2 Chronicles 31 (BOLCB)

1 Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliyo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne baasaayasa amayinja agaasinzibwanga, ne bamenyaamenya n’empagi za Baasera. Ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto ebyali mu Yuda, ne mu Benyamini, ne mu Efulayimu ne mu Manase. Awo Abayisirayiri bwe baamala okubisaanyaawo byonna, ne baddayo mu bibuga byabwe, ku butaka bwabwe. 2 Keezeekiya n’addira bakabona n’Abaleevi n’abassa mu bibinja, buli omu ng’obuweereza bwe bwali, oba kabona oba muleevi, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe okuweerezanga, n’okwebazanga, n’okutenderezanga ku nzigi eza yeekaalu ya MUKAMA. 3 Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya MUKAMA. 4 N’alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona n’Abaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya MUKAMA. 5 Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi eby’eŋŋaano, n’ebya wayini omusu, n’eby’amafuta, n’eby’omubisi gw’enjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky’ekkumi ku buli kintu. 6 Abantu ba Isirayiri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekimu eky’ekkumi ku nte n’endiga, n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyatukuzibwa ebyayawulirwa MUKAMA Katonda waabwe, ne babituuma entuumo. 7 Baatandika okutuuma ebintu ebyo entuumo mu mwezi ogwokusatu ne bamaliriza mu mwezi ogw’omusanvu. 8 Awo Keezeekiya n’abakungu be, bwe bajja ne balaba entuumo ne beebaza MUKAMA, ne basabira n’abantu be, Isirayiri, omukisa. 9 Keezeekiya n’abuuza bakabona n’Abaleevi ebikwata ku ntuumu. 10 Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadooki n’amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya MUKAMA, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga MUKAMA awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi.” 11 Awo Keezeekiya n’alagira bateeketeeke amaterekero mu yeekaalu ya MUKAMA, ne bagateekateeka. 12 Ne balyoka baleeta ebirabo, ebintu eby’ekimu eky’ekkumi, n’ebintu ebyatukuzibwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebyo, ate nga Simeeyi muganda we ye mumyuka we. 13 Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryeri, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda. 14 Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yavunaanyizibwanga ebyo bye baawangayo eri Katonda ku bwabwe awatali kuwalirizibwa, ng’agabanyamu ebyatonebwanga eri MUKAMA, n’ebirabo ebyayawulibwanga. 15 Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako n’obwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ng’ebibinja byabwe bwe byali, abakulu n’abato. 16 Ate era baagabiranga n’abalenzi ab’emyaka esatu n’okukirawo abaali babalibbwa ng’okuzaalibwa kwe mbala bwe kwalinga, abo bonna abayingiranga mu yeekaalu ya MUKAMA okutuukirizanga emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu bibinja byabwe. 17 Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng’enzaalwa mu kubala okw’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’Abaleevi abaali ab’emyaka amakumi abiri n’okukirawo ne babagabira ng’eby’obuvunaanyizibwa bwabwe mu bibinja byabwe bwe byali. 18 Omwo mwe mwali abaana abato, n’abakyala, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe ng’ebitundu byabwe bwe byali biwandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa. Ne babeera beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu. 19 Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaabeeranga ku ttaka okwalimibwanga, eryabanga ery’ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n’abo bonna abaali bawandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa kw’Abaleevi, nabo ne bagabana. 20 Bw’atyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna, n’akola ebirungi era ebituufu n’obwesigwa mu maaso ga MUKAMA Katonda we. 21 Buli mulimu gwe yatandika mu buweereza mu yeekaalu ya Katonda, ng’agoberera amateeka n’ebiragiro, yanoonyanga Katonda we, era n’akolanga n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa.

