2 Kings 19 (BOLCB)

1 Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya MUKAMA. 2 N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. 3 Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala. 4 Kiyinzika okuba nga MUKAMA Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna MUKAMA Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.” 5 Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya, 6 Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 7 Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ” 8 Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna. 9 Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, 10 “Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa? 12 Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola? 13 Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?” 14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya MUKAMA, n’agyanjuluza mu maaso ga MUKAMA. 15 Keezeekiya n’asaba eri MUKAMA ng’agamba nti, “Ayi MUKAMA Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi. 16 Otege okutu kwo, Ayi MUKAMA, owulire; ozibule amaaso go Ayi MUKAMA, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu. 17 “Kya mazima, Ayi MUKAMA, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe, 18 ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa. 19 Kaakano, Ayi MUKAMA, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi MUKAMA, gwe Katonda wekka.” 20 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli. 21 Kino kye kigambo MUKAMA ky’ayogedde ku bimukwatako:“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyoomaera akusekerera.Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwenga bw’odduka. 22 Ani gw’ovumye era n’ovvoola?Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo,era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala?Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri! 23 Ojereze Mukamang’oyita mu babaka bo.Era ogambye nti,“Nninye ku ntikko z’ensozin’amagaali gange amangi,ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni.Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvun’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi.Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusikene mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi. 24 Nsimye enzizi mu bannamawanga,n’enywa amazzi gaamu.Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna,nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.” 25 “ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda?Mu biro eby’edda nakiteekateeka,era kaakano nkituukirizza,olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugweokuba ng’entuumo y’amayinja. 26 Ababituulamu tebakyalina buyinza,batekemuse era baswazibbwa.Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro,ng’omuddo omubisi,ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba,ne gutugibwa nga tegunnakula. 27 “ ‘Naye mmanyi obutuuliro bwoera mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwon’obuswandi bw’ondaga. 28 Kubanga ondaze obuswandi bwo,n’obujoozi bwone mbuwulira mu matu gange,kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yon’olukoba lwange mu mumwa gwo,era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’ 29 “Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya.“Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka,ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo.Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule;era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo. 30 Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayirikyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu. 31 Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.Obuggya bwa MUKAMA ow’Eggye bulikituukiriza. 32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,wadde okulasayo akasaale.Talikisemberera n’engabonewaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza. 33 Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira,naye taliyingira mu kibuga kino,bw’ayogera MUKAMA. 34 Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole,ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ” 35 Ekiro ekyo malayika wa MUKAMA n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo. 36 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve. 37 Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.

