2 Kings 22 (BOLCB)

1 Yosiya n’atandika okufuga nga wa myaka munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ng’erinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi. 2 N’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, ng’atambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga. 3 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n’atuma omuwandiisi Safani mutabani wa Azaliya ate muzzukulu wa Mesullamu okulaga mu yeekaalu ya MUKAMA. N’amugamba nti, 4 “Yambuka eri Kirukiya kabona Asinga obukulu, akutegeeze omuwendo gw’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya MUKAMA abaggazi ze basoloozezza ku bantu. 5 Ensimbi ezo zikwasibwe abasajja abaalondebwa okulabirira omulimu ogwa yeekaalu basasule abakozi abaddaabiriza yeekaalu ya MUKAMA, 6 ababazzi, n’abazimbi, n’abaasa b’amayinja. Ate era baguleko n’embaawo n’amayinja amateme nga byonna bya kuddaabiriza yeekaalu. 7 Naye tebabuuzibwa engeri gye bakozesezaamu ensimbi ezo, kubanga basajja abakola n’obwesigwa.” 8 Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’ategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo eky’Amateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu.” N’akiwa Safani n’akisoma. 9 Safani omuwandiisi n’addayo eri kabaka n’amugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya MUKAMA era bazikwasizza abakozi n’abalabirizi ab’omulimu okuzikozesa n’okulabirira enkozesa yaazo.” 10 Ate era Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka. 11 Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyasomebwa okuva mu Kitabo eky’Amateeka n’ayuza ebyambalo bye. 12 N’alagira Kirukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti, 13 “Mugende mumbuulize eri MUKAMA, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa MUKAMA bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.” 14 Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika w’ebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi. 15 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri nti, 16 ‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino n’abantu bano akabi, ng’ebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda by’asomye. 17 Olw’okunvaako n’olw’okwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba n’omu alibukkakkanya.’ 18 Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okwebuuza ku MUKAMA nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri nti, ebikwata ku bigambo bye wawulidde: 19 kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga MUKAMA bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate n’oyuza n’ebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bw’ayogera MUKAMA. 20 Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, n’oziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ ”Awo ne bazaayo obubaka obwo eri kabaka.