In Other Versions

2 Chronicles 31 in the ANGEFD

2 Chronicles 31 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 31 in the AS21

2 Chronicles 31 in the BAGH

2 Chronicles 31 in the BBPNG

2 Chronicles 31 in the BBT1E

2 Chronicles 31 in the BDS

2 Chronicles 31 in the BEV

2 Chronicles 31 in the BHAD

2 Chronicles 31 in the BIB

2 Chronicles 31 in the BLPT

2 Chronicles 31 in the BNT

2 Chronicles 31 in the BNTABOOT

2 Chronicles 31 in the BNTLV

2 Chronicles 31 in the BOATCB

2 Chronicles 31 in the BOATCB2

2 Chronicles 31 in the BOBCV

2 Chronicles 31 in the BOCNT

2 Chronicles 31 in the BOECS

2 Chronicles 31 in the BOGWICC

2 Chronicles 31 in the BOHCB

2 Chronicles 31 in the BOHCV

2 Chronicles 31 in the BOHLNT

2 Chronicles 31 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 31 in the BOICB

2 Chronicles 31 in the BOILNTAP

2 Chronicles 31 in the BOITCV

2 Chronicles 31 in the BOKCV

2 Chronicles 31 in the BOKCV2

2 Chronicles 31 in the BOKHWOG

2 Chronicles 31 in the BOKSSV

2 Chronicles 31 in the BOLCB2

2 Chronicles 31 in the BOMCV

2 Chronicles 31 in the BONAV

2 Chronicles 31 in the BONCB

2 Chronicles 31 in the BONLT

2 Chronicles 31 in the BONUT2

2 Chronicles 31 in the BOPLNT

2 Chronicles 31 in the BOSCB

2 Chronicles 31 in the BOSNC

2 Chronicles 31 in the BOTLNT

2 Chronicles 31 in the BOVCB

2 Chronicles 31 in the BOYCB

2 Chronicles 31 in the BPBB

2 Chronicles 31 in the BPH

2 Chronicles 31 in the BSB

2 Chronicles 31 in the CCB

2 Chronicles 31 in the CUV

2 Chronicles 31 in the CUVS

2 Chronicles 31 in the DBT

2 Chronicles 31 in the DGDNT

2 Chronicles 31 in the DHNT

2 Chronicles 31 in the DNT

2 Chronicles 31 in the ELBE

2 Chronicles 31 in the EMTV

2 Chronicles 31 in the ESV

2 Chronicles 31 in the FBV

2 Chronicles 31 in the FEB

2 Chronicles 31 in the GGMNT

2 Chronicles 31 in the GNT

2 Chronicles 31 in the HARY

2 Chronicles 31 in the HNT

2 Chronicles 31 in the IRVA

2 Chronicles 31 in the IRVB

2 Chronicles 31 in the IRVG

2 Chronicles 31 in the IRVH

2 Chronicles 31 in the IRVK

2 Chronicles 31 in the IRVM

2 Chronicles 31 in the IRVM2

2 Chronicles 31 in the IRVO

2 Chronicles 31 in the IRVP

2 Chronicles 31 in the IRVT

2 Chronicles 31 in the IRVT2

2 Chronicles 31 in the IRVU

2 Chronicles 31 in the ISVN

2 Chronicles 31 in the JSNT

2 Chronicles 31 in the KAPI

2 Chronicles 31 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 31 in the KBV

2 Chronicles 31 in the KJV

2 Chronicles 31 in the KNFD

2 Chronicles 31 in the LBA

2 Chronicles 31 in the LBLA

2 Chronicles 31 in the LNT

2 Chronicles 31 in the LSV

2 Chronicles 31 in the MAAL

2 Chronicles 31 in the MBV

2 Chronicles 31 in the MBV2

2 Chronicles 31 in the MHNT

2 Chronicles 31 in the MKNFD

2 Chronicles 31 in the MNG

2 Chronicles 31 in the MNT

2 Chronicles 31 in the MNT2

2 Chronicles 31 in the MRS1T

2 Chronicles 31 in the NAA

2 Chronicles 31 in the NASB

2 Chronicles 31 in the NBLA

2 Chronicles 31 in the NBS

2 Chronicles 31 in the NBVTP

2 Chronicles 31 in the NET2

2 Chronicles 31 in the NIV11

2 Chronicles 31 in the NNT

2 Chronicles 31 in the NNT2

2 Chronicles 31 in the NNT3

2 Chronicles 31 in the PDDPT

2 Chronicles 31 in the PFNT

2 Chronicles 31 in the RMNT

2 Chronicles 31 in the SBIAS

2 Chronicles 31 in the SBIBS

2 Chronicles 31 in the SBIBS2

2 Chronicles 31 in the SBICS

2 Chronicles 31 in the SBIDS

2 Chronicles 31 in the SBIGS

2 Chronicles 31 in the SBIHS

2 Chronicles 31 in the SBIIS

2 Chronicles 31 in the SBIIS2

2 Chronicles 31 in the SBIIS3

2 Chronicles 31 in the SBIKS

2 Chronicles 31 in the SBIKS2

2 Chronicles 31 in the SBIMS

2 Chronicles 31 in the SBIOS

2 Chronicles 31 in the SBIPS

2 Chronicles 31 in the SBISS

2 Chronicles 31 in the SBITS

2 Chronicles 31 in the SBITS2

2 Chronicles 31 in the SBITS3

2 Chronicles 31 in the SBITS4

2 Chronicles 31 in the SBIUS

2 Chronicles 31 in the SBIVS

2 Chronicles 31 in the SBT

2 Chronicles 31 in the SBT1E

2 Chronicles 31 in the SCHL

2 Chronicles 31 in the SNT

2 Chronicles 31 in the SUSU

2 Chronicles 31 in the SUSU2

2 Chronicles 31 in the SYNO

2 Chronicles 31 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 31 in the TBT1E

2 Chronicles 31 in the TBT1E2

2 Chronicles 31 in the TFTIP

2 Chronicles 31 in the TFTU

2 Chronicles 31 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 31 in the THAI

2 Chronicles 31 in the TNFD

2 Chronicles 31 in the TNT

2 Chronicles 31 in the TNTIK

2 Chronicles 31 in the TNTIL

2 Chronicles 31 in the TNTIN

2 Chronicles 31 in the TNTIP

2 Chronicles 31 in the TNTIZ

2 Chronicles 31 in the TOMA

2 Chronicles 31 in the TTENT

2 Chronicles 31 in the UBG

2 Chronicles 31 in the UGV

2 Chronicles 31 in the UGV2

2 Chronicles 31 in the UGV3

2 Chronicles 31 in the VBL

2 Chronicles 31 in the VDCC

2 Chronicles 31 in the YALU

2 Chronicles 31 in the YAPE

2 Chronicles 31 in the YBVTP

2 Chronicles 31 in the ZBP