2 Kings 20 (BOLCB)

1 Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.” 2 Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira MUKAMA ng’agamba nti, 3 “Jjukira, Ayi MUKAMA Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo. 4 Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya MUKAMA ne kimujjira nti, 5 “Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya MUKAMA. 6 Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ” 7 Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona. 8 Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti MUKAMA amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya MUKAMA nga wayiseewo ennaku ssatu?” 9 Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri MUKAMA nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?” 10 Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.” 11 Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya MUKAMA, era MUKAMA n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi. 12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13 Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga. 14 Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.” 15 Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.” 16 Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza MUKAMA Katonda ky’agamba: 17 Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera MUKAMA. 18 “Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.” 19 Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya MUKAMA ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.” 20 Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda? 21 Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.

In Other Versions

2 Kings 20 in the ANGEFD

2 Kings 20 in the ANTPNG2D

2 Kings 20 in the AS21

2 Kings 20 in the BAGH

2 Kings 20 in the BBPNG

2 Kings 20 in the BBT1E

2 Kings 20 in the BDS

2 Kings 20 in the BEV

2 Kings 20 in the BHAD

2 Kings 20 in the BIB

2 Kings 20 in the BLPT

2 Kings 20 in the BNT

2 Kings 20 in the BNTABOOT

2 Kings 20 in the BNTLV

2 Kings 20 in the BOATCB

2 Kings 20 in the BOATCB2

2 Kings 20 in the BOBCV

2 Kings 20 in the BOCNT

2 Kings 20 in the BOECS

2 Kings 20 in the BOGWICC

2 Kings 20 in the BOHCB

2 Kings 20 in the BOHCV

2 Kings 20 in the BOHLNT

2 Kings 20 in the BOHNTLTAL

2 Kings 20 in the BOICB

2 Kings 20 in the BOILNTAP

2 Kings 20 in the BOITCV

2 Kings 20 in the BOKCV

2 Kings 20 in the BOKCV2

2 Kings 20 in the BOKHWOG

2 Kings 20 in the BOKSSV

2 Kings 20 in the BOLCB2

2 Kings 20 in the BOMCV

2 Kings 20 in the BONAV

2 Kings 20 in the BONCB

2 Kings 20 in the BONLT

2 Kings 20 in the BONUT2

2 Kings 20 in the BOPLNT

2 Kings 20 in the BOSCB

2 Kings 20 in the BOSNC

2 Kings 20 in the BOTLNT

2 Kings 20 in the BOVCB

2 Kings 20 in the BOYCB

2 Kings 20 in the BPBB

2 Kings 20 in the BPH

2 Kings 20 in the BSB

2 Kings 20 in the CCB

2 Kings 20 in the CUV

2 Kings 20 in the CUVS

2 Kings 20 in the DBT

2 Kings 20 in the DGDNT

2 Kings 20 in the DHNT

2 Kings 20 in the DNT

2 Kings 20 in the ELBE

2 Kings 20 in the EMTV

2 Kings 20 in the ESV

2 Kings 20 in the FBV

2 Kings 20 in the FEB

2 Kings 20 in the GGMNT

2 Kings 20 in the GNT

2 Kings 20 in the HARY

2 Kings 20 in the HNT

2 Kings 20 in the IRVA

2 Kings 20 in the IRVB

2 Kings 20 in the IRVG

2 Kings 20 in the IRVH

2 Kings 20 in the IRVK

2 Kings 20 in the IRVM

2 Kings 20 in the IRVM2

2 Kings 20 in the IRVO

2 Kings 20 in the IRVP

2 Kings 20 in the IRVT

2 Kings 20 in the IRVT2

2 Kings 20 in the IRVU

2 Kings 20 in the ISVN

2 Kings 20 in the JSNT

2 Kings 20 in the KAPI

2 Kings 20 in the KBT1ETNIK

2 Kings 20 in the KBV

2 Kings 20 in the KJV

2 Kings 20 in the KNFD

2 Kings 20 in the LBA

2 Kings 20 in the LBLA

2 Kings 20 in the LNT

2 Kings 20 in the LSV

2 Kings 20 in the MAAL

2 Kings 20 in the MBV

2 Kings 20 in the MBV2

2 Kings 20 in the MHNT

2 Kings 20 in the MKNFD

2 Kings 20 in the MNG

2 Kings 20 in the MNT

2 Kings 20 in the MNT2

2 Kings 20 in the MRS1T

2 Kings 20 in the NAA

2 Kings 20 in the NASB

2 Kings 20 in the NBLA

2 Kings 20 in the NBS

2 Kings 20 in the NBVTP

2 Kings 20 in the NET2

2 Kings 20 in the NIV11

2 Kings 20 in the NNT

2 Kings 20 in the NNT2

2 Kings 20 in the NNT3

2 Kings 20 in the PDDPT

2 Kings 20 in the PFNT

2 Kings 20 in the RMNT

2 Kings 20 in the SBIAS

2 Kings 20 in the SBIBS

2 Kings 20 in the SBIBS2

2 Kings 20 in the SBICS

2 Kings 20 in the SBIDS

2 Kings 20 in the SBIGS

2 Kings 20 in the SBIHS

2 Kings 20 in the SBIIS

2 Kings 20 in the SBIIS2

2 Kings 20 in the SBIIS3

2 Kings 20 in the SBIKS

2 Kings 20 in the SBIKS2

2 Kings 20 in the SBIMS

2 Kings 20 in the SBIOS

2 Kings 20 in the SBIPS

2 Kings 20 in the SBISS

2 Kings 20 in the SBITS

2 Kings 20 in the SBITS2

2 Kings 20 in the SBITS3

2 Kings 20 in the SBITS4

2 Kings 20 in the SBIUS

2 Kings 20 in the SBIVS

2 Kings 20 in the SBT

2 Kings 20 in the SBT1E

2 Kings 20 in the SCHL

2 Kings 20 in the SNT

2 Kings 20 in the SUSU

2 Kings 20 in the SUSU2

2 Kings 20 in the SYNO

2 Kings 20 in the TBIAOTANT

2 Kings 20 in the TBT1E

2 Kings 20 in the TBT1E2

2 Kings 20 in the TFTIP

2 Kings 20 in the TFTU

2 Kings 20 in the TGNTATF3T

2 Kings 20 in the THAI

2 Kings 20 in the TNFD

2 Kings 20 in the TNT

2 Kings 20 in the TNTIK

2 Kings 20 in the TNTIL

2 Kings 20 in the TNTIN

2 Kings 20 in the TNTIP

2 Kings 20 in the TNTIZ

2 Kings 20 in the TOMA

2 Kings 20 in the TTENT

2 Kings 20 in the UBG

2 Kings 20 in the UGV

2 Kings 20 in the UGV2

2 Kings 20 in the UGV3

2 Kings 20 in the VBL

2 Kings 20 in the VDCC

2 Kings 20 in the YALU

2 Kings 20 in the YAPE

2 Kings 20 in the YBVTP

2 Kings 20 in the ZBP