2 Samuel 10 (BOLCB)
1 Mu kiseera ekyo kabaka w’abaana ba Amoni n’afa, mutabani we Kamuni n’amusikira. 2 Dawudi n’alowooza nga kyandibadde kirungi, okumukolera ebyekisa nga kitaawe bwe yali akoze. Awo Dawudi n’amutumira ekibinja okugenda okumukubagiza olw’okufa kwa kitaawe.Abasajja ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi ey’Abamoni, 3 abakungu ba Amoni ne bagamba Kamuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi okukuweereza ababaka okukubagiza, aba assaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza nga Dawudi tabasindise okujja okulawuna n’okuketta ekibuga n’okukiwamba?” 4 Awo Kamuni n’akwata abasajja ba Dawudi n’abamwako ekitundu ky’ebirevu byabwe n’abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma ku manyuma gaabwe, n’abagoba baddeyo ewaabwe. 5 Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’atumira abasajja be ababaka, kubanga baali mu buswavu bungi, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula mulyoke mukomewo.” 6 Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu n’e Zoba, n’abalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka w’e Maaka, n’abalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu. 7 Dawudi olwawulira ebyo, n’asindika Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. 8 Abamoni ne bavaayo ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu wankaaki w’ekibuga kyabwe, Abasuuli ab’e Zoba n’ab’e Lekobu, n’abasajja ab’e Tobu n’e Maaka bo ne babeera mu ttale. 9 Awo Yowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumutaayizza mu maaso n’emabega, n’alondamu abasajja abazira mu Isirayiri, n’abasindika batabaale Abasuuli. 10 Abaasigalawo n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, n’abasindika batabaale Abamoni. 11 Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Bwe munaalaba Abasuuli nga batuyitiridde amaanyi, munajja ne mutubeera. Abamoni bwe banaabayinga amaanyi, tunajja ne tubabeera. 12 Tuddemu amaanyi tulwane masajja olw’abantu baffe, n’olw’ebibuga bya Katonda waffe. MUKAMA akole nga bw’asiima.” 13 Awo Yowaabu n’abasajja abaali naye ne bambuka okutabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. 14 Abamoni bwe baalaba nga Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Yowaabu n’alekeraawo okulwana n’Abamoni, n’addayo e Yerusaalemi. 15 Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beekuŋŋaanya. 16 Kadadezeri n’atumya Abasuuli okuva emitala w’Omugga Fulaati, ne bagenda e Keramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w’eggye lya Kadadezeri. 17 Awo Dawudi bwe yakiwulira, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna n’asomoka Yoludaani n’agenda e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi balwane naye. 18 Naye ne badduka mu maaso ga Isirayiri, Dawudi n’atta abasajja lusanvu ku bavuzi b’amagaali g’embalaasi, era n’emitwalo ena ku beebagala embalaasi, n’afumita ne Sobaki omuduumizi w’eggye lyabwe n’afiirawo. 19 Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beeweerayo ddala eri Abayisirayiri, era ne babawanga n’obusuulu.Awo Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abamoni.
In Other Versions
2 Samuel 10 in the ANGEFD
2 Samuel 10 in the ANTPNG2D
2 Samuel 10 in the AS21
2 Samuel 10 in the BAGH
2 Samuel 10 in the BBPNG
2 Samuel 10 in the BBT1E
2 Samuel 10 in the BDS
2 Samuel 10 in the BEV
2 Samuel 10 in the BHAD
2 Samuel 10 in the BIB
2 Samuel 10 in the BLPT
2 Samuel 10 in the BNT
2 Samuel 10 in the BNTABOOT
2 Samuel 10 in the BNTLV
2 Samuel 10 in the BOATCB
2 Samuel 10 in the BOATCB2
2 Samuel 10 in the BOBCV