In Other Versions

2 Kings 22 in the ANGEFD

2 Kings 22 in the ANTPNG2D

2 Kings 22 in the AS21

2 Kings 22 in the BAGH

2 Kings 22 in the BBPNG

2 Kings 22 in the BBT1E

2 Kings 22 in the BDS

2 Kings 22 in the BEV

2 Kings 22 in the BHAD

2 Kings 22 in the BIB

2 Kings 22 in the BLPT

2 Kings 22 in the BNT

2 Kings 22 in the BNTABOOT

2 Kings 22 in the BNTLV

2 Kings 22 in the BOATCB

2 Kings 22 in the BOATCB2

2 Kings 22 in the BOBCV

2 Kings 22 in the BOCNT

2 Kings 22 in the BOECS

2 Kings 22 in the BOGWICC

2 Kings 22 in the BOHCB

2 Kings 22 in the BOHCV

2 Kings 22 in the BOHLNT

2 Kings 22 in the BOHNTLTAL

2 Kings 22 in the BOICB

2 Kings 22 in the BOILNTAP

2 Kings 22 in the BOITCV

2 Kings 22 in the BOKCV

2 Kings 22 in the BOKCV2

2 Kings 22 in the BOKHWOG

2 Kings 22 in the BOKSSV

2 Kings 22 in the BOLCB2

2 Kings 22 in the BOMCV

2 Kings 22 in the BONAV

2 Kings 22 in the BONCB

2 Kings 22 in the BONLT

2 Kings 22 in the BONUT2

2 Kings 22 in the BOPLNT

2 Kings 22 in the BOSCB

2 Kings 22 in the BOSNC

2 Kings 22 in the BOTLNT

2 Kings 22 in the BOVCB

2 Kings 22 in the BOYCB

2 Kings 22 in the BPBB

2 Kings 22 in the BPH

2 Kings 22 in the BSB

2 Kings 22 in the CCB

2 Kings 22 in the CUV

2 Kings 22 in the CUVS

2 Kings 22 in the DBT

2 Kings 22 in the DGDNT

2 Kings 22 in the DHNT

2 Kings 22 in the DNT

2 Kings 22 in the ELBE

2 Kings 22 in the EMTV

2 Kings 22 in the ESV

2 Kings 22 in the FBV

2 Kings 22 in the FEB

2 Kings 22 in the GGMNT

2 Kings 22 in the GNT

2 Kings 22 in the HARY

2 Kings 22 in the HNT

2 Kings 22 in the IRVA

2 Kings 22 in the IRVB

2 Kings 22 in the IRVG

2 Kings 22 in the IRVH

2 Kings 22 in the IRVK

2 Kings 22 in the IRVM

2 Kings 22 in the IRVM2

2 Kings 22 in the IRVO

2 Kings 22 in the IRVP

2 Kings 22 in the IRVT

2 Kings 22 in the IRVT2

2 Kings 22 in the IRVU

2 Kings 22 in the ISVN

2 Kings 22 in the JSNT

2 Kings 22 in the KAPI

2 Kings 22 in the KBT1ETNIK

2 Kings 22 in the KBV

2 Kings 22 in the KJV

2 Kings 22 in the KNFD

2 Kings 22 in the LBA

2 Kings 22 in the LBLA

2 Kings 22 in the LNT

2 Kings 22 in the LSV

2 Kings 22 in the MAAL

2 Kings 22 in the MBV

2 Kings 22 in the MBV2

2 Kings 22 in the MHNT

2 Kings 22 in the MKNFD

2 Kings 22 in the MNG

2 Kings 22 in the MNT

2 Kings 22 in the MNT2

2 Kings 22 in the MRS1T

2 Kings 22 in the NAA

2 Kings 22 in the NASB

2 Kings 22 in the NBLA

2 Kings 22 in the NBS

2 Kings 22 in the NBVTP

2 Kings 22 in the NET2

2 Kings 22 in the NIV11

2 Kings 22 in the NNT

2 Kings 22 in the NNT2

2 Kings 22 in the NNT3

2 Kings 22 in the PDDPT

2 Kings 22 in the PFNT

2 Kings 22 in the RMNT

2 Kings 22 in the SBIAS

2 Kings 22 in the SBIBS

2 Kings 22 in the SBIBS2

2 Kings 22 in the SBICS

2 Kings 22 in the SBIDS

2 Kings 22 in the SBIGS

2 Kings 22 in the SBIHS

2 Kings 22 in the SBIIS

2 Kings 22 in the SBIIS2

2 Kings 22 in the SBIIS3

2 Kings 22 in the SBIKS

2 Kings 22 in the SBIKS2

2 Kings 22 in the SBIMS

2 Kings 22 in the SBIOS

2 Kings 22 in the SBIPS

2 Kings 22 in the SBISS

2 Kings 22 in the SBITS

2 Kings 22 in the SBITS2

2 Kings 22 in the SBITS3

2 Kings 22 in the SBITS4

2 Kings 22 in the SBIUS

2 Kings 22 in the SBIVS

2 Kings 22 in the SBT

2 Kings 22 in the SBT1E

2 Kings 22 in the SCHL

2 Kings 22 in the SNT

2 Kings 22 in the SUSU

2 Kings 22 in the SUSU2

2 Kings 22 in the SYNO

2 Kings 22 in the TBIAOTANT

2 Kings 22 in the TBT1E

2 Kings 22 in the TBT1E2

2 Kings 22 in the TFTIP

2 Kings 22 in the TFTU

2 Kings 22 in the TGNTATF3T

2 Kings 22 in the THAI

2 Kings 22 in the TNFD

2 Kings 22 in the TNT

2 Kings 22 in the TNTIK

2 Kings 22 in the TNTIL

2 Kings 22 in the TNTIN

2 Kings 22 in the TNTIP

2 Kings 22 in the TNTIZ

2 Kings 22 in the TOMA

2 Kings 22 in the TTENT

2 Kings 22 in the UBG

2 Kings 22 in the UGV

2 Kings 22 in the UGV2

2 Kings 22 in the UGV3

2 Kings 22 in the VBL

2 Kings 22 in the VDCC

2 Kings 22 in the YALU

2 Kings 22 in the YAPE

2 Kings 22 in the YBVTP

2 Kings 22 in the ZBP