2 Samuel 22 (BOLCB)

1 Awo Dawudi n’ayimbira MUKAMA ebigambo eby’oluyimba luno, MUKAMA bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. 2 N’ayogera nti,“MUKAMA lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange; 3 Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;ggwe ondokola eri abantu ababi. 4 Nkaabira MUKAMA asaanidde okutenderezebwa,n’andokola eri abalabe bange. 5 “Amayengo ag’okufa ganzingiza;embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira. 6 Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. 7 Mu nnaku yange nakoowoola MUKAMA;nakoowoola Katonda wange.Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;n’okukaaba kwange kwamutuukako. 8 “Ensi n’ekankana n’ejjugumira,emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde. 9 Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,n’omuliro ne guva mu kamwa ke,n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye. 10 Yayabuluza eggulu n’akka wansi;ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye. 11 Ne yeebagala kerubi n’abuuka,n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo. 12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi. 13 Okumasamasa okwali mu maaso gekwayakisa amanda ag’omuliro. 14 MUKAMA yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye. 15 Yalasa obusaale n’asaasaanya abalaben’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula. 16 Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwan’emisingi gy’ensi ne gyerukaolw’okunenya kwa MUKAMAn’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze. 17 “Yasinzira waggulu n’antwalan’ansika mu mazzi amangi. 18 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,abo abaali bansinza amaanyi. 19 Bannumba mu nnaku yangenaye MUKAMA n’ampanirira. 20 Yandeeta mu kifo ekigazi;yandokola kubanga yansanyukira. 21 “MUKAMA yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli. 22 Ntambulidde mu kkubo lya MUKAMA,era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu. 23 Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange,era ssaava ku biragiro bye. 24 Sizzanga na musango mu maaso ge,era neekuumye eri obutali butuukirivu. 25 MUKAMA kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge. 26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango; 27 eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofun’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga. 28 Olokola abantu abawombeefu,naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya. 29 Oli ttaala yange, Ayi MUKAMAera MUKAMA wange yammulisiza mu nzikiza yange. 30 Ku lulwe mpangula eggye,era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe. 31 Ekkubo lya Katonda golokofu,n’ekigambo kye kituukirira;era ngabo eri abo bonnaabaddukira gy’ali. 32 Kubanga ani Katonda wabula MUKAMA,era ani lwazi okuggyako Katonda waffe? 33 Katonda kye kiddukiro kyange,era alongoosa ekkubo lyange. 34 Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,era ampanirira mu bifo ebya waggulu. 35 Anteekateeka okulwana entalo,era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo. 36 Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa. 37 Ogaziyizza ekkubo mwe mpita,n’obukongovvule bwange tebukoonagana. 38 “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo. 39 Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,era bali wansi w’ebigere byange. 40 Wampa amaanyi okulwana entalo,n’oteeka abo abanjigganya wansi wange. 41 Waleetera abalabe bange okunziruka,ne nsanyaawo abo abankyawa. 42 Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,ne bakaabira MUKAMA, naye n’atabaanukula. 43 Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo. 44 “Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,n’onfuula omukulu w’amawanga;abantu be saamanya be bampeereza. 45 Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera. 46 Bonna baggwaamu omwoyo,ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese. 47 “MUKAMA mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange. 48 Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,era ateeka amawanga wansi wange; 49 anziggya mu balabe bange.Wangulumiza okusinga abalabe bange,n’ondokola okuva mu basajja abakambwe. 50 Kyenaava nkutenderezanga, Ayi MUKAMA Katonda, mu mawanga gonna,era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo. 51 Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

