2 Samuel 6 (BOLCB)

1 Dawudi n’akuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri. 2 N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya MUKAMA ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi. 3 Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera 4 ng’essanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ng’agikulembeddemu. 5 Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga MUKAMA n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala. 6 Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda. 7 Obusungu bwa MUKAMA ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda. 8 Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa MUKAMA bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero. 9 Olunaku olwo Dawudi n’atya MUKAMA, n’ayogera nti, “Essanduuko ya MUKAMA eyinza etya okuleetebwa gye ndi?” 10 Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya MUKAMA mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 11 Essanduuko ya MUKAMA n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era MUKAMA n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna. 12 Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza. 13 Abaasitula essanduuko ya MUKAMA bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka. 14 Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga MUKAMA n’amaanyi ge gonna. 15 Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya MUKAMA nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere. 16 Awo essanduuko ya MUKAMA bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga MUKAMA, n’amunyooma. 17 Ne baleeta essanduuko ya MUKAMA ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga MUKAMA. 18 Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya MUKAMA ow’eggye, 19 buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe. 20 Dawudi n’addayo ewuwe okusabira ab’omu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo n’agenda okumusisinkana n’ayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bw’atyo, ne yeyambulira mu maaso g’abawala abaweereza n’abaddu ng’omuntu atalina nsonyi?” 21 Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga MUKAMA eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba MUKAMA, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga MUKAMA. 22 Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abaweereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.” 23 Awo muwala wa Sawulo Mikali, n’abeera mugumba okutuusa olunaku lwe yafa.

