2 Samuel 5 (BOLCB)

1 Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo. 2 Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era MUKAMA yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” 3 Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga MUKAMA Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri. 4 Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana. 5 Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu. 6 Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira. 7 Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi. 8 Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.” 9 Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe. 10 Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga MUKAMA Katonda ow’Eggye yali wamu naye. 11 Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. 12 Dawudi n’ategeera nga MUKAMA yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba MUKAMA Isirayiri. 13 Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa. 14 Amannya g’abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, 15 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya, 16 ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti. 17 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye. 18 Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu. 19 Dawudi ne yeebuuza ku MUKAMA nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” MUKAMA n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.” 20 Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “MUKAMA abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 21 Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala. 22 Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu. 23 Awo Dawudi bwe yeebuuza ku MUKAMA, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 24 Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti MUKAMA akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 25 Awo Dawudi n’akola nga MUKAMA bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.

In Other Versions

2 Samuel 5 in the ANGEFD

2 Samuel 5 in the ANTPNG2D

2 Samuel 5 in the AS21

2 Samuel 5 in the BAGH

2 Samuel 5 in the BBPNG

2 Samuel 5 in the BBT1E

2 Samuel 5 in the BDS

2 Samuel 5 in the BEV

2 Samuel 5 in the BHAD

2 Samuel 5 in the BIB

2 Samuel 5 in the BLPT

2 Samuel 5 in the BNT

2 Samuel 5 in the BNTABOOT

2 Samuel 5 in the BNTLV

2 Samuel 5 in the BOATCB

2 Samuel 5 in the BOATCB2

2 Samuel 5 in the BOBCV

2 Samuel 5 in the BOCNT

2 Samuel 5 in the BOECS

2 Samuel 5 in the BOGWICC

2 Samuel 5 in the BOHCB

2 Samuel 5 in the BOHCV

2 Samuel 5 in the BOHLNT

2 Samuel 5 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 5 in the BOICB

2 Samuel 5 in the BOILNTAP

2 Samuel 5 in the BOITCV

2 Samuel 5 in the BOKCV

2 Samuel 5 in the BOKCV2

2 Samuel 5 in the BOKHWOG

2 Samuel 5 in the BOKSSV

2 Samuel 5 in the BOLCB2

2 Samuel 5 in the BOMCV

2 Samuel 5 in the BONAV

2 Samuel 5 in the BONCB

2 Samuel 5 in the BONLT

2 Samuel 5 in the BONUT2

2 Samuel 5 in the BOPLNT

2 Samuel 5 in the BOSCB

2 Samuel 5 in the BOSNC

2 Samuel 5 in the BOTLNT

2 Samuel 5 in the BOVCB

2 Samuel 5 in the BOYCB

2 Samuel 5 in the BPBB

2 Samuel 5 in the BPH

2 Samuel 5 in the BSB

2 Samuel 5 in the CCB

2 Samuel 5 in the CUV

2 Samuel 5 in the CUVS

2 Samuel 5 in the DBT

2 Samuel 5 in the DGDNT

2 Samuel 5 in the DHNT

2 Samuel 5 in the DNT

2 Samuel 5 in the ELBE

2 Samuel 5 in the EMTV

2 Samuel 5 in the ESV

2 Samuel 5 in the FBV

2 Samuel 5 in the FEB

2 Samuel 5 in the GGMNT

2 Samuel 5 in the GNT

2 Samuel 5 in the HARY

2 Samuel 5 in the HNT

2 Samuel 5 in the IRVA

2 Samuel 5 in the IRVB

2 Samuel 5 in the IRVG

2 Samuel 5 in the IRVH

2 Samuel 5 in the IRVK

2 Samuel 5 in the IRVM

2 Samuel 5 in the IRVM2

2 Samuel 5 in the IRVO

2 Samuel 5 in the IRVP

2 Samuel 5 in the IRVT

2 Samuel 5 in the IRVT2

2 Samuel 5 in the IRVU

2 Samuel 5 in the ISVN

2 Samuel 5 in the JSNT

2 Samuel 5 in the KAPI

2 Samuel 5 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 5 in the KBV

2 Samuel 5 in the KJV

2 Samuel 5 in the KNFD

2 Samuel 5 in the LBA

2 Samuel 5 in the LBLA

2 Samuel 5 in the LNT

2 Samuel 5 in the LSV

2 Samuel 5 in the MAAL

2 Samuel 5 in the MBV

2 Samuel 5 in the MBV2

2 Samuel 5 in the MHNT

2 Samuel 5 in the MKNFD

2 Samuel 5 in the MNG

2 Samuel 5 in the MNT

2 Samuel 5 in the MNT2

2 Samuel 5 in the MRS1T

2 Samuel 5 in the NAA

2 Samuel 5 in the NASB

2 Samuel 5 in the NBLA

2 Samuel 5 in the NBS

2 Samuel 5 in the NBVTP

2 Samuel 5 in the NET2

2 Samuel 5 in the NIV11

2 Samuel 5 in the NNT

2 Samuel 5 in the NNT2

2 Samuel 5 in the NNT3

2 Samuel 5 in the PDDPT

2 Samuel 5 in the PFNT

2 Samuel 5 in the RMNT

2 Samuel 5 in the SBIAS

2 Samuel 5 in the SBIBS

2 Samuel 5 in the SBIBS2

2 Samuel 5 in the SBICS

2 Samuel 5 in the SBIDS

2 Samuel 5 in the SBIGS

2 Samuel 5 in the SBIHS

2 Samuel 5 in the SBIIS

2 Samuel 5 in the SBIIS2

2 Samuel 5 in the SBIIS3

2 Samuel 5 in the SBIKS

2 Samuel 5 in the SBIKS2

2 Samuel 5 in the SBIMS

2 Samuel 5 in the SBIOS

2 Samuel 5 in the SBIPS

2 Samuel 5 in the SBISS

2 Samuel 5 in the SBITS

2 Samuel 5 in the SBITS2

2 Samuel 5 in the SBITS3

2 Samuel 5 in the SBITS4

2 Samuel 5 in the SBIUS

2 Samuel 5 in the SBIVS

2 Samuel 5 in the SBT

2 Samuel 5 in the SBT1E

2 Samuel 5 in the SCHL

2 Samuel 5 in the SNT

2 Samuel 5 in the SUSU

2 Samuel 5 in the SUSU2

2 Samuel 5 in the SYNO

2 Samuel 5 in the TBIAOTANT

2 Samuel 5 in the TBT1E

2 Samuel 5 in the TBT1E2

2 Samuel 5 in the TFTIP

2 Samuel 5 in the TFTU

2 Samuel 5 in the TGNTATF3T

2 Samuel 5 in the THAI

2 Samuel 5 in the TNFD

2 Samuel 5 in the TNT

2 Samuel 5 in the TNTIK

2 Samuel 5 in the TNTIL

2 Samuel 5 in the TNTIN

2 Samuel 5 in the TNTIP

2 Samuel 5 in the TNTIZ

2 Samuel 5 in the TOMA

2 Samuel 5 in the TTENT

2 Samuel 5 in the UBG

2 Samuel 5 in the UGV

2 Samuel 5 in the UGV2

2 Samuel 5 in the UGV3

2 Samuel 5 in the VBL

2 Samuel 5 in the VDCC

2 Samuel 5 in the YALU

2 Samuel 5 in the YAPE

2 Samuel 5 in the YBVTP

2 Samuel 5 in the ZBP