In Other Versions

2 Kings 19 in the ANGEFD

2 Kings 19 in the ANTPNG2D

2 Kings 19 in the AS21

2 Kings 19 in the BAGH

2 Kings 19 in the BBPNG

2 Kings 19 in the BBT1E

2 Kings 19 in the BDS

2 Kings 19 in the BEV

2 Kings 19 in the BHAD

2 Kings 19 in the BIB

2 Kings 19 in the BLPT

2 Kings 19 in the BNT

2 Kings 19 in the BNTABOOT

2 Kings 19 in the BNTLV

2 Kings 19 in the BOATCB

2 Kings 19 in the BOATCB2

2 Kings 19 in the BOBCV

2 Kings 19 in the BOCNT

2 Kings 19 in the BOECS

2 Kings 19 in the BOGWICC

2 Kings 19 in the BOHCB

2 Kings 19 in the BOHCV

2 Kings 19 in the BOHLNT

2 Kings 19 in the BOHNTLTAL

2 Kings 19 in the BOICB

2 Kings 19 in the BOILNTAP

2 Kings 19 in the BOITCV

2 Kings 19 in the BOKCV

2 Kings 19 in the BOKCV2

2 Kings 19 in the BOKHWOG

2 Kings 19 in the BOKSSV

2 Kings 19 in the BOLCB2

2 Kings 19 in the BOMCV

2 Kings 19 in the BONAV

2 Kings 19 in the BONCB

2 Kings 19 in the BONLT

2 Kings 19 in the BONUT2

2 Kings 19 in the BOPLNT

2 Kings 19 in the BOSCB

2 Kings 19 in the BOSNC

2 Kings 19 in the BOTLNT

2 Kings 19 in the BOVCB

2 Kings 19 in the BOYCB

2 Kings 19 in the BPBB

2 Kings 19 in the BPH

2 Kings 19 in the BSB

2 Kings 19 in the CCB

2 Kings 19 in the CUV

2 Kings 19 in the CUVS

2 Kings 19 in the DBT

2 Kings 19 in the DGDNT

2 Kings 19 in the DHNT

2 Kings 19 in the DNT

2 Kings 19 in the ELBE

2 Kings 19 in the EMTV

2 Kings 19 in the ESV

2 Kings 19 in the FBV

2 Kings 19 in the FEB

2 Kings 19 in the GGMNT

2 Kings 19 in the GNT

2 Kings 19 in the HARY

2 Kings 19 in the HNT

2 Kings 19 in the IRVA

2 Kings 19 in the IRVB

2 Kings 19 in the IRVG

2 Kings 19 in the IRVH

2 Kings 19 in the IRVK

2 Kings 19 in the IRVM

2 Kings 19 in the IRVM2

2 Kings 19 in the IRVO

2 Kings 19 in the IRVP

2 Kings 19 in the IRVT

2 Kings 19 in the IRVT2

2 Kings 19 in the IRVU

2 Kings 19 in the ISVN

2 Kings 19 in the JSNT

2 Kings 19 in the KAPI

2 Kings 19 in the KBT1ETNIK

2 Kings 19 in the KBV

2 Kings 19 in the KJV

2 Kings 19 in the KNFD

2 Kings 19 in the LBA

2 Kings 19 in the LBLA

2 Kings 19 in the LNT

2 Kings 19 in the LSV

2 Kings 19 in the MAAL

2 Kings 19 in the MBV

2 Kings 19 in the MBV2

2 Kings 19 in the MHNT

2 Kings 19 in the MKNFD

2 Kings 19 in the MNG

2 Kings 19 in the MNT

2 Kings 19 in the MNT2

2 Kings 19 in the MRS1T

2 Kings 19 in the NAA

2 Kings 19 in the NASB

2 Kings 19 in the NBLA

2 Kings 19 in the NBS

2 Kings 19 in the NBVTP

2 Kings 19 in the NET2

2 Kings 19 in the NIV11

2 Kings 19 in the NNT

2 Kings 19 in the NNT2

2 Kings 19 in the NNT3

2 Kings 19 in the PDDPT

2 Kings 19 in the PFNT

2 Kings 19 in the RMNT

2 Kings 19 in the SBIAS

2 Kings 19 in the SBIBS

2 Kings 19 in the SBIBS2

2 Kings 19 in the SBICS

2 Kings 19 in the SBIDS

2 Kings 19 in the SBIGS

2 Kings 19 in the SBIHS

2 Kings 19 in the SBIIS

2 Kings 19 in the SBIIS2

2 Kings 19 in the SBIIS3

2 Kings 19 in the SBIKS

2 Kings 19 in the SBIKS2

2 Kings 19 in the SBIMS

2 Kings 19 in the SBIOS

2 Kings 19 in the SBIPS

2 Kings 19 in the SBISS

2 Kings 19 in the SBITS

2 Kings 19 in the SBITS2

2 Kings 19 in the SBITS3

2 Kings 19 in the SBITS4

2 Kings 19 in the SBIUS

2 Kings 19 in the SBIVS

2 Kings 19 in the SBT

2 Kings 19 in the SBT1E

2 Kings 19 in the SCHL

2 Kings 19 in the SNT

2 Kings 19 in the SUSU

2 Kings 19 in the SUSU2

2 Kings 19 in the SYNO

2 Kings 19 in the TBIAOTANT

2 Kings 19 in the TBT1E

2 Kings 19 in the TBT1E2

2 Kings 19 in the TFTIP

2 Kings 19 in the TFTU

2 Kings 19 in the TGNTATF3T

2 Kings 19 in the THAI

2 Kings 19 in the TNFD

2 Kings 19 in the TNT

2 Kings 19 in the TNTIK

2 Kings 19 in the TNTIL

2 Kings 19 in the TNTIN

2 Kings 19 in the TNTIP

2 Kings 19 in the TNTIZ

2 Kings 19 in the TOMA

2 Kings 19 in the TTENT

2 Kings 19 in the UBG

2 Kings 19 in the UGV

2 Kings 19 in the UGV2

2 Kings 19 in the UGV3

2 Kings 19 in the VBL

2 Kings 19 in the VDCC

2 Kings 19 in the YALU

2 Kings 19 in the YAPE

2 Kings 19 in the YBVTP

2 Kings 19 in the ZBP