In Other Versions

2 Samuel 22 in the ANGEFD

2 Samuel 22 in the ANTPNG2D

2 Samuel 22 in the AS21

2 Samuel 22 in the BAGH

2 Samuel 22 in the BBPNG

2 Samuel 22 in the BBT1E

2 Samuel 22 in the BDS

2 Samuel 22 in the BEV

2 Samuel 22 in the BHAD

2 Samuel 22 in the BIB

2 Samuel 22 in the BLPT

2 Samuel 22 in the BNT

2 Samuel 22 in the BNTABOOT

2 Samuel 22 in the BNTLV

2 Samuel 22 in the BOATCB

2 Samuel 22 in the BOATCB2

2 Samuel 22 in the BOBCV

2 Samuel 22 in the BOCNT

2 Samuel 22 in the BOECS

2 Samuel 22 in the BOGWICC

2 Samuel 22 in the BOHCB

2 Samuel 22 in the BOHCV

2 Samuel 22 in the BOHLNT

2 Samuel 22 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 22 in the BOICB

2 Samuel 22 in the BOILNTAP

2 Samuel 22 in the BOITCV

2 Samuel 22 in the BOKCV

2 Samuel 22 in the BOKCV2

2 Samuel 22 in the BOKHWOG

2 Samuel 22 in the BOKSSV

2 Samuel 22 in the BOLCB2

2 Samuel 22 in the BOMCV

2 Samuel 22 in the BONAV

2 Samuel 22 in the BONCB

2 Samuel 22 in the BONLT

2 Samuel 22 in the BONUT2

2 Samuel 22 in the BOPLNT

2 Samuel 22 in the BOSCB

2 Samuel 22 in the BOSNC

2 Samuel 22 in the BOTLNT

2 Samuel 22 in the BOVCB

2 Samuel 22 in the BOYCB

2 Samuel 22 in the BPBB

2 Samuel 22 in the BPH

2 Samuel 22 in the BSB

2 Samuel 22 in the CCB

2 Samuel 22 in the CUV

2 Samuel 22 in the CUVS

2 Samuel 22 in the DBT

2 Samuel 22 in the DGDNT

2 Samuel 22 in the DHNT

2 Samuel 22 in the DNT

2 Samuel 22 in the ELBE

2 Samuel 22 in the EMTV

2 Samuel 22 in the ESV

2 Samuel 22 in the FBV

2 Samuel 22 in the FEB

2 Samuel 22 in the GGMNT

2 Samuel 22 in the GNT

2 Samuel 22 in the HARY

2 Samuel 22 in the HNT

2 Samuel 22 in the IRVA

2 Samuel 22 in the IRVB

2 Samuel 22 in the IRVG

2 Samuel 22 in the IRVH

2 Samuel 22 in the IRVK

2 Samuel 22 in the IRVM

2 Samuel 22 in the IRVM2

2 Samuel 22 in the IRVO

2 Samuel 22 in the IRVP

2 Samuel 22 in the IRVT

2 Samuel 22 in the IRVT2

2 Samuel 22 in the IRVU

2 Samuel 22 in the ISVN

2 Samuel 22 in the JSNT

2 Samuel 22 in the KAPI

2 Samuel 22 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 22 in the KBV

2 Samuel 22 in the KJV

2 Samuel 22 in the KNFD

2 Samuel 22 in the LBA

2 Samuel 22 in the LBLA

2 Samuel 22 in the LNT

2 Samuel 22 in the LSV

2 Samuel 22 in the MAAL

2 Samuel 22 in the MBV

2 Samuel 22 in the MBV2

2 Samuel 22 in the MHNT

2 Samuel 22 in the MKNFD

2 Samuel 22 in the MNG

2 Samuel 22 in the MNT

2 Samuel 22 in the MNT2

2 Samuel 22 in the MRS1T

2 Samuel 22 in the NAA

2 Samuel 22 in the NASB

2 Samuel 22 in the NBLA

2 Samuel 22 in the NBS

2 Samuel 22 in the NBVTP

2 Samuel 22 in the NET2

2 Samuel 22 in the NIV11

2 Samuel 22 in the NNT

2 Samuel 22 in the NNT2

2 Samuel 22 in the NNT3

2 Samuel 22 in the PDDPT

2 Samuel 22 in the PFNT

2 Samuel 22 in the RMNT

2 Samuel 22 in the SBIAS

2 Samuel 22 in the SBIBS

2 Samuel 22 in the SBIBS2

2 Samuel 22 in the SBICS

2 Samuel 22 in the SBIDS

2 Samuel 22 in the SBIGS

2 Samuel 22 in the SBIHS

2 Samuel 22 in the SBIIS

2 Samuel 22 in the SBIIS2

2 Samuel 22 in the SBIIS3

2 Samuel 22 in the SBIKS

2 Samuel 22 in the SBIKS2

2 Samuel 22 in the SBIMS

2 Samuel 22 in the SBIOS

2 Samuel 22 in the SBIPS

2 Samuel 22 in the SBISS

2 Samuel 22 in the SBITS

2 Samuel 22 in the SBITS2

2 Samuel 22 in the SBITS3

2 Samuel 22 in the SBITS4

2 Samuel 22 in the SBIUS

2 Samuel 22 in the SBIVS

2 Samuel 22 in the SBT

2 Samuel 22 in the SBT1E

2 Samuel 22 in the SCHL

2 Samuel 22 in the SNT

2 Samuel 22 in the SUSU

2 Samuel 22 in the SUSU2

2 Samuel 22 in the SYNO

2 Samuel 22 in the TBIAOTANT

2 Samuel 22 in the TBT1E

2 Samuel 22 in the TBT1E2

2 Samuel 22 in the TFTIP

2 Samuel 22 in the TFTU

2 Samuel 22 in the TGNTATF3T

2 Samuel 22 in the THAI

2 Samuel 22 in the TNFD

2 Samuel 22 in the TNT

2 Samuel 22 in the TNTIK

2 Samuel 22 in the TNTIL

2 Samuel 22 in the TNTIN

2 Samuel 22 in the TNTIP

2 Samuel 22 in the TNTIZ

2 Samuel 22 in the TOMA

2 Samuel 22 in the TTENT

2 Samuel 22 in the UBG

2 Samuel 22 in the UGV

2 Samuel 22 in the UGV2

2 Samuel 22 in the UGV3

2 Samuel 22 in the VBL

2 Samuel 22 in the VDCC

2 Samuel 22 in the YALU

2 Samuel 22 in the YAPE

2 Samuel 22 in the YBVTP

2 Samuel 22 in the ZBP