In Other Versions

2 Samuel 6 in the ANGEFD

2 Samuel 6 in the ANTPNG2D

2 Samuel 6 in the AS21

2 Samuel 6 in the BAGH

2 Samuel 6 in the BBPNG

2 Samuel 6 in the BBT1E

2 Samuel 6 in the BDS

2 Samuel 6 in the BEV

2 Samuel 6 in the BHAD

2 Samuel 6 in the BIB

2 Samuel 6 in the BLPT

2 Samuel 6 in the BNT

2 Samuel 6 in the BNTABOOT

2 Samuel 6 in the BNTLV

2 Samuel 6 in the BOATCB

2 Samuel 6 in the BOATCB2

2 Samuel 6 in the BOBCV

2 Samuel 6 in the BOCNT

2 Samuel 6 in the BOECS

2 Samuel 6 in the BOGWICC

2 Samuel 6 in the BOHCB

2 Samuel 6 in the BOHCV

2 Samuel 6 in the BOHLNT

2 Samuel 6 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 6 in the BOICB

2 Samuel 6 in the BOILNTAP

2 Samuel 6 in the BOITCV

2 Samuel 6 in the BOKCV

2 Samuel 6 in the BOKCV2

2 Samuel 6 in the BOKHWOG

2 Samuel 6 in the BOKSSV

2 Samuel 6 in the BOLCB2

2 Samuel 6 in the BOMCV

2 Samuel 6 in the BONAV

2 Samuel 6 in the BONCB

2 Samuel 6 in the BONLT

2 Samuel 6 in the BONUT2

2 Samuel 6 in the BOPLNT

2 Samuel 6 in the BOSCB

2 Samuel 6 in the BOSNC

2 Samuel 6 in the BOTLNT

2 Samuel 6 in the BOVCB

2 Samuel 6 in the BOYCB

2 Samuel 6 in the BPBB

2 Samuel 6 in the BPH

2 Samuel 6 in the BSB

2 Samuel 6 in the CCB

2 Samuel 6 in the CUV

2 Samuel 6 in the CUVS

2 Samuel 6 in the DBT

2 Samuel 6 in the DGDNT

2 Samuel 6 in the DHNT

2 Samuel 6 in the DNT

2 Samuel 6 in the ELBE

2 Samuel 6 in the EMTV

2 Samuel 6 in the ESV

2 Samuel 6 in the FBV

2 Samuel 6 in the FEB

2 Samuel 6 in the GGMNT

2 Samuel 6 in the GNT

2 Samuel 6 in the HARY

2 Samuel 6 in the HNT

2 Samuel 6 in the IRVA

2 Samuel 6 in the IRVB

2 Samuel 6 in the IRVG

2 Samuel 6 in the IRVH

2 Samuel 6 in the IRVK

2 Samuel 6 in the IRVM

2 Samuel 6 in the IRVM2

2 Samuel 6 in the IRVO

2 Samuel 6 in the IRVP

2 Samuel 6 in the IRVT

2 Samuel 6 in the IRVT2

2 Samuel 6 in the IRVU

2 Samuel 6 in the ISVN

2 Samuel 6 in the JSNT

2 Samuel 6 in the KAPI

2 Samuel 6 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 6 in the KBV

2 Samuel 6 in the KJV

2 Samuel 6 in the KNFD

2 Samuel 6 in the LBA

2 Samuel 6 in the LBLA

2 Samuel 6 in the LNT

2 Samuel 6 in the LSV

2 Samuel 6 in the MAAL

2 Samuel 6 in the MBV

2 Samuel 6 in the MBV2

2 Samuel 6 in the MHNT

2 Samuel 6 in the MKNFD

2 Samuel 6 in the MNG

2 Samuel 6 in the MNT

2 Samuel 6 in the MNT2

2 Samuel 6 in the MRS1T

2 Samuel 6 in the NAA

2 Samuel 6 in the NASB

2 Samuel 6 in the NBLA

2 Samuel 6 in the NBS

2 Samuel 6 in the NBVTP

2 Samuel 6 in the NET2

2 Samuel 6 in the NIV11

2 Samuel 6 in the NNT

2 Samuel 6 in the NNT2

2 Samuel 6 in the NNT3

2 Samuel 6 in the PDDPT

2 Samuel 6 in the PFNT

2 Samuel 6 in the RMNT

2 Samuel 6 in the SBIAS

2 Samuel 6 in the SBIBS

2 Samuel 6 in the SBIBS2

2 Samuel 6 in the SBICS

2 Samuel 6 in the SBIDS

2 Samuel 6 in the SBIGS

2 Samuel 6 in the SBIHS

2 Samuel 6 in the SBIIS

2 Samuel 6 in the SBIIS2

2 Samuel 6 in the SBIIS3

2 Samuel 6 in the SBIKS

2 Samuel 6 in the SBIKS2

2 Samuel 6 in the SBIMS

2 Samuel 6 in the SBIOS

2 Samuel 6 in the SBIPS

2 Samuel 6 in the SBISS

2 Samuel 6 in the SBITS

2 Samuel 6 in the SBITS2

2 Samuel 6 in the SBITS3

2 Samuel 6 in the SBITS4

2 Samuel 6 in the SBIUS

2 Samuel 6 in the SBIVS

2 Samuel 6 in the SBT

2 Samuel 6 in the SBT1E

2 Samuel 6 in the SCHL

2 Samuel 6 in the SNT

2 Samuel 6 in the SUSU

2 Samuel 6 in the SUSU2

2 Samuel 6 in the SYNO

2 Samuel 6 in the TBIAOTANT

2 Samuel 6 in the TBT1E

2 Samuel 6 in the TBT1E2

2 Samuel 6 in the TFTIP

2 Samuel 6 in the TFTU

2 Samuel 6 in the TGNTATF3T

2 Samuel 6 in the THAI

2 Samuel 6 in the TNFD

2 Samuel 6 in the TNT

2 Samuel 6 in the TNTIK

2 Samuel 6 in the TNTIL

2 Samuel 6 in the TNTIN

2 Samuel 6 in the TNTIP

2 Samuel 6 in the TNTIZ

2 Samuel 6 in the TOMA

2 Samuel 6 in the TTENT

2 Samuel 6 in the UBG

2 Samuel 6 in the UGV

2 Samuel 6 in the UGV2

2 Samuel 6 in the UGV3

2 Samuel 6 in the VBL

2 Samuel 6 in the VDCC

2 Samuel 6 in the YALU

2 Samuel 6 in the YAPE

2 Samuel 6 in the YBVTP

2 Samuel 6 in the ZBP