2 Samuel 10 in the BOCNT
2 Samuel 10 in the BOECS
2 Samuel 10 in the BOGWICC
2 Samuel 10 in the BOHCB
2 Samuel 10 in the BOHCV
2 Samuel 10 in the BOHLNT
2 Samuel 10 in the BOHNTLTAL
2 Samuel 10 in the BOICB
2 Samuel 10 in the BOILNTAP
2 Samuel 10 in the BOITCV
2 Samuel 10 in the BOKCV
2 Samuel 10 in the BOKCV2
2 Samuel 10 in the BOKHWOG
2 Samuel 10 in the BOKSSV
2 Samuel 10 in the BOLCB2
2 Samuel 10 in the BOMCV
2 Samuel 10 in the BONAV
2 Samuel 10 in the BONCB
2 Samuel 10 in the BONLT
2 Samuel 10 in the BONUT2
2 Samuel 10 in the BOPLNT
2 Samuel 10 in the BOSCB
2 Samuel 10 in the BOSNC
2 Samuel 10 in the BOTLNT
2 Samuel 10 in the BOVCB
2 Samuel 10 in the BOYCB
2 Samuel 10 in the BPBB
2 Samuel 10 in the BPH
2 Samuel 10 in the BSB
2 Samuel 10 in the CCB
2 Samuel 10 in the CUV
2 Samuel 10 in the CUVS
2 Samuel 10 in the DBT
2 Samuel 10 in the DGDNT
2 Samuel 10 in the DHNT
2 Samuel 10 in the DNT
2 Samuel 10 in the ELBE
2 Samuel 10 in the EMTV
2 Samuel 10 in the ESV
2 Samuel 10 in the FBV
2 Samuel 10 in the FEB
2 Samuel 10 in the GGMNT
2 Samuel 10 in the GNT
2 Samuel 10 in the HARY
2 Samuel 10 in the HNT
2 Samuel 10 in the IRVA
2 Samuel 10 in the IRVB
2 Samuel 10 in the IRVG
2 Samuel 10 in the IRVH
2 Samuel 10 in the IRVK
2 Samuel 10 in the IRVM
2 Samuel 10 in the IRVM2
2 Samuel 10 in the IRVO
2 Samuel 10 in the IRVP
2 Samuel 10 in the IRVT
2 Samuel 10 in the IRVT2
2 Samuel 10 in the IRVU
2 Samuel 10 in the ISVN
2 Samuel 10 in the JSNT
2 Samuel 10 in the KAPI
2 Samuel 10 in the KBT1ETNIK
2 Samuel 10 in the KBV
2 Samuel 10 in the KJV
2 Samuel 10 in the KNFD
2 Samuel 10 in the LBA
2 Samuel 10 in the LBLA
2 Samuel 10 in the LNT
2 Samuel 10 in the LSV
2 Samuel 10 in the MAAL
2 Samuel 10 in the MBV
2 Samuel 10 in the MBV2
2 Samuel 10 in the MHNT
2 Samuel 10 in the MKNFD
2 Samuel 10 in the MNG
2 Samuel 10 in the MNT
2 Samuel 10 in the MNT2
2 Samuel 10 in the MRS1T
2 Samuel 10 in the NAA
2 Samuel 10 in the NASB
2 Samuel 10 in the NBLA
2 Samuel 10 in the NBS
2 Samuel 10 in the NBVTP
2 Samuel 10 in the NET2
2 Samuel 10 in the NIV11
2 Samuel 10 in the NNT
2 Samuel 10 in the NNT2
2 Samuel 10 in the NNT3
2 Samuel 10 in the PDDPT
2 Samuel 10 in the PFNT
2 Samuel 10 in the RMNT
2 Samuel 10 in the SBIAS
2 Samuel 10 in the SBIBS
2 Samuel 10 in the SBIBS2
2 Samuel 10 in the SBICS
2 Samuel 10 in the SBIDS
2 Samuel 10 in the SBIGS
2 Samuel 10 in the SBIHS
2 Samuel 10 in the SBIIS
2 Samuel 10 in the SBIIS2
2 Samuel 10 in the SBIIS3
2 Samuel 10 in the SBIKS
2 Samuel 10 in the SBIKS2
2 Samuel 10 in the SBIMS
2 Samuel 10 in the SBIOS
2 Samuel 10 in the SBIPS
2 Samuel 10 in the SBISS
2 Samuel 10 in the SBITS
2 Samuel 10 in the SBITS2
2 Samuel 10 in the SBITS3
2 Samuel 10 in the SBITS4
2 Samuel 10 in the SBIUS
2 Samuel 10 in the SBIVS
2 Samuel 10 in the SBT
2 Samuel 10 in the SBT1E
2 Samuel 10 in the SCHL
2 Samuel 10 in the SNT
2 Samuel 10 in the SUSU
2 Samuel 10 in the SUSU2
2 Samuel 10 in the SYNO
2 Samuel 10 in the TBIAOTANT
2 Samuel 10 in the TBT1E
2 Samuel 10 in the TBT1E2
2 Samuel 10 in the TFTIP
2 Samuel 10 in the TFTU
2 Samuel 10 in the TGNTATF3T
2 Samuel 10 in the THAI
2 Samuel 10 in the TNFD
2 Samuel 10 in the TNT
2 Samuel 10 in the TNTIK
2 Samuel 10 in the TNTIL
2 Samuel 10 in the TNTIN
2 Samuel 10 in the TNTIP
2 Samuel 10 in the TNTIZ
2 Samuel 10 in the TOMA
2 Samuel 10 in the TTENT
2 Samuel 10 in the UBG
2 Samuel 10 in the UGV
2 Samuel 10 in the UGV2
2 Samuel 10 in the UGV3
2 Samuel 10 in the VBL
2 Samuel 10 in the VDCC
2 Samuel 10 in the YALU
2 Samuel 10 in the YAPE
2 Samuel 10 in the YBVTP
2 Samuel 10 in the ZBP