 29 in the TNTIZ

2 Chronicles 29 in the TOMA

2 Chronicles 29 in the TTENT

2 Chronicles 29 in the UBG

2 Chronicles 29 in the UGV

2 Chronicles 29 in the UGV2

2 Chronicles 29 in the UGV3

2 Chronicles 29 in the VBL

2 Chronicles 29 in the VDCC

2 Chronicles 29 in the YALU

2 Chronicles 29 in the YAPE

2 Chronicles 29 in the YBVTP

2 Chronicles 29 in the